Aba tiimu ya Manunited bazzeemu okugezaako okugula muyizi tasubwa wa Barcelona, Cec fabregas
Aba United bazooka kutegeeza nga bwebalina lpawunda obukadde 25 kyokka nga kato bongezezzaako okutuuka ku pawunda obukadde 30.
Omutendesi wa tiimu eno, David Moyes agamba nti amyuka ssentebe wa tiimu yekulembeddemu enteseganya era nga bazisuubiramu byereere.
Abantu abaeesunga ennaku nkulu bangi naye bano basusse
Mu ggwanga lya America, abeesunga Christmas batandise nga waliwo edduuka eddene elitandikiddwa
Edduuka lino litunda ebintu ebitali bimu omuli baluuni, ebimuli ,obuti bwa Christmas ne kalenda z’omwaka ogujja
Omu ku bakoze edduuka lino Rev Roger Bush agamba nti abantu bangi beewunya okulaba edduuka lino nebatamanya nti waliwo n’abatandise okugula
Abasajja mu ggwanga lya Japan bakutunuulira ebisambi by’abakyala awatali kwebbiririra.
Kampuni ekola ogw’okulanga ebintu etandise okulangira ku bisambi by’abakyala.
Kampuni eno epangisizza abakyala abanyikira amata nebabakuba obulago ku bisambi nga bano bayita mu kibuga wakati abasajja nebafa amababbanyi
Abawala bano balina kubeera nga basussa emyaka kkumi munaana kyokka nga kati okutya okuliwo kwa basajja kutomera bantu na bifunvu…
Abakyaala abazaala nga basusse emyaka 35 balabuddwa.
Abakugu mu by’obulamu bagamba emikisa gy’abakyala abasussa emyaka gino okuzaala abaana abanafu saako n'okubeera n’endwadde endala giri wagulu bw'ogeregeranya ne banaabwe abalina emyaka emimpi wabula nga batuuse okuzaala.
Bakakensa bagamba nti abakyala bano bazaala abaana abanafu ate nga tebaba bagezigezi bulungi nga banaabwe okuva mu ba maama abato.
Abakugu mu ndwadde z'amaaso bakizudde nti kati basobola okujjanjaba omuntu aba azibye amaaso n'addamu okulaba.
Abakugu bano nga bali mu ddwaliro l'yomu Bungereza bazudde nga bwe waliwo ekitudu ekirina amasanyalaze ekiba kizikidde olwo omuntu n'ataddamu kulaba wabula nga kati basobola okuteeka amasanyalaze mu kitundu kino ekiyitibwa Retina nekigasindika mu bwongo omuntu n'addamu okulaba.
Wabula bano beebamu bagamba…
Essanyu likendedde nyo mu baana.
Alipoota ekoleddwa ku ssanyu ly’abaana eraga nti kati kizibu abaana abato bano okumwenya ebiseera ebisinga nga bwegwali okuva mu mwaka gwa 1994.
Abali wakati w’emyaka 14-15 bebasinga obutaba basanyufu olw’embeera y'ensi nga ate myaka gya kivubuka si gye gyibakozesa kino.
Abaana 42,000 nga bali wakati w’emyaka 8-17 baabuziddwa ebibuuzo eby’enjawulo nebatageeza nga bwebatali…
Police y'oku kisaawe ky’enyonyi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abantu babiri ababadde bakukusa enfudu.
Mu migugu gyaabwe musangiddwamu obufudu obuto lukumi.
Police yewunyizza engeri bano gyebasobodde okupakira obufudu buno okuja mu bitereke bye babadde nabyo.
Abasomesa baweze nti okujjako nga basasuddwa omusaala gwaabwe, kikafuuwe okulinnya ekigere mu kibiina.
Sabawandisi w’ekibiina ekibagatta ekya , Uganda national teachers union, James Tweheyo , agamba tebakyalina nsimbi zebakozesa oluvanyuma lw’obutasasulwa omusaala gwaabwe kati myezi esatu.
Tweheyo agamba abasomesa abasinga tebakyalina nsimbi zakukoseza mu by’entambula okugenda ku masomero.
Agamba abasinze okukosebwa be basomesa ba pulayimale ne secondary mu…
Wabaddewo akavuvungano ku Metropole house awatuula akakiiko akawulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abaagala okugya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago.
Kino kivudde ku police kwagala kugaana abamu ku bawagizi ba Lukwago okuyingira munda awatuula akakiiko kano akalindirira okumusoya ebibuuzo ku bigambibwa nti emirimu gyimulemye.
Kino kiwalirizza Lord Mayor okusooka okufuluma okulaba ogubadde era nebategeregana ne police…
Ekizimbe kiyiise nekikuba abantu mu kibuga wakati.
Ekizimbe ekiyiise kimanyiddwa nga Nice Times nga kiriraanye ekya Magoba ku Nakivubo mews.
Kigambibwa okuba ng'ekizimbe kino kibadde kiddabirizibwa ku myaliro gya wansi ekikinafuyizza nekiyiikamu.
E mulago omusasi waffe Shamim Nateebwa gy'ali, abantu bana beebakwatwalibwa mu ggwanika ate ng'abalala bakolebwaako.