Obulwadde bw’omutima butta abakyala okusinga ku basajja
Kino kiva ku misuwa gyaabwe egy’oku mutima egitambuza omusaayi okuzibikira.
Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti obulwadde bw’emisuwa gy’omutima okuzibikira bwetaaga kujjanjaba mu ngeri za njawulo mu bakyala okwawukanako nga bwegubeera ku basajja
Kigambibwa okuba nti abakyala obukadde munaana n’ekitundu beebafa obulwadde bw’omutima buli mwaka.
Kino kitegeeza nti obulwadde bw’omutima…
Obwakabaka bwa Buganda butandisewo eddwaliro e Bwaise
Abavubuka abayisiraamu okuva mu Buganda nga bali wamu ne gavumenti y’eggwanga lya Brunei beebakulembeddemu omulimu guno oguwemmense akawumbi kamu mu obukadde 200
Eddwaliro lino lisangibwa mu zone ya Bwaise 1 mu division ye Kawempe
Eddwaliro lino erimanyiddwa nga Bulwadda ligenda kujjanjaba endwadde ezitali zimu omuli amannyo, endwadde z’abakyala, okubazaalisa era nga…
Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde
Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya
Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya bibala, bivavava n’enyama etaliimu masavu
Mukyala ono asanyudde ababadde balamula empaka zino era…
Embeera y’amalwaliro ennyika emitima yandivaawo mu kaseera akatali ke wala
Ministry y’ebyobulamu etegeezezza nga bw’egenda okuddabiriza amalwaliro gonna agali mu mbeera embi
Yakutandika n’amalwaliro 13 okwetoloola eggwanga
Mu malwaliro agagenda okuddabirizibwa mwemuli erye Iganga, Kawolo, Mityana, Nakaseke , Entebbe grade B n’amalala
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba nti nga bamaze okuddabiriza amalwaliro gano, bakussaamu ebikola omuli n’eddagala.
Kino…
Gavumenti asabiddwa okukola kyonna ekisoboka okuyimbula bannamawulire abakwatibwa mu S.sudan
Justin Drulaze ne Hillary Ayesiga bakwatibwa mu sudan nga bagenda mu maaso n’okukola emirimu gyaabwe
Gavumenti ya Sudan egamba nti bano bayingira okukola ogwa mawulire nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kukikola
Omwogezi wa ministry ekola ku nosga z’ebweru, Elly Kamuhane agamba nti bakyayogeraganyaamu ne gavumenti ya Sudan okulaba ntu…
Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti wabaddewo kukendeera mu bukubagano mu maka.
Alipoota eno eraga ebyaliwo mu mwaka 2011,2012 eraga nti abantua bafiira mu bukubagano mu maka bakendera okuva ku 181 mu 2011 okutuuka ku 154 mu mwaka 2012.
Kyokka abantu benyini abakosebwa obukubagano mu maka beeyongera okuva ku 251 mu 2011 okutuuka ku 277 mu 2012.
SSenkaggale wa…
Omwana ow’emyezi etaano ali bubi oluvanyuma lw’okugwa mu kalaayi ya butto nga yesera
Maama w’omwana ono Mindu sendi nga mukonzo omwana okumugwaako mu butto abadde amuweese ku mugongo.
Agamba nti akagoye keyabaddde awekesezza omwana kasumulukuse nga tategedde omwana n’agwa mu butto gweyabadde asiikiramu chipusi
Abasawo abekebezze omwana ono e Mulago bagamba nti omwana ono ayidde nnyo kyokka nga…
Dereeva wa ki loole ekyakwata omuliro abantu abasoba mu 40 bamale bafe asindikiddwa ku meere e Luzira
Ricard Mugisha aguddwaako emisaago 51 egy’okukosa abantu n’ettemu n’omulala gumu gwa butewaaba ng’akoze akabenje.
Omusajja ono teyegaanye musango gwa butaloopa ku poliisi kyokka ng’ebyokutta abantu abyegaanye bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Boniface Wamala owa kkooti ye Nabweru
Kigambibwa nti Mugisha ng'ennaku z’omwezi…
Poliisi eyisizza ekiwandiiko ekirabula ku musajja eyakulembera okutta abantu mu district ye Rakai
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti omusajja ono ye Fred Mujulizi nga yeeyaluka olukwe olutta omusumba Mugambe na b’omu maka ge munaana mu district ye Rakai
Omusajja ono era yeeyatta n’omusajja omulala eyategereeka nga Joseph Kaholo ne Mukyala we Cissy Nakalwa e Kyabakazi
Nabakooba…
Wabaddewo vvaawo mpitewo nga poliisi ekwata akulira abakyala ba FDC nebavubuka abalala 6 wali ku city hall
Abawanvu n’abampi bano bakulembeddwamu aduumira poliisi ya kampala James Ruhweza era babadde bamaze ebbanga nga bagumbye wabweru.
Ingrid Turinawe ne banne babadde bategeka kwekalakaasa mu ngeri y'okutambula nga badda ku palamenti gyebabadde bagenda okwemulugunya ku misolo egyassibwa ku mazzi.