Bya Shamim Nateebwa
File Photo: Mayega nga yogera
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde ku nsonga ze nfuga eyamateeka nobutebenkevu nti byebimu ku bigwana okusimbibwako amannyo okulwanyisa obwavu.
Mayiga abadde ayogera ne banamwulire e Mengo, nategeeza nti bino zempagi ezijja okuyamba ebitongole byebyokwerinda nga poliisi okuvunuka embeera eriwo mu gwanga ensangi zino.
Wano akubye omulanga eri gavumenti okutunulira…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ye Nateete eriko abantu 100 begalidde, nga beteberezebwa nti babadenga omwenge bakeera mukeere, abamu okuzanya zaala nabamu okunywa nokutunda enjaga.
Bano bakwatiddwa mu ki kikwekweto ekidumiddwa atwala poliisi ye Nateete, Muhammad Byansi nekigendererwa okulwanyisa obumenyi bwamateeka.
Bano babzindukirizza mu biffo ebyenjawulo, mu bufunda nemu mabaala mu budde obwokumakya.
Bya Damali Mukhaye.
Abakulu okuva mu kibiina kya FDC bawakanyizza ekiteeso kya government eky'okuzaawo abakuuma dembe ab’okubyalo bano abaayitibwanga aba local defense unit oba LDU
Bweyabadde ayogerako ne banamawulire wali ku offce z'ekibiina e Najjanankumbi amyuka ssabawandisii w'ekibiina kino Herold Kaija yagambye nti mukaseera bano webaagoberwe nga bafuuse ekirara mukutta kko n'okubba abantu, kale okubazaawo kigenda kutabula…
Ssebuliba samuel.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye banna- uganda okukoma okutwala ekitta bantu nga omutawaana ogw’abakuuma dembe bokka, wabula kino kiwendo ekyetaaga okufaayo kwabuli munna- uganda.
Bweyabadde ayogerako eri abakungubazi mukuziika omugenzi Ibrahim Abiriga eyabaddde omubaka we Arua municipality, president yagambye nti okuwangula abatemu bano tekyetagisa kuyiwa nkuyanja y’amajje, wabula banna- uganda olutalo luno balina…
Bya Ruth Anderah.
Omuvubuka ow’emyaka 20 agambibwa okusobya ku muwala ow'emyaka 19 kyadaki avunaniddwa nadizibwaayo mu komera e Luzira.
Mugula Dan ng’abadde ku alimanda e Luzira okuva mu September wa 2014 okutuusa kati, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Stephen Nsubuga mu kooti enkulu omusango nagwegaana.
Kigambibwa nti Mugula ono omukazi yamusobyako nga September 17th 2014 ku luguudo Salaama Makindye…
Bya Samuel ssebuliba.
Oluvanyuma lw’okutibwa kw’omubaka we Arua Ibrahim Abiriga, tutegeezeddwa nti kati ababaka abamu batandise okutya,nga bagamba nti batambulira mukufa.
Twogedeko n'ababaka okubadde ow’e Gulu municipality’s Lyandro Komakech, owe Kitigum municipality Beatrice Anywar n’owe Kapiribyong Julius Ochen, nnebagamba nti kati batambula bamagama olwokutya okukubwa amasasi.
Bano bagamba nti kitutte ebanga nga abattibwa basubuzi,kko n'abakuuma dembe, wabula kekituuse…
Bya Benjamin Jumbe, Sam Ssebuliba and Dmalie Mukhaye
Abadde omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga, akawungeezi kano agalamiziddw mu nyumba ye eyoluberera.
Ono azikiddwa kun kyalo Lukudu mu gombolola ye Rhino cmp, mu district ye Arau.
Eno omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni, aweeze enyambala eyebikooti nebikofiira eri abavuga pikipiki.
Ategezezza nti eri abambala ebikofiira bi katamu ziyite…
Bya Ben Jumbe.
Police ekakasizza nga bwenywezeza eby'okwerinda mu kitundu kya West Nile naddala ewagenda okubeera okuziika kw'omubaka wa Arua Municipality Ibrahim Abiriga .
Olunaku olw'eggulo waabadewo okulwanagana mumaka ga Abiriga, abakungubazi bwebaatabuse nabatandika okukuba abantu , nga kwogasse n'okwonoona ebintu, ekyawalirizza police okukuba omukka ogubalagala mu bantu.
Kati leero twogedeko n'ayogerera police ye West-Nile Josephine Angucia nagamba…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munispaali ye Arau mu palamenti Ibrahim Abiriga akubiddwa amasasi agamutiddewo.
Abatamanya ngamba ono bamulumbye nebamutta nomukuumi we nomuntu omulala owokusattu, bwebabadde mu mmotoka.
Ettemu lino libadde Kawanda/ Matugga okulinaana namaka ge.
Kati akulira ebyamauwlire, mu palamenti Chris Obore akakasizza okuttibwa kwa Abiriga.
Ono atusizza obubaka bwomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, obukungubaga.
Ono atubuliidde nti omubaka abadde…
Bya Sadat Mbogo.
Abakulembeze b'abavubuka mu district y'e Mpigi bazize ente e 16 ezibadde zibaweereddwa president Museveni okwekulaakulanya nga bagamba abaazibatuusizzaako baziwanyisizza.
Abavubuka abano bagamba nti ente ennungi bwezaavudde e Bushenyi baazikyamizza ku famu y'omu kubakulira Operation Wealth Creation lieutenant Balagadde nebazitikkulako olwo ku motoka nebasaako obute obubi obwasangiddwa mu famu ye.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Alex…
