Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Makerere yatekebwako kamera okuketta abazi b’emisango.

Bya Damali Mukhaye. Akakiiko akabadde kanonyereza ku by’okukabasanya abaana be Makerere kategeezeza nga makerere bwegwana okwanguwa okuteeka camera ku tendekero lyonna beetangire abazzi be misango. Ssentebe w'akakiiko akakoze okunonyereza kuno Prof Sylvia Tamale agambye nti ebizimbe  byonna bigwana okubako camer zino, kubanga bakizidde nti etendekero lino teririna bukuumi. Bano bagamba nti bakizude nga abasomesa bano batera okuyita abayizi…

Read More

Abadde yeefula omulema akwatiddwa.

Bya samuel Ssebuliba. Police mu Kampala ekutte omusajja nga ono aludde ebanga nga yefudde gwebatemako omukono n’asabiriza abantu kyoka nga mulamu katebule. Akwatiddwa ye Shafik Bakulu Mpagi, nga ono aggidwa wano Mukwano Arcade, oluvanyuma lw'abamumanyi okutegeeza ku polisi  nti omusajja ono simulema. Ayoggerera police ya Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti omusjja ono abaddde azinga…

Read More

Banna DP ababade bakoze amafuta ga polisi bubakeeredde.

Bya Getrude Mutyaba.   Omubaka wa Palamenti mu lukiiko lwa East Africa era nga y’amyuka Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Fred Dennis Mukasa Mbidde ayagala pulesidenti w’ekibiina kino Norbert Mao asabe olukalala lw’abantu abazze bafuna amafuta okuva mu kitongole kya poliisi. Mbidde abadde ayogerako ne banna mawulire nagamba nti kyabuswavu nyo okulaba nga abamu ku babaka mu kibiina kya…

Read More

Mukyakala wa Col Ndahura adukidde mu kooti.

Bya Ruth Anderah. Mukyala w’eyali akulira ekitongole ky’abambega ekya crime intelligence mu police nga ono oye Col Atwooki Ndahura adukidde mu kooti enkulu nga ayaggala baawe atwalibwe mu kooti oba ayimbulwe  mu bwangu. Sarah Ndahura  nga ayita mu banamateekabe aba Ochienge Associated Advocates , batutte ekiwandiiko  mu kooti ekikaka  CMI okuleeta Nduhura mu kooti nga mulamu oba…

Read More

Laddu ekubye omuvubi nafa

Bya Ivan Ssenabulya   Entiisa ebiikidde abatuuze ku kyalo Kacanga e Sese mu district ye Kalangala, omuvubi bwakubiddwa laddu nafiraawo. Omugenzi ye Mukasa Wilson Nsubuga, ngabadde ne banne 2 nga babadde bagenze kuvuba, laddu gyevudde nebakuba omu nakalirawo. Muyiba Isma omutuuze yaliko byatubuliidde ku kufa kwomutuuze.

Read More

Owa Boda Boda Bamusse pikipiki nebajitwala

Bya Malikh Fahad Poliisi e Kyotera etandise okunonyereza kungeri omugoba wa pikipiki gyatiddwamu abazigu ne pikipiki nebajimutwalako. Omugenzi ye Kuraish Kawooya omutuuze mu Kinakole zone mu Kabuga ke Beteremu mu district ye Kyotera. Kigambibwa nti omugenzi waliwo abamupangisizza okuva e Kamwanyi okubatwala mu gombolola ye Kasaali wabula okuva olwo tebaddamu kumulabako. Okusinziira ku Robert Ssenoga akulira Beteremu stage, omugenzi…

Read More

Aba FDC bagala okuwandiisa butto okwabakyala

Bya Sam Ssebuliba Ekiwayi kyabakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change kyambalidde akakiiko kebyokulonda olwobutaddamu butto kuwandiisa abanavuganya ku bukiiko bwabakyala. Mu ntekateeka empya akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti okunonya obululu okwobukiiko kwabakyala kwekujja okubaawo, okutandika nga 29th June okutukira ddala nga 2nd July ate okulonda kubeewo nga 3rd July. Okusinziira ku Sarah Eperu omwogezi wabakyala mu FDC…

Read More

Omubaka Nambooze akukulumidde gavumenti

Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa munisipali ye Mukono Betty Nambooze asabye gavumenti okutusiza bann-Uganda obujanjabi nobukuumi. Agambye nti ensimbi nnyingi ezisasanyizibwa okujanjaba abantu ebweru, songa nebyobujanjabi kuno kisoboka okulongooka. Bino abyogeredde ku ddwaliro e Kiruddu gyakumirwa nokujanjabibwa, bwabadde ayogerako ne banamwulire. Ono era kukulumidde abakungu ba gavumenti bagamba nti bajanjabibwa ebweru we gwanga ku nsimbi yomuwi womusolo, ate nebatafaayo…

Read More

Omusajja atuze omwana nga alanga nyina kumukyawa.

Bya Abubaker Kirunda. Polisi  e Kaliro ekutte omusajja wa myaka 28 nga ono alangibwa gwakutta mwana mujjananyina. Attidwa ategerekese nga Yaquob Kaisambira omutuuze we   Namaremba  mu gombolola ye Namugongo Omusajja ono kigambibwa nti  yabadde egenze ewa mukyalawe gyeyanobera nga ayagala mukyalawe akomewo, kyoka bweyalabye awalidde nawambamu akaana kano. Polisi  egamba nti omusajja ono yandiba nga yabadde ayagala kukoze kaana…

Read More

Ebintu ebitwalibwa mu China byakumala kulongosebwamu.

Ndaye Moses. Gavumenti  etegeezeza nga bwetadewo enkola ezigenda okuyitwamu okulongoosa enkolagana mu by'enfuna wakati wa uganda ne china. Ssabaminister we gwanga Dr. Ruhakana  Rugunda agambye nti muntekateeka z'ebalina, tebagenda kuddamu kukiriza bintu ebitali ku mutindo okutwalibwa e bunayira, kale nga ebintu ebilongoseemu byokka byebigenda okutwalibwanga e china. Ono agamba nti kikanyizidwako nti kawefube w'okwetegereze ebigenda e bunayira agenda…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play