Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eddugu lilina swagga

Abantu abalina amasaali bangi naye obadde okimanyi nti n’ebisolo tebinyigirwa mu ttooke Mu ggwanga lya Ireland, Eddubu liyingidde mu baala nerisaba eky’okunywa Eddubu lino wabula ekyewunyisizza ababaddewo teririnze muwereeza kuleeta kyakunywa neryekandagga nerifuluma Ekirungi nti ba customer abasinga babadde mu kisenge kya bbaala ekirala era tebalabye bibaddewo oba olyaawo nabo bandyekandazze nebafuluma

Read More

Empaka z’ebitundu

  Empaka z’emipiira gy’ebitundu giggulwaawo olunaku lw’enkya mu kisaawe kya municpaali ye Hoima Ab’oku butaka aba Kitara beebagenda okukwatagana n’abava Westnile ku saawa kkumi Ab’akakiiko akateeseteese empaka zino bataddewo emipiira ena buli bunaku Bannantameggwa b’empaka zino ab’obuvanjuba bakuzannya ab’obugwanjuba ku saawa nnya ez’okumakya

Read More

Munyagwa bamuwenja

Kkooti eragidde nti meeya we Kawempe Mubarak munyagwa akwatibwe. Munyagwa abadde alina okulabikako mu kooti ku misango gy’okukozesa olukujjukujju okwezibika ensimbi kyokka nga talabiseeko Kigambibwa okuba nti Munyagwa ono yezibika emitwaalo 100okuva eri Karim Nsubuga n’emitwaalo etaano okuva eri Mohammad Kawuku ng’abasuubizza okubafunira emilimu mu kkampuni ya Haris International Omulamuzi omusango agwongezezzaayo okutuusa nga 20 omwezi ogujja ng’ono…

Read More

Ennaku z’ekisiibo zino nkulu

Abayisraamu bakuutiddwa ku makulu agali mu nnaku 10 ezisemba mu kisiibo Ssabawandiisi ku bukulembeze bwe Kibuli Muhamed Kisambira agamba nti abasiraamu bonna basaanye okutandika okulinda ekiro ekyamagero nga kino kigwa ku nnaku ez’ensunsuuba Wabula Kisambira era asambazze ebigambibwa nti wabaawo ekintu ky'enjawulo ku nnaku zino ng'omuliro ng'agamba nti kili eri buli muntu okukubisaamu ebikolwa ebirungi

Read More

Omusajja w’ebbuba afumise mukyala we ebiso

Omusajja eyayawukana ne mukyala we ate amaze n’amulumba n’amufumita ebiso Omukyala ono Nowerina Nakabugo owe Nakwero ekisnagibwa ku lwe Gayaza yayawukana ne Bosco Lukwago kyokka nga yasobeddwa okumulaba g’amulumbye mu muzigo gwe ekiro ng’amulangira obwa malaaya Yamufumise emirundi ebiri ku mutwe kyokka nga basobodde okumutaasa nga nomusajja ono akuumirwa ku poliisi e Kasangati .

Read More

Eby’okwerinda gulugulu

Poliisi egenda kuyiibwa ku lubiri e mengo ng’ebikujjuko by’amatikkira bikuuba koodi Ku lw’okusatu lwa  ssabiiti eno ssabasajja lw'aweza emyaka 20 bukyanga atuuzibwa ku namulondo kyokka ng’emikolo gyayongezeddwaayo okutuusa ku lunaku lw’omukaaga Ssabasajja olunaku lw’enkya lw’agenda okusimba emiti ku luguudo lwa Kabaka anjagala nga tannaggulawo mwoleso ku lunaku lw’okusatu Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Idi Ssenkumbi agamba nti…

Read More

Abetta basobola okubudabudibwa

Abakugu mu nsonga z’emitwe bagamba nti waliwo ekiyinza okukolebwa okukendeeza omuwendo gw’abantu abejja mu bulamu bw’ensi eno. Abantu bano beetaga okufibwaako ennyo era ng’omuntu okutegeera nti ayinza okutta abasawo bagamba nti kyangu okutegeera omuntu agenda okwetta. Ekisooka abasawo bagamba nti abantu b’ekkika kino batera okweyawula ku banaabwe era ng’omuntu ssinga alaba ng’omulala amweyawuddeko alina okuwoyawooya okutuusa lw’amubuulira…

Read More

Okugejja bulwadde

Abantu abatafaayo nebagejjulukuka basaanye okuwulira ku bino Mu ggwanga lya Newzealnd, omusajja eyagejjulukuka agaaniddwa okuyingira mu ggwnaga lya New Zealand. Abakola ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga lino bagamba nti omusajja ono obulamu bwe buli mu bulabe nga okumukkiriza kuba kukkiriza kizibu Omusajja ono alina kilo 130 ng’alagiddwa bw’aba abayagala okuyingira u New Zealand asale kutuuka ku kilo 100 Eggwnaga…

Read More

Kokoolo w’obusajja

Abasawo bakizudde nti omusajja asobola okuwangaala ne kokoolo w’obusajja okutuuka ku myaaka 10 . Kokoolo ono kyeyolese nti ajja anafuwa okwawukanako nebwegwaali emyaka ena mabega Kookolo ono mu mwaka gye 70 yali mukambwe nnyo era nga ku bantu 100 bakwata, 67 bafa mu bwangu. Abasawo bagamba kati bagenda kuyiiyamu ngeri yakwongera kunafuyamau kookolo ono okuwa abantu abamulina akadde…

Read More

Okuwutta obwongo

Abanonyereza basemberedde okuzuula ekkubo ely’okuyitamu okumanya omuntu ng’agenda okuwutta. Abasawo mu kadde kano tebalina ngeri gyebayinza kumanyaamu ng’omuntu asemberera okuwutta era ng’abasinga bakola scan naye ng’obuzibu nti kizibu okumanya ng’ekirwadde kino kikyaali. Mu nkola empya, abasawo bakwekebejjanga omusaayi gw’omuntu okulaba oba mulamu oba mulwadde. Okunonyereza okwakoleddwa ku bantu 202  kulaga nti enkola y’okukozesa omusaayi ekola ebitundu 93 ku…

Read More