Bya Gertrude Mutyaba
Waliwo namukadde owemyaka 80 atemuddwa ba kijambiya mu district ye.
Omugenzi ye Prisca Namatovu omutuuze ku kyalo Busowe mu gombolola ye Kirumba.
Kigambibwa nti yalumbiddwa ne muzzukulu we ategerekeseeko erya Kizza nga kati yye ajanjabibwa mu ddwaliro e Masaka.
Omuddumizi wa poliisi e Kyotera Musa Kayongo akakasizza obulumbaganyi buno.
Poliisi egamba nti okunonyereza kutandise.
Bya Ivan Ssenabulya
Omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Moses Kafeero alagidde abakuumi bomugagga Dick Banoba mu bwangu okwamuka ettaka erieriko enkayana mu Kirangira mu munispaali ye Mukono.
Banoba yagobaganya abatuuze abwerako nga namayumba agasinga gasigala ku ttaka.
Wabula Moses Kafeero bwabadde asisinkanye abatuuze agambye nti embeera eriwo eteeka ebyokwerinda mu kabi.
Ono erasabye abatuuze okusigala nga bakakamu okutuusa…
Bya Ivan Ssenabulya
Banamateeka b’omubaka we Mukono municipality Betty Nambooze wetwogerera nga bategese okugenda mu kakiiko akakola ku by’edembe lyobuntu bakasabe okuyingira mu nsonga z’amuntu waabwe egaaniddwa okugenda mu India ajanjabibwe.
Bano nga bayita mu munamateeka Erias Lukwago bagamba nti bwebava wano era bakutwala ensinga zino mu kooti enkulu , nayo ebeeko kyekola
Wabula Lukwago agambye nti ekikyabasibye…
Bya Ritah Kemigisa
Ekibiina ekitaba banamateeka mu gwanga ekya Uganda law society kivumiridde okuggalirwa kwomubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze neyali ssbapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura ngessaawa zisobye mu 48 nga tebatwaliddwa mu kooti.
President wekibiina Simon Peter Kinobe, agambye nti kuno kumenya amteeka kwennyini.
Nambooze ngali mu mbeera mbi, Kinobe agamba kikyamu obutawuliriza kusaba kwe…
Bya Damalie Mukhaye
File Photo :Abayizi be makerere
Ministry eyebyenjigiriza nemizannyo esabye abakozi mu matendekero ga gavumento gonna aga waggulu bayimirize akediimo kaabwe, kubanga gavumenti yakukola ku nyongeza yemisaala gyabwe.
Bino webijidde nagabakozi abasomesa nabatali basomesa mu matendekero 9 akakwungeezi akayise bakanyizza okussa wansi ebikola okutuusa ngobuwumbi 138 butekeddwa mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi ogugenda okutandika.
Bwabadde ayogerako naffe omuwandiisi…
Bya Ruth Anderah
Troy Wamala avunanibwa okutta omugenzi Mowzey Radio, omusango gwe bagwongeddeyo mu kooti enkulu.
Kino kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Muhiirwe okutegeeza omulamuzi Entebbe Susan Okeni nti okunonyererza mu musango guno kuwedde, ngalina ebiragiro okuva ewa mukama we beyongereyo mu kooti ekulu.
Kigambibwa nti mu kanyolagano kano Troy yakuba Mowzey nafuna obuvune natauuka okufa.
Troy Wamala…
Bya Shamim Nateebwa
Eddwaliro erisokedde ddala erijanjaba ebirwadde ebyekuusa ku bugumba lyakuggulwawo omwezi ogujja.
Kino kibikuddwa akulira eddwaliro lye Mulago Dr. Baterana Byarugaba mu kukubaganya ebirowoozo okwomulundi ogwokuna 4th okwa buli mwezi.
Wabula wabaluseewo okutya nti obujanjabi buno bwakubeera bw abbeyi nga kyetagisa obukadde 10 ku 20.
Muno mulimu ebitanda 400 nga lyakukolanga ku balwadde ddala abalemye mu mawlairo…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakulira ekibiina kya DP mu ttundutundu lya Greater Mukono bekebyekebye eddimu okugatta ebiwayi ebiri mu kibiina olwenjawukana eziva waggulu.
Bano basubirwa okubeera nokwegatta kwabaliko mu UYD nga 27th omwezi guno ku Festino, wabulanga ssenkaggale wa DP Nobert Mao asubirwa okusisinkana omubaka Betty Nambooze nabalala abagaana okwetaba mu ntekateeka yokwegatta eno.
Bwabadde ayogerako naffe omukwanaganya wemirimu…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka owa munispaali ye Mukono Betty Nambooze bamutadde mu scan okumwekebejja okuzuula ekimuluma.
Kino kibikuddwa munnamateeka we Erias Lukwago amukyaliddeko ku ddwaliro e Kiruddu amakya ga leero.
Omubaka gyebuvuddeko era yemulugunya ku bulumi mu mugongo.
Omubaka Nambooze yakwatibwa nemugalira ku poliisi e Nagalama gyebamujja okumutwala mu dwaliro ngembeera ye eyenonese.
Wabula ono akyanonyerezebwako poliisi ku byekuusa ku…
Bya Damalie Mukhaye
Abekibiina kya FDC bategezeza nti bagala eyasli ssbapoliisi we gwanga Gen Kalekayihura anonyerezebweko mu bukulembeze bwe okumala emyaka 13 nebikolobero byatusizza ku bantu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti abantu bangi abatiddwa ku mulembeze gwa Kayihura naddala mu bwegugungo.
Ono ayogedde ku maka gabanabyabufuzi…
