Bya Ruth Anderah.
Abasajja abayisiramu 4 ababade bavunanibwa emisango egy’ekusa ku butemu n'obutujju bawandiikide omuwaabi wa gavument Mike Chibita nga baagala abetondere olw'okubasibira obwerere, ko n'okubasaako emisango emikambwe bwegityo, songa mungeri yeemu baagala abaliyirire.
Bano nga bakulembedwamu Sheikh Ismail Ssentongo, Muhammad Kalodo , Isa Mubiru ne Yusuf Ssentamu baali bakwatibwa wamu nakulira aba-Tabliq mu gwanga Sheikh Yunus…
Bya Magembe Ssabiiti
Abakwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kulonda kwe byalo mu district ye Mubende batabukidde minister wa government ezebitundu Tom Butime olwekibiina okubamma ssente ezinonya akalulu kyoka bbo nebepokera omusimbi .
Ba ssentebe be byalo bano okuva mu mbeera kidiridde okubayita ku kitebe kya district e Mubende okuwebwa ensimbi zabwe eza buli mwaka emitwalo 12…
KAKUMIRO
Bya Magembe Sabiiti
Police mu district ye Kakumiro ekubye amasasi mu banga okumala okutaasa omusajja abadde awambye omwana nekigendererwa eky’okumusadaaka.
Bino bibadde ku kyalo Kakinaka mu gombolola ye Bwanswa mu district ye Kakumiro abatuuze bwebazingizza omusajja abadde agambibwa okuwamba omwana owobuwala owemyaka 3 gwabadde amaze okuteeka mu kutiya.
Omuddumizi wa police e Kakumiro Hassan Mugerwa akakasizza okukwatibwa kw’omusajja…
Wiiki eyebibiina byobwegassi etandise olwaaero, ngebimu ku bigenda okukolebwa wagenda kubaawo okusaba mu mizikiti ejenjawulo.
Leonard Okello akulira Uhuru Institute, abamu ku bagasse ne Ministry yebyobusubuzi amakolero nobwegassi, agambye nti nolunnaku lwenkya okusaba kwakubeera muba Advantaneku Sunday mu makanisaa malala.
Emikolo gino givugidde ku mubala okutumbula omwoyo gwobwa nakyewa mu bibiina byobwegassi.
Ate commissioner mu ministry yobusubuzi William…
Bya Tom Angurin
Minister owabavubuka nabaana Owek Florence Nakiwala Kiyingi alangiridde salessale ku Bbalaza nga 2nd July abaana boku nguudo bonna banaaba bajiddwako mu Kampala.
Ono atubuliidde nti bakwatagenye ne poliisi nekitongole kya KCCA okutekesa kino mu nkola.
Abaana bakukwatibw abatwalibwe mu maka webayinza okulabirirwa ate nabamu okubazaayo gyebava, nokutangira abalala okuyingira mu kibuga.
Abo abanasangibwa ku nguudo bakuvunanwa…
Bya Magembe Sabiiti.
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Katugo mu gombolola ye Nalutuntu e Mubende abattemu bwebayingiride mutuuze munabwe nebamutema ebiso ku ebimusse.
Atiddwa ye Kayiira Robert ow’emyaka 30 nga ono abadde makanika mu katawuni ke kakungube e Mubende era nga police omulambo egujjewo ne gutwalibwa mu dwaliro lya Kiganda health center 1V okwekebejebwa.
Omwogezi wa police atwala…
Bya Shamim Nateebwa .
Government etegeeze nga okukola duyiro bwekugenda okufuuka okw’obuwaze eri buli somero mu uganda , nga otwalidemu n'amasomero ag’obwananyini.
Bwabadde alangirira olunaku olw’okukola duyiro wano e Entebbe minister akola ku by'obulamu Dr. Jane Ruth Acenge agambye nti mukaseera kano bakolagana ne ministry ekola ku by'enjigiriza obutaddamu kuwa licence eri amasomero agatalina bisaawe.
Ono agamba nti…
Bya Cissy Makumbi.
Tutegeezeddwa nga omuwendo gw'ababundabunda abayingira mu gwanga okuva mu South Sudan bwegugenze kukendeera naddala bano ababde batuukira mu district ye Lamwo.
Twogedeko n'akulira enkambi ye Lamwo refugee settlement David Wangwe naagamba nti mukaseera kano bafuna abantu abali wakati wa 80-100, kyagamba nti kizaamu amaanyi.
Ono agamba nti ensonga ereetedda bano okukendeera ekyanonyerezebwako, wabula nga kyandiba…
Bya Ndaye Moses.
Government eriko obuyambii obuzitowa tani 120 obwemere n'ebirara byewerezza eri abantu ababundabunda olw'amataba mu bitundu bye teso.
Bwabadde awereze ebintu bino, minisita omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Echweru agambye nti abantu abasoba mu 20,000 bebasenguddwa olw'amataba agatuuse mu bitundu nga Katakwi, Bukedea,Amuria ne Ngora district .
Ebibawereddwa kuliko akawunga, ebijanjaalo,amatundubaali ko n'ebirara.
Ono agambye nti…
By Damali Mukhaye.
Ssabapolice we gwanga Martin Okoth Ochola aliko ebaluwa gy'awandiikidde abakyala ababade baagala okwekalakaasa olwettemu erisuse mu gwanga nga agamba nti kino tekigenda kusoboka bagire nga balinda.
Kinajukirwa nti abakyala bano nga bakulembedwamu ekiwayi ky'abakyala ekya FDC baali bawandiikira police nga baagala ebakuume nga bekalakaasa mu mirembe nga 30th June 2018.
kati bano Ochola abagambye nti…
