Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ab’emasaka bekalakaasiza lwa nguudo.

Bya Getrude Mutyaba. E Masaka Police n'amagye bakedde kugugulana n'abavubuka abeekumyemu ogutaaka lwa luguudo olubi oluva mu Nyendo okudda e Masaka. Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Ssansa Appolo,era nga ye  kansala w’olukiiko lwa Nyendo-Ssenyange bagamba nti bakooye okubuzabuzibwa ab'ekitongole kya   UNRA ekirudde nga kibasuubiza okubakolera oluguudo luno. Kati kino kiwalirizza  poliisi ekakkanya obujagalalo okubalumbaera nga nakakano bakyagugulana Ayogerera poliisi…

Read More

Amataba gagadde oluguudo lwe Mbale – Moroto .

Bya Ben Jumbe.   Ekitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda national Roads Authority kikubirizza abagoba b’emotoka abakozesa olugudo olwa Mbale okudda  Moroto , okukyuka bakozese oluguudo lwe Muyembe - Nakapiri , nga kino kidiridde enguudo zino  okujjula amazzi. Bino bigidde mukadde nga enkuba  ey’amaanyi  etonya, okukakana nga enguudo ezisinga , wamu n’entindo  zitwaliddwa amazzi Twogedeko n’amyuka ayogerera akitongole kino…

Read More

Banakyewa bakolokose okwogera kwa Pulezidenti ku nguzi.

Bya samuel ssebuliba. Oluvanyuma lwa president okutegeeza nga bwagenda okutonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nguzi, byo ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa enguzi ,kuno bikuyise kugereesa  nakumala budde. Kinajukirwa nti olunaku lw’eggulo omukulembeze we gwanga bweyabadde ayogerako eri eggwanga yagambye nti kalisoliiso wa government alazeemu obunafu, kale nga kwekusalawo ateekewo akakiiko akalala akagenda okunonyereza ku nsonga zino. Twogedeko ne Cissy Kagaba…

Read More

Bamusobezaako nebamutta.

Bya Shamim Nateebwa. Abatuuze be Kazo wano kawempe Division  bakaabidde polisi okwongera eby'okwerinda mu kitundu kyabwe okubataasa ku  bantu abagufudde omuzze okutta n'okusobya kubawala. Kino kiddiridde Omuwala Esther Nakigudde 23 eyagenze mu kusaba kw'ekiro  ku kkanisa ya UCC eNabweru kyoka bweyabadde akomwo naggwa mu basajja abaamusobezaako  oluvanyuma ne bamutta. Joseph Kakooza akuliira eby'okwerinda  mu muluka gwa Kazo  gwetusanze…

Read More

Eyatisatiisa eyali muganziwe aggaliddwa.

Bya Ruth Anderah Waliwo omusajja  ow’emyaka  26  asindikiddwa   mu komera   e Luzira  agira yebakayo  lwakutisatisa  kutuusa  bulabe  ku  mukazi  gwabadde  ayagala okuganza. Aggaliddwa ye Mbagatuzinde Mahad  nga muzimbi   ku  kyalo  Kikulu  mu  Kampala Ono avunaniddwa  mu  kkooti  ya  City  Hall  mu  maaso  g’omulamuzi  we  daala  erisoka  Beatrice  Kainza  neyegaana  omusango. Kigambibwa  omusajja  ono  nga  May  28th 2018  ng’ayina  ekigendererwa…

Read More

Omuliro gusse abantu babiri e Mubende.

Bya Magembe Ssabiiti. Abaana babiri bafiridde muliro ogukute enyumba mwebabadde basula n'abalala basatu  nebafuna ebisago ebyamanyi. Ettemu lino libadde ku kyalo Kikandwa mu gombolola ye Gayaza mu district ye Kyankwanzi nga abafudde kwekuli Muhoozi myaka 4 ne Kabalokole myaka 2 . Abafunye ebisago kwekuli Kasasira Geofry myaka 27 ,Muteterwa Prossy myaka 22 ne Nyiramugisha Dorah myaka 18 nga…

Read More

Gen Tumwine aweze okumalawo obumenyi bw’amateeka.

Bya Kyeyune Moses. Minisita akola ku by’obutebenkevu Gen Elly Tumwine  ategeezeza nga  bwagenda okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obutadde banna- uganda ku bunkenke. Ono wayogeredde bino nga waliwo abateberezebwa okubeera abamenyi b'amateeka bangi abazze bakwatibwa, omuli abateberezebwa okutta omugenzi Andrew Felix kaweesi, omuwala  Suzan Magara  kko n'abalala. Kati ono agambye nti kino kikyali kituuza, kubanga okuyigga abantu nga bano kugenda…

Read More

Pulezidenti avumiridde abavugisa ekimama.

Bya Samuel Ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni atabukidde abagoba b'ebiduka abagufudde omuzze okuvuga endiima, okukakana nga bakoze obubenje. Bino webigidde nga obubenje ku nguudo ez'enjawulo bweyongedde naddala olwa Gulu- Kampala nga eno bus yakagwa  wano e  kaluma okukakana nga esse abantu abasuka mu 20. President agambye nti kiruma okulaba nga abagoba b’ebiduka bakozesa bubi enguudo enungi ezikoleddwa…

Read More

Aba FDC bategese okwogera okwabwe eri egwanga

Bya Damalie Mukhaye, Ivan Ssenabulya ne Sam Ssebuliba File Photo: Museveni nga ayogera Olwaleero egwanga lilindiridde okwogera kwomukulembeze we gwanga. Kati president Yoweri Museveni asabiddwa okutegeeza egwanga ku bisubizo byeyakola omwaka oguwedde. Kinajjukirwa nti bweyali ayogerako eri egwnaga omwaka oguwedde yasubiza okulwanyisa ebbula lyemirimu, okutondawo obugagga, ate nokunyweza ebyokwerinda nensonga endala njolo. Wabula munabyanfuna Ramadan Goobi, zino zempagi okutambulira ebeynfuna…

Read More

KCCA yakutendeka abakwasisa amateeka

Bya Ivan Ssenabulya Minisita omubeezi owa Kampala Benny Namugwanya Bugembe agamba nti balina entekateka okutwala abantu babwe abakwasisa amateeka mu kibuga mu mawanga amalala okuyiga enkola yemirimu. Bino abyogeredde Mukono mu musomo ogutegekeddwa ku okubangula abakiise nabakulembeze mu divisions zonna ezikola ekibuuga ku ntekateka za gavumenti, ngagambye nti basubira okukola kino mu mwezi gwomusanvu. Mu musomo guno ba kansala…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play