Bya Ben Jumbe.
Ekitongole eky'omusalaba omumyufu ekya Uganda Redcross kitegeezeza nga buli kadde bwekyongera okufuna abalamazi abeetaga obujanjabi obwamangu kubigwa by'abajulizi byonna.
Bino bigidde mukadde nga abalamazi abatuuka e Namugongo nadala abatambuzza ebigere buli kadde beeyongera obungi , nga beetegekera olwa 3rd ku Sunday eno.
Twogedeko n'ayogerera ekitongole Irene Nakasiita n'agamba nti mu kaseera kano bakakola ku bantu…
Bya Sadat Mbogo.
Police e Buwama eriko abavubuka 14 beekutte neggalira nga bano kigambibwa nti bakkakkanye ku bazungu babiri banansi be gwanga elya Germany nebabakuba ebitagambika.
Aduumira police y’e Buwama Joseph Kamukama atutegeezezza nti abakwate bavuzi ba boda-boda ku kyalo Buwungu ku luguudo oluva e Mawokota okudda e Butambala.
Bano okubakwata kiddiridde bamusigansimbi okuddukira ku police nebategeeza nti…
Bya Ben Jumbe.
Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyadaaki kikirizza nga bwekyawanguddwa mu kulonda kw’omubaka omukyala owa district ye Rukungiri.
Omwogezi w'ekibiina kino Rogers Mulindwa mu kiwandiiko ky'afulumizza, agambye nti ddala bawanguddwa nayenga balina essuubi nti ekibiina kyakuwangulwa mu kulonda ebiseera eby’omumaaso.
Ategezeza nti ssabawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba ebyavudde mu kulonda wakubyanjula eri akakiiko ak'okuntiko akafuga…
Bya Samuel Ssebuliba.
Palamenti olwaleero eyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2018/19 nga eteredwamu omwesedde 32 mu obuwumbi .
Embalirirwa eno eyisiddwa erimu obwesedde 9.400 nga zino zakudukanya emirimo gya government, Obwesedde 13 zabyankulakulana, songa obwesedde 10 zakudukanya bitongole bya government.
Wabula ye minisita akola ku by’ensimbi Matia Kasaija asabye ababaka ba palementi okubeera abasaale mu bitundu byabwe bakakase…
Bya Benjamin Jumbe
Aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya Forum for Democratic Change bawangudde okulonda kwomubaka omukyala owa district ye Rukungiri mu palamenti, akalulu akabaddeko nobugombe.
Okusinziira ku birangiriddwa owa FDC Betty Muzanira awanguliidde ku bululu emitwalo 5 mu 611, ngadiriddwa munna NRM bwebabadde ku mbiranye Winnie Matsiko ngono afunye obululu emitwalo 4 mu 6329.
Imu kyokusattu atalina…
Bya Ritah Kemigisa.
Minisitule ekola ku by'obulamu etegeezeza nga bweyetegese ekimala okulaba nga okulamaga kwe Namugongo kubeera kwamirembe.
Dr Henry Mwebesa nga ono yakola ku by’obujanjabi mu minitule eno agambye nti ebikozesebwa byonna mukujanjaba okuli edagala byatuusedda mukifo kino okulaba nga mpaawo ajula.
Ono agambye nti abasawo 150 bebali kukiggwa ky'abakatolika, songa abasawo 60 bebatekeddwa kukiggwa ky'abakulistayo ,…
Bya Magembe Ssabiti.
Police e Mubende ekutte omulalu ategerekese nga Ssebiranda Tito , nga ono asanze omusumba ng’alima n'amukuba emiggo egimusse.
Bino bibadde ku kyalo Kijwanganya mu gombolola ye Bukuya e Mubende ng’atiddwa ye Musoke Sserugo ow’emyaka 48 era nga abadde musumba wa kanisa ya New Jerusalem church e Bukuya.
Omwogezi wa police Nobert Ochom akakasizza nga police…
Bya Samuel Ssebuliba.
Okunonyereza kulaze nga abantu abakomonta sigala bwebakendedde munsi yonna.
okunonyereza kuno okukoleddwa ekitongole ky'ensi yonna ekikola ku byobulamu kulaze nga abakomota taaba bwebakendedde wakati w'omwaka 2000 okutuusa kakano.
Alipoota eno eraze nti mu mwaka 2005 munsi yonna mwalimu abantu obukadde 1134 abakozesa taaba, kyoka nga bano baali besaze nobukadde 9 okuva mu mwaka 2000.
Alipoota eraga…
Bya ISAAC OTWII
Kooti enkulu wano e Lira eriko omusajja ow'emyaka 38 gwekutte nga ono emulanze gwakutta banaabe babiri
Omusajja ono Babu Opio nga mutuuze we Abalang wano mu Dokolo yasindikiddwa mu komera e lira okutuusa nga June 20 oluvanyuma lw'okutegeeza omulamuzi Alex Ajiji nti kituufu omusango yaguzze
Omusajja ono Opio ayimiridde bwa ntoogo nagamba nti…
Bya Damalie Mukhaye.
Kyambogo Universty etegezezza nga bwebaaze okubaga ku ntekateeka ez'okuleeta abasomesa okuva mu gwanga lya Cuba bamalewo ebbula ly'abasomesa.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire Prof Elly Katugunka nga ono y'amyuka akulira etendekero lino agambye nti abasomesa bano okuva mu Cuba basuubirwa mu gwanga okutandika n'olusoma okujja olutandika mu August.
Ono agamba nti bamaze okwetegereza, ko n'okwekeneenya ba…
