Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ssabasajja awerezza obubaka obwebaza abasiramu okusiiba.

Bya Shamim Nateebwa. Nga  bannaffe abayisiramu balinda bulinzi kulaba okuboneka kw’amezi okusobola okusaala Eid eno, ssabasajja kabaka wa Buganda  bano abawerezza obubaka obubeebaza ekisiibo. Mububaaka bwe ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alazze obw'enyamivu olw'ebikolwa eby'okuwamba n'okutta abantu ebikula buli kaddde. On agambye nti  oluvanyuma lw'okufuna obwetwazze wazze wabaawo obutabanguko obw’enjawulo  nga binogerwa edagala,kyoka nga police okulwaawo okusalira…

Read More

Embalirira ye gwanga esomwa leero.

Bya Samuel Ssebuliba.     Wetwogerera nga buli kimu kiwedde okutegeka wano mu kisenge ekya Serena International Conference Centre ewali omukolo ogw'okusoma embalirira ye gwanga eyomwaka 2018-2019. Embalirira eno  yeegenda okutandika nga 1st  July 2018,nga  egenda kuvugirirwa n'obwesedde 24 nga buvudde wano munda mu gwanga, songa obwesedde 7 bwakuva bunaayira nemubagabirizi b’obuyambi. Wabula budget  eze n’ekikangabwa eri…

Read More

Nambooze akoze statement nebamuyimbula

Bya Ivan Ssenabulya File Photo: Nambooze nga yogeera Omubaka owa munisipaali ye Mukono mu Palamenti Betty Nambooze akawungeezi kano akoze statement ku poliisi ye Naggalama mu district ye Mukono oluvanyuma nebauyimbula. Nambooze yakedde kukwatibwa okuva mu maka ge nebamutwala ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala, noluvanyuma ate nebamuzza e Mukono, nga byekuusa ku byeyawandiiko ku facebook ngomubaka…

Read More

Bobi Wine ne Winnie Kiiza boogedde ku Nambooze

Bya Damalie Mukhaye ne Shamim Nateebwa File Photo: Nambooze nga yogeera Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palament Winnie Kiiza avumiridde okukwatibwa kwomubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze, ngagambye nti kigendererwamu kuwabya kunonyereza ku nfa yabadde omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga ne muganda we Saidi Buga Kongo. Bwabadde ayogera ne banamwulire ku poliisi ya Jinja road…

Read More

Nambooze akyagaliddwa

Bya Sam Ssebauliba Police nokutuusa kati ekyagalidde omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze nga bamutebereza okubeera nakakwate ku kutibwa kw’badde omubaka wa munisipaali ye Arua Ibrahim Abiriga. Nambooze ajiddwa mu maka ge e Mukono, ekiwendo ekikulembedwamu addumira police ye Mukono Rogers Sseguya. Mu kusooka aggaliddwa ku jinja road, kyoka oluvanyuma natwalibwa e Naggalama gyakyakumibwa. Police egamba nti  nga…

Read More

Buganda eyagala teeka erinalambika enywa yomwenge mu gwanga.

Bya Shamim Nateebwa. Obwakabaka bwa-Buganda busabye government okwanguwa okukola eteeka erigenda okulambika enywa y'omwenge mu uganda kino kitaase abavubuka abakeera okunywa omwenge. Kuno okusaba kukoleddwa minister wa Buganda akola ku by'abavubuka owek .Henry Ssekabembe Kiberu, nga ono agambye nti amateeka agaliwo kaakano manafu, kale nga kino kiviirideko abavubuka okwononeka. Ono agamba nti abavubuka mubuli kasonda bakeera kunywa mwenge…

Read More

Omubaka Betty Nambooze akwatiddwa.

Bya JESSICA SABANO. Polisi amakya ga leero ekedde kukwata mubaka we Mukono Municipality Betty Nambooze nga ono bamulanga kubeera nakakwate kukutibwa kw’omubaka   we Arua Municipality Ibrahim Abiriga. Nambooze agiddwa  mumakaage e Mukono, nga kino ekiwendo kikulembedwamu aduumira police ye Mukono Rogers Sseguya. Ono asoose kukuumirwa wano ku polisi ya kampala road, kyoka oluvanyuma natwalibwa e Naggalaa Police egamba…

Read More

Akabenje akagudde e Nakasongola kasse bataano.

Bya samuel Ssebuliba.     Police ekyanonyereza ekiviirideko akabenje akagudde wano e Nakasongola, okukakana nga kasse abantu bataano mukiro ekikeeseza olwaleero. Mukabenje kano emotoka  2 ne bodaboda bikoonaganye ku kyalo   Namayonjo , wabula nga abafudde mpaawo yabategedde. Twogedeko n’ayogerera police mu kitundu kino Paul Kangave n'agamba nti abantu basatu  bebasimatuse nebadusibwa mu dwaliro ly'amajje wano e  Nakasongola Ono agamba nti emotoka…

Read More

Aba DP bagala wabeewo enteseganya ku byokwerinda

Bya Ivan Ssenabulya Abekibiina kya Democratic Party bategezeza nti waliwo obwetaavu okuba ne nteseganya ku nsonga yebyokwerinda mu bakwatibwako. Bino webijidde nga bann-Uganda bali mu kutya olwe ttemu, ngekyasembyeyo kwekutemulwa kwabadde omubaka wa minispaali ye Arua Ibrahim Abiriga. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe mu Kampala, president wekibiina Nobert Moa agambye nti waliwo obwetaavu okuteesa okutuuka ku kukanyanekigwana…

Read More

Minisita anyonyodde ekirwisaayo alipoota ku misango.

Bya Ben Jumbe. Minisita  akola ku nsonga z’ebyokwerinda Gen Elly Tumwine  avudeyo nanyonyola ensonga lwaki okunonyereza ku misango mu uganda kutera okuwanvuwa nekutwala akadde Ono okwogera bino yabadde mukukubanya ebirowoozo okwawamu ku by’okwerinda, nagamba nti okuyigga obujulizi obumala okulumika omuntu ku misango eyamaanyi sikyangu, kale nga kino kitera okutwala akadde okukakana nga okukola alipoota nga zino kututte…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play