Aba Kampala capital city authority basabiddwa okuvaayo batangaaze ku nnanyini paaka ya baasi z’abaganda omutuufu.
Kiddiridde olutalo okubalukawo wakati w’abaggagga Charles Muhangi ne Drake lubega nga buli omu agamba paaka eno yiye
Ssentebe w’akakiiko ke by'ettaka mu kampala, Yusuf Nsibambi agamba nti ekyapa okuli paaka eno baakikwasa KCCA eyagenda mu maaso n’okuligaba
Nsibambi agamba nti okutangaaza kuno kwakuyamba…
Abasomesa balayidde obutasirisa ku maloboozi agasaba nti omusaala gwaabwe gwongezebwe
Kiddiridde ababaka mu kibiina kya NRM okusisinkana nebakkiriziganya nti omusaala gwakusigala nga gwegumu
Wansi w’ekibiina ekibagatta ekya UNATU, abasomesa bagambanti ekya gavumenti okubamalamu amaanyi nti tewali nsimbi tekigenda kubaggya ku mulamwa
Ssabawandiisi w’ekibiina kino James Tweheyo agamba nti bakusisinkana olunaku lw’enkya okulaba engeri gyebakwatamu ensonga eno.
Abasomesa bano baawera…
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaganda okukola nyo, okuyitimula ekitiibwa kya Buganda.
Katikkiro bino abyogedde ng’asisinkanye abantu okuva mu ssaza lye Kyaggwe, Buwekula, ne Kyadondo abakiise embuga.
Abe kyagwe bawaddeyo bukadde,32 ate abe Buwekula obukadde 2 okuddukirira omulimu gw’okuzimba amasiro.
Katikiro era abasabye okwewala enjawukana ,mu ddiini,amawanga n’ebyobufuzi.
Mu ngeri yemu Katikkiro asisinkanye ab’ekika kye Empindi abawaddeyo…
Abantu bataano kw’abo abaagudde ku kabenje e Masanafu basiibuddwa
28 bakyaali mu mbeera mbi.
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti abali obubi bamenyese nnyo
Omu ku bano ye conductor wa coaster eyamenyese amagulu gombi
Gwetwogeddeko naye Moses Muganga agamba nti coaster eno yabadde tesiba era bw’etyo yevulungudde nga batuuka e masanafu abantu abasoba mu 30 nebalumizibwa.
Mu ngeri…
Omwana ow’omwezi ogumu agudde mu sigiri n’aggya omutwe gwonna.
Nyina w’omwana ono kigambibwa okuba ng’aliko obulwadde obumulumba nebumukuba wansi era nga ku luno bumusudde mu sigiri
Omukyala ono mutuuze we Kasubi ng’omwana omulenzi gw’asudde mu sigiri akyajjanjabibwa mu ddwaliro e Mulago.
Kitaawe womwana ono mu kiseera kino ali Rwanda gyakolera era ng’omukyala ono mu nyumba abadde abeera mu…
Poliisi e Mukono kyaddaki ekutte omusajja eyayiiridde munne acid
Badru Kawuki ono kigambibwa okuba nga yalumbye Siraje Ssenyonjo mu dduuka lye n’amuyiira acid yenna
Mukyala wa senyonjo ali ku kitanda agamba nti entabwe yavudde ku kakadde kamu omusajja ono ke yewola ku bba ng’abadde azimubanja
Akulira okunonyereza e Mukono, Henry Mugumya agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza nga…
Buno bwebutaba bugwenyufu, kirala.
Mu ggwanga ly’Amerika mu kibuga New york, abaayo bategese empaka z’omusajja asinga obusajja obutono.
Nick Gilronan yeyawangudde empaka zino olwo ebifananyi nebiruma.
Empaka zino zibadde mu bbaala emu ey'abazinyi b’ekimansulo era nga omu kwomu obwedda y'avaayo okulaga kyalinawo.
Omuwanguzi abuusewo ne doola 200.
Oyo naye kati afunye ekitiibwa nga omusajja akyasinze obusajja obutono mu Amerika.
Omusango ogwawaabwa ba dereeva ba takisi nga bawakanya omusolo ogwassibwaawo aba KCCA, gugobeddwa.
Omulamuzi wa kkoti enkulu Benjamin Kabiito abagambye nti baakolamu ensobi mu kuwaaba omusango guno bwe baawaabira KCCA , mu kifo kya minista eyakola ekiragiro.
Ba Dereeva bawaaba mu kkooti nga bawakanya omusolo ogw'e 120,000 aba KCCA gwe basolooza ku buli mmotoka ya takisi ekolera…
Abantu ababadde bakolera mu kizimbe kya Nice Times ekyagudde eggulo, batandise okusengulamu ebyaabwe.
Olukiiko lw'abasuubuzi lutudde okubaako bye bateeesa , nga waliwo n'abagala okusigala nga bakikoleramu ng'eno bwe kigenda mu maaso n'okuddabirizibwa.
Bangi ku basuubuzi bano banoonya wakudda kyokka nga tebannafuna nsimbi.
Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbula abawagizi b'eyali akulira ekibiina kya Fdc Dr Kiiza Besigye
Besigye abadde ava ku kooti ya Buganda road gy'asomeddwa emisnago emiggya nga gyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro
Ono agaanye okubuuka mu mmotoka nga bw'alagiddwa poliisi era nga motoka ya poliisi eyitiddwa okukulula emmotoka ye.
Bino byonna bigenda mu maaso ku kizimbe kya Mabirizi…