Bya Samuel Ssebuliba.
Olunaku olwaleero omubaka omukyala ow'e Paliisa district Faith Alupo lwakubye ebirayiro ng'omubaka wa parliament, oluvanyuma lwa munna FDC gweyali avuganya naye okuwandulwa mu lw'okaano luno.
Ono laayiziddwa kalani wa parliament omukyala Jane kibirige, mu maaso ga speaker wa parliament Rebecca Kadaga.
Kinajukirwa nti Alupo yalangirirwa nga omuwanguzi, oluvanyuma lw’akakiiko k'eby’okulonda okugobayo munna FDC Catherine Achola,…
Bya Ruth Anderah.
Eyaliko omubaka wa palamenti ow'eBundibugyo Harrient Ntabazi olwaleero asiimbiddwa mu kooti ya Buganda Road, navunanibwa emisango esatu egy'ekusa kukuginga ebiwandiiko.
Obujulizi obuleeteddwa oludda oluwabi nga lukulembedwamu kalisoliiso Wilberfoce Mutebule bulaga nti wakati wa December 2015 ne October 2016, Ntabazi mubugenderevu yakozesa ebiwandiiko ebya S.6 mu kakiiko k'ebyokulonda, nga agamba nti yabijja mu UNEB nga…
Bya Ivan Ssenabulya
File Photo: Justine Lumumba
Abekibiina kya NRM bawakanyizza ekiwandiiko ekibadde kiyitingana, ku mitimbagano nga kiraga nga ssbawandiisi Justine Kasule Lumumba, bweyalanze emirimu egiri mu 500 mu mawanga ge bweru.
Mu kiwandiiko kino emirimu bajiranze mu mawanga nga Nigeria, South Africa, Canada, Austria namalala.
Wabula okusinziira ku mwogezi wekibiina kya NRM Rogers Mulindwa agambye nti walabika waliwo…
Bya Sadat Mbogo
Abatuuze ku kyalo Bugoye mu Gombe town council bakedde kugwa ku mulambo gwOmuvubuka eyattiddwa mu ntiisa nga gugangalamye mu kitaba ky'omusaayi.
Gusangiddwa mu kitoogo ku mabbali g'ekkubo ng'ateberezebwa okubeera ng'abadde atambuza airtime mu district y'e Butambala kubanga bu airtime busangiddwa nga busaasanye okumpi n’omulambo.
Kigambibwa nti yatemuddwa oluvanyuma lwokumunyagako ensimbi.
Era okumpi wasangiddwawo pikipiki kika kya…
Bya Nalweyiso Barbra ne Ivan Ssenabulya
Gavumenti esabiddwa okutendeka ba bouncers, abakuuma obutebenkevu mu mabaala, ebuibanda nebiffo ebiralala ebisanyukirwamu.
Omulanga gukubiddwa akulira Umbrella for Uganda Bouncers Association Tony Ssempijja nga gujidde mu biseera bya World Cup.
Agamba kikulu okubatendeka kungeri gyebakwatamu abantu ngalabudde neku nkozesa ye muntu nti tezetagisa nnyo bantu.
Bino webijidde ngempaka za World Cup zibumbujja, mu…
Bya Ivan Ssenabulya
Okuyimiriza essiga eddamu ne poliisi okugaba okweyimirirwa kiyinza kukola mu mawanga nga bakolera ku biragiro.
Okusinziira ku munamateekaowe ddembe lyobuntu Abdallah Kiwanuka kuno kuba kutyoboola ddembe lya mirimu okuwedde.
Bino byonna bidiridde omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni okulagira, kino kikolebwe ku misango eminene naddala ku baterebezewa obutemu.
Wabula Kiwanuka agamba nti Uganda ngekyatambulira ku ssemateeka,…
Bya Benjamin Jumbe
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Olwaleero akakiiko kebyokulonda akatandise okurereza enkalla zabalonzi wakati mu kwetegekera okulonda kwe byalo, okubindabinda okubaawo omwezi ogujja.
Omulimu guno gugenda kumala ennaku 4 mu byalo, emitwalo 6 mu 800 okwetoola egwaaga.
Bwabadde ayogerako naffe omumyuka womwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti bakunoonyamu abatuuze abasubwa okwewandiisa.
Akati asabye abatuuze okukolagana…
Bya Magembe sabiiti.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Mubende Mulangira Joseph ayimiriza ekiragiro ky'okwerula ettaka eliriko abatuuze abasoba mu 500 ku byalo Kambuye ne Kawumulwa mu East division Mubende municipality.
Kino kidiridde omugagga George Kaweesi nga ali wamu ne police okwagala okwerula ettaka lino eliwerako acre ezisoba mu 1000 olunaku olwaleero ekivirideko abatuuze okwekalakaasa
Omubaka wa parliament akikirira…
Bya samuel ssebuliba.
Government esabiddwa okutandika okufaayo kunkola ey'okwongera ku nsimbi eziri munsawo z’abanna- Uganda nga tenalowooza ku kyakubasolooza.
Bino bigidde mukadde nga bannayuganda bakyali mukweralirikira olwa bujeti eyakayisibwa eyazze n’emisolo egitagambika .
Kati bwabadde eyogerara mu kukubaganya ebirowoozo ku bujeti y'egwanga eyakayisibwa, nga kuno kutegekeddwa aba civil society budget advocacy group, Ricahed Ssewakiryanga nga ono yakulira NGO…
Bya samuel Ssebuliba.
Government esabiddwa okukola ku nsonga y'etaka, nga tenatandika kuteeka nsimbi mu byakulima, kko n’okubyesigamako nga ebigenda okubulula eby'enfuna bye gwanga
Kinajukirwa nti budget y'omwaka guno ogutandika, kyakanyizibwako nti eby'obulimi bigenda kutekebwamu ensimbi bitandike okuvaamu ebintu eby'okutunda , olwo eby'enfuna biryoke bikule
Bwabadde eyogerera mukubaganya ebirowoozo ku budget eno eyakayisibwa, nga kuno kwategekeddwa aba civil society…
