Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Polisi ayimbudde omubaka Betty Nambooze.

Bya Damalie Mukhaye. Kyadaaki police  eyimbudde omubaka Betty Nambooze ku kakalu ka polisi  agende ebuyindi okujanjabibwa, nga ono aludde nga akuumirwa mu dwaliro lye kiruddu. Kinajukirwa nti ensonga za Nambooze okutabuka kyadirira police okumukwata nemuggalira e Naggala, kyoka embeera neyongera okwononeka najulirwa okutwalibwa e India, wabula police negaana. Kati enaku  biri  emabaga akakiiko katekebwawo okunonyereza ku bulwadde bwa…

Read More

Abatuuze be Mubende balabuddwa obutataama lwa taka.

Bya Ruth Anderah.   Ssentebe w'akakiiko akanonyereza ku by’etaka Justice Catherine Bamugemereire alabudde abantu be Mubende okusigala nga bakakamu beewale okuyita mukuyiwa omusaayi nga balwanagana olw'etaka kubanga ensonga zaabwe zikolebwako. Ono okwogera bino kidiridde aduumira police yeeno Martin Okoyo okutegeeza akakiiko kano nti enkayana wakati w'abatuuze n'omuyindi Abid Alamu zivudemu okuyiwa omusaayi, era nga kaakano police esiiba erawuna…

Read More

Gavumenti ez’ebitundu zitandise okukola obulungi.

Bya samuel ssebuliba. Yafesi ya  ssabaminisita leero efulumizza alipoota ekwata kunkola ya governmet ez’ebitundu 2017-2018, nga eno eraze nga   bano bwebatandise okukola obulungi kubikwatagana ne mbalirira. Okunonyereza kuno kwakolebwa mu government ez’ebitundu 144 kwezo 162  nga kuno kwekuli districts  ne  munisipali , nga bano okusinga baatunulidde ensonga ezikwata ku by'obulamu, eby'enjigiriza, amazzi nebirara. Kunsonga ezigatta government ez’ebitundu zafunyeewo…

Read More

Buganda ekaanyiza ne gavumenti ku bya mapu.

Bya Shamim Nateebwa. Olunaku olwaleero ekitongole ku by’emiwendo ekya Uganda national bureau of statistics nga kikulembedwamu akikulira Dr.Paul Ben Mungereeza  bawayizaamu ne katikiro wa Buganda Charles peter mayiga nga baagala kumelengula nsonga ez'okujja Buganda ku map ya uganda. Dr Mungereeza agambye nti Buganda yali yakyusibwa bukyusibwa linya ku map ya uganda  netuumibwa  central 1  ne central 2,…

Read More

Ministry yedizza okugula n’okutunda ebintu mu gavumenti ez’ebitundu

Bya Sam Ssebuliba Ministry yebyensimbi yedizza obuyinza okugula nokutundanga ebintu byazi gavumenti ezebitundu, kyenagamba nti kigenederddwamu kwongera kugula ebiri ku mutindo. Bwabadde ayogerera mu musomo gwazzi gavumenti ezebitundu, akulira ebyambalirira mu ministry yebyensimbi Kenneth Mugambe ategezeza nti kino kyakanyiziddwako nga kigendereddwamu nokulwanyisa ebikolwa ebyenguzi nokubulankanya ensimbi. Okugula ebintu bunabeera buvunayziibwa bwa ministry eyebyensimbim, wabulanga okwekenneya zzi contaract bakiressyo…

Read More

Banna’Yuganda tebalina mazzi mayonjo

Bya Ritah Kemigisa Alipoota empya efulumiziddwa aba Twaweza  eraze nti bangi ku abann-Uganda tebalina mazzi mayonjo atenga embeeraeyongera kwononeka. Bwabadde afulumya enyavaudde mu kunonyereza kwabwe okwakolebwa wakati wa January ne Febraury alipoota gyebatuumye “bann-uagnda kyebayitamu nendowooza zaabwe” Marrie Nanyanzi akulira ekitongole kino agambye nti 40% abantu bomu byalo bebasinga okukosebwa olwe bbulya lyamazzi bwogerageranya ku bomubibuga. Kino bakitadde…

Read More

Ennamula yomusango we kkomo ku myaka eruddewo

Bya Sam Ssebuliba Omubaka we gwanga lya Germany mu Uganda yemulugunyizza ku nnamula yomusango ogwawaabwa, oguwakanya okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga eruddewo. Olwaleero ababaka bamawanga 15 abenjawulo basisinknaye lu palamenti okwogera ku nsonga ezenjawulo ngenfuga eyamateeka nebiralala. Eno omubaka wa Germany kuno, H.E. Dr. Albert Conze agamabye nti okuva omusango guno lwegwatandika okuwlirwa nga April 4th…

Read More

Omulamuzi afiridde mu buliriri

Bya Benjamin Jumbe Essiga eddamu liguddemu ekikangabwa amakya ga leero, oluvanyuma lwamawulire gokufa kwomulamuzi Jessica Naiga Ayebazibwe. Omugenzi abadde atuula mu kooti yamaka e Makindye, wabulanga afiridde mu maka ge mu Ndeeba. Omwogezi  we ssiga eddamuzi Solomon Muita akakasizza okufa kwomulamuzi ono, nategeeza nti abalekedde eddibu eryamanyi. Kati aba family bevumbye akafubo okuteesa ku ntekateeka zokuziika bwezinabeera. Omugenzi abadde akoze…

Read More

Dr Besigye akyalideko omubaka Betty Nambooze mu dwaliro gyali.

Bya Samuel Ssebuliba. Eyaliko ssenkaggale wa FDC Col Kizza Besigye  akyalideko omubaka Betty  Namboze mu dwaliro e Kiruddu mukaseera kano gyali mukujanjabibwa. Kinajukirwa nti Namboze yadusibwa e Kiruddu nga embeeraye eyongedde okwononeka, wabula abasawo baludde nga basaba nti atwalibwe  m india ajanjabibwe. Dr Besigye agambye nti mazima embeera ya Nambooze sinungi, wabula nga singa agwaako omutaawana gwonna,…

Read More

Abasawo balagidde omubaka Nambooze atwalibwe mu India.

Bya samuel Ssebuliba. Kyadaaki akakiiko akabasawo  abakugu omukaaga akaatekebwawo okunonyereza ku bulwadde obusenkenya omubaka we Mukono Betty Nambooze bawandiikidde minisitule ekola ku by’obulamu ebaluwa, nga bagitegeeza nga Nambooze bwagwana okutwalibwa e India ajanjabibwe. Nambooze ono aludde nga ali mudwaliro lino wakati mubukuumi bwa polisi,  nga bwalinda okutwalibwa mu kooti awerenembe n’emisango egyekusaasa ku kwogera ebyakasalo ebyavaako n'okutta…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play