Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Abaalisibwa akakanja e Nalufeenya baagala bwenkanya.

Bya Ritah Kemigisa. Abantu abagamba nti batulugunyizibwa nga baggaliddwa e Nalufenya, nga bakulembedwamu eyali aduumira police ye buyende  Muhamad Kirumira ko n'abalala 2 okuli  Maj Musisi Galabuzi ne  Grace Bukenya  bagenze mu  kakiiko akalera edembe ly'obuntu nga bagamba nti baagala kawulire ensonga zaabwe Bano bagamba nti baamala akadde e Nalufenya mu kuliisibwa akakanja okutagambika, kyoka bwebaatebwa emisango…

Read More

Ekiwamba bantu kyenyamizza minisita.

Bya Damali Mukhaye. Minister akola ku nsonga z'omunda mu gwanga  gwanga Rtd. Gen Jeje Odongo anakuwalide enkola ey’ekiwamba bantu ekisusse mu gwanga, kyoka nga ekisinga okuluma kwekuba nti abakyala bebasinze okukosebwa. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kya ministry mu Kampala, Odongo agambye nti emisango 72 egy’abakazi abawambiddwa gyegituuse ku poliisi mu banga ery'emyezi esatu egiyise, wabula…

Read More

Kayihura ali mu mbeera nnungi

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya Ssentebbe wakakiiko ke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission Meddy Kaggwa ategezeza nti eyali ssbapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura ali mu mbeera nnungi, wali ku nkmabi yamagye e Makindye gyakumibwa. Kayihura yakwatibwa wiiki ewedde wabulanga nokutuusa kati tebanalaga misango jimuvunanwa. Kaggwa era yakyaliddeko nomubaka wa munispaali ye Mukono…

Read More

Ebya Museveni babiwakanyizza

Bya Damalie Mukhaye Abalwanirizi be ddembe lyobuntu bavuddemu omwasi ku nsonga za gavumenti 9 omukulembeze we gwanga zeyalambise olunnaku lwe ggulo, ezinayitwamu okulwanyisa obutali butebenkevu mu gwanga. Akulira ekitongole kya Human rights network Uganda Mohammend Ndifuna akubye ebituli mu ntekateeka yonna eyayogeddwako nti ya biseera byamumaaso, atenga embeera eganda mu maaso yetaaga ekyokuddibwamu ekyamangu kubanga bann-Uganda batemulwa…

Read More

Amagye ne poliisi biyiriddwa e Mpigi

Bya Sadat Mbogo Amagye ne police ekkakkanya obujagalalo bayiriddwa ku ttendekero ly'ebyemikono erya Katonga Technical Institute mu district y'e Mpigi okukkakkanya embeera oluvanyuma lw'abazadde okwegatta n'abayizi n'olukiiko olufuzi nebalumba akulira ettendekero lino Sulaiman Sseggane nga baagala abaviire ku ssomero. Akulira olukiiko olufuzi era omukubiriza w'olukiiko lwa district y'e Mpigi, Rogers Ssejjemba agambye basazeewo okulumba omukulu ono bamwegobere…

Read More

ssemaka bamusanze atemuddwa

Bya Sadat Mbogo Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku nfa ya Joseph Kakooza owemyaka 27 ku kyalo Tikalu Kiterede mu gomboola ye Kalangaalo. Kigambibwa nti omugenzi asangiddwa ku kitanda kye ne mukyala we nomwana waabwe omutto nga bamusazesaze ngembuzi, nga wakyaliwo okubusabuusa ku nfa ye. Okusinziira ku batuuze mukyala womugenzi Harriet Nakate amakya ga leero addukidde ewa ssentebbe…

Read More

Aba pikipiki balabuddwa

Bya Ivan Ssenabulya Abagoba ba pikipiki balabuddwa okugoberera amateeka ge kkubo, ngabalala. Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Ssebambuliidde alabudde nti abagoba ba pikipiki tyebagwana kwetwala, atenga babigera ngamateeka gonna gabakwatako. Okulabula kwa poliisi wekujidde, ngokulembeze we gwanga yakajja alabule ku pikipiki zagamab nti okusinga zezikozesebwa mu bumenyi bwamateeka.

Read More

Gavumenti ereeta obunyonyi obwevuga bwokka ” Drones”

Bya Samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga YKM ategeezeza nga government bwegenda okugula obunyonyi buno obwevuga bwokka buyite drones, nga buno bwebugenda okukozesebwa mukuketta abazzi b'emisango. Bwabadde ategeeza ababaka ba parliament eby'okwerinda bye gwanga bwebiyimiridde, president agambye nti baasazeewo okwesiba ku bunyonyi buno kubanga bwanguwa okutuuka awali emitawaana, songa omuntu omu yekka asobolera dala okulawuna ekitundu ekinene nga…

Read More

President alagidde mundu zonna zigibweko ebinkumu.

Bya samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni aliko ebiragiro ebibipya byayizizza ku by'okwerinda nga bino bigenderedwamu kutangira  kitta bantu mu kaseera kano. Mukiragiro kino president agambye nti  emundu zonna eziri mu gwanga zigenda kuwandiisibwa ebinkumu byazo, kino kiyambe okulondoola abantu bonna abanaasangibwa nga bazikozesa okutta abantu. Bwabadde ategeeza palamenti embeera y’ebyokwerinda bweyimiridde, ono agambye nti kizuuse nga…

Read More

Crime preventer bamukutte lwakusobya ku mukazi

Bya Gertrude Mutyaba Police e Masaka ekutte crime preventer ku bigambibwa nti aliko omukazi gweyakase akaboozi. Akwatiddwa mutuuze ku Ssaza mu gombolola ya Katwe-Butego mu district ye Masaka. ono kigambibwa okuba nga yakwatiddwa oluvanyuma lwomukyala okubuliira poliisi ngono bweyamuwamba naamutwala mu kifo ekitamanyiddwa n’amumalirako ejjakirizi. Ayogerera poliisi mu bendo bendo lya Masaka Lameck Kigozi akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono, agamba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play