Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Polisi ekyakulembedde mukutulugunya abantu mu uganda.

Bya Kyeyune Moses. Nate police ezeemu okwogerwako nga ekyasinze okutulugunya abantu mu gwanga. Bino birabikidde mu alipoota ey'amakumi abiri  ekwata ku dembe ly'obuntu ekoleddwa akakiiko akakola ku dembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission. Alipoota eno eraze nga abantu bwebaliisibwa akakanja mu polisi  nadala nga bakyali ku mutendera ogw'okunonyerezebwako. Ssentebe w’akakiiko kano Meddy Kaggwa  agambye nti abamu kubaasinga okuliisibwa…

Read More

Eyasobya ku mwana ow’emyaka esatu akaligiddwa.

Bya Ruth Anderah. Omusajja  agambibwa  okusobya  kumwana  omujja na nyina ow’emyaka essatu  gyoka n'amusiiga mukenenya avunaniddwa  era nadizibwayo ku meera e Luzira. Katende Asuman asimbiddwa mu kkooti  enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, wabula omusango gw’okusobya ku bujje nagwegaana. Kkooti ekitegedeko nti omwana ono yajja n'enyina era nga Katende weyamusobezako yeyali nga kitaawe. Ono omusango yaguza…

Read More

Abasaabaze mutandike okwelwanako.

Bya Samuel Ssebuliba.      Bannayunga abatambulira mu biduka basabiddwa okutandika okubeera abasaale mukulwanyisa abagoba b’ebiduka abavugisa ekimama. Bino webigidde nga obubenje ku nguudo bugenze bukulira dala, era nga abantu abasoba mu 30 bebakafiira ku Kampala –Gulu kwoka. Twogedeko ne Byron Kinene nga ono yakulira ekibiina ekigatta abavuga emotoka enene mu uganda n’agamba nti kiruma okulaba nga abasaabaze  batuula mu…

Read More

Abasubuzi b’enyama basomeseddwa ku mutondo.

Bya Samuel Ssebuliba. Ekitongole ekikola ku by’emitindo ekya Uganda national bureau of standards kisabye abatunda enyama mu gwanga okufaayo ku by’omitindo gw'enyama, kino kitaase ekifaananyi ky'enyama ya uganda kubutale  obw’omunda . Bweyabadde ayogerako eri abatunzi b'enyama akawungezi akayise,amyuka akulira ekitongole kino , nga ono yakola ku by'emitindo John Paul Musimami agambye nti okutunda enyama mu gwanga kujudde…

Read More

Ssbaminita we gwanga lya Ethiopia atuuka mu uganda leero.

Bya BEN Jumbe. Olunaku olwaleero ssabaminisita we gwanga lya Ethiopia Dr. Abiy Ahmed Ali  atuuka mu gwanga , nga muno wakumalamu enaku biri  kubugenyi obwenjawulo. Twogedeko naakola ku by'amawulire ebya president Don Wanyama , nagamba nti  omukulu ono atuuka wano kumakya, era nga wakwanirizibwa minisita akola ku nsonga z’amawanga amalala Henry Okello Oryem. Ono ategeezeza nti okuva ku…

Read More

Kattikiro alabudde ku nyambala

Bya Gertrued Mutyaba Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde ku nyambala eweesa ekitiibwa kyagambye nti tekitegeeza kwambala ggomsei buli kiseera. Agambye nti omuntu yenna okwewa ekitibwa asanidde okwegenderezza enyambala ye okukakasa nti teyeesitaza abalala era n'awa eky'okulabirako eky’abawala abambala obukete nebalowooza nti banyumye olwokuba boolesa amagulu nebitundu byomubiri ebiralala. Asinzidde ku Masaka n'agamba nti abantu bangi abogerwako…

Read More

Aba JEEMA ne FDC bakyagaanye okukaanya

Bya Damalie Mukhaye Aba FDC ne JEEMA bakyezooba ku muntu ki omuntu omu okuwagira ku kiffo kyomubaka owa munispaali ye Bugiri. Kinajukirwa nti okulonda kulimu abavuganya government 2 okuli Eunic Namatende owa FDC ne Assuman Basalirwa owa Jeema. Kati mu nsisinkano bano gyebabade nayo mu kampala, eyali president wa Jeema Husein Kyanjo ategeezezza nga FDC bwerina okukakanya omuntu…

Read More

Buli Lwamukaaga Bulungi-Bwansi mu Lubiri

Bya Shamim Nateebwa Ssentebe wakakiiko akateekateeka amattikira ga Kabaka agemyaka 25 ngali ku Namulondo Owek. Twaha Kawaase asabye Obuganda okuvaayo buli lwamukaaga okwetaba mu mirimu gya bulungi-bwansi  mu lubiri awagenda okubeera emikolo gya jubireewo. Mu kwogerako ne banamawulire mu lubiri owek. Kawaase asabye buli muntu okuvaayo okutandika n’olwomukaaga luno bayoyote olubiri era wano wasinzidde nasaba banamikago nabantu ssekinomu okuwaayo kyebalina kulwe ntekateeka…

Read More

Omusajja asse mukazi we

Bya Magembe Sabiiti Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Busula-Kikandwa mu gombolola ye Kalwana e Mubende omusajja bwawadde mukazi we obutwa namutta. Omugenzi ye Nyinagirimaana Edisa ng'ono asangiddwa nga afiridde mu nyumba ye. Omwogezi wa police mu Wamala Region Nobert Ochom ategezezza ngokunonyereza kwa police bwekulaga nga bba w'omukyala ono Ssegujja bweyawadde mukyala we obutwa nga kati police etandiise…

Read More

Owa Boda Boda awawabidde kitaawe olwo’kumwegaana

Bya Ruth Anderah Omugoba wa boda boda akubye kitaawe mu mbuga  z’amateeka  lwakumwegaana. Masembe Najibu Muhammad ow’emyaka 35 yakubye kitaawe Hajji Musa Luyombya Mayanja mu kkooti ng’agamba nti yamwegaana atenga nyina okufa yaleka amugambye nti ye kitaawe. Masembe agamba nti kitaawe ono Hajji Mayanja amanyi bulungi amazima naye amwegaana olwokuba amuswaza  teyasoma avuga boda boda atenga ye mukulu…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play