Bya samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akuutidde abantu be Rukungiri okwesamba banabyabufuzi ababanyumizza emboozi ezawulayawula mu bantu nga besigama ku mawanga n'amadiiini.
Bwabadde anoonyeza munna NRM Winnie Matsko akalulu wali e Rukungiri Municipal stadium president President agambye nti eby'obufuzi nga bino bikuumidde egwanga emabega , kale nga yenna ebitembeeya agwana kuwewala.
Kati ono abasabye…
Bya Ruth Anderah
Eyali omudumizi wabayekera ba LRA Dominic Ongwen gwakuddamu ngomuvunanwa wakwewozaako mu August womwaka guno mu kooti yensi yonna mu kibuga Hague mu gwanga lya Netherlands.
Kino kikakasiddwa Dahirou Sant-Anna omukungu mu wofiis ya ssbawaaabi wa ICC.
Ono abadde ayogera ne banamwuire mu Kampala kungeri omusango gwa Ongwen gyegutambulamu okuva lwegwatandika mu January womwaka oguwedde 2017.
Sant-Anna ategezeza…
Bya Abubaker Kirunda
Gwebateberezza okuwamba omwana abatuuze be Bugaya mu gombolola ye Nabwigulu mu district ye Kamuli bamukubye nebamutta.
Ssentebbe wa LC3 Tito Batwaula ategezeza nti omugfenzi afiridde mu ddwaliro lye Kamuli-Mulago gyabadde addusiddwa.
Kigambibwa nti ono abatuuze bamweengedde bwebamulabye ngayita akaana komutuuze akemyaka 5, mungeri yokukakwenyakwenya.
Ono atagezeza nti wadde agezezaako okuyita poliisi okutakiriza omusajja ono naye tekisobose…
Bya Sadat Mbogo
Police e Bujuuko mu district y’e Mpigi eriko omuwala gweggalidde mu kaddukulu kaayo ajiyambeko mu kunonyereza ku bigambibwa nti yabadde awambiddwa ate oluvanyuma n’azuuka nga mulamu.
Doreen Nanyombi owemyaka 15 nga muwala wa Kazibwe David ow’e Bujuuko kitaawe yamututte ku police emunonyerezeeko ng’ateebereza nti muwala yabadde yeewambye.
Ono ku Lwomukaaga yabeeka kitaawe ensimbi obukadde 30…
Bya Sam Ssebuliba
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde minister webyenjigiriza nemizannyo Janet Kataha Museveni okuddamu okulonda Prof. Wasswa Balunywa nga principle we ttendekero lya Makerere Business School.
Endagaano ya Professor Balunywa yaweddeko olunnaku lwe ggulo, ngolukiiko olwa University Council mu bwangu obwekitalo lwalonze Prof. Moses Muhwezi okumuddira mu bigere.
Wabula ebbaluwa ya presidenti Museveni eyawandikiddwa nga…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ezikriza omuliro egamba ekyagenda mu maaso nokunonyererza ku muliro ogwakutte ekisulo kya Baheesi Hostel, ku MUBS e Nakawa mu Kampala.
Bwabadde ayogerako naffe addumira abazinya mwoto Joseph Mugisa ategezeza nti basindise ekibinja kyabakugu olwaleero okunonyererza okuzuula ekyavuddeko omuliro nokulongoosa ebyayononese.
Ono agamba nti bakutegeeza egwanga wa webanaaba batuuse
Guno gwabadde muliro gwakubiri mu nnaku 2…
Bya Ruth Anderah.
E yaliko omuyimwa wa Boda-Boda 2010 Abdullah Kitata kati adukide mu kooti enkulu nga ayagala emutaase ku kooti y'amajje gyagamba nti emuwozesa kyoka nga simunamajje.
Mukaseera kano Kitata ali mu kooti y'amajje wano e Makindye ku misango egy'okusangibwa n'ebyamabalo, kko nemundu yamajje kyoka nga simunamajje.
Kati mumusango guno kitata awawaabidde kooti yenyini, nga agamba byonna…
Bya Samuel ssebuliba.
Ebitongole bya Gavument ebikola ogw'okulondoola ensimbi okuli Palamenti , kalisoliiso wa gavumenti ne ssabalirizi webitabo bya gavumenti basabidwa okutwala akadde beetegereze ebigenda mu maaso munzirukanya ya banka enkulu eye gwanga.
Bino bigidde mukadde nga banka eno yaakavaayo okusaba eweebwe obuwumbi 500 nga zino zakugiyambako okudda engulu oluvanyuma lw’okulemwa okufuna amagoba mubintu byonna byerudde nga…
Bya Ritah Kemigisa.
Kyadaaki polisi esobodde okuzikiriza omuliro ogubadde gukutte ekisulo eky'abayizi ekimanyiddwa nga Bahesi ekisangibwa wano e Bugolobi okumpi ne MUBS.
Gyebuvudeko twayogedeko n’aduumira ekitongol ekizikiriza omuliro Joseph Mugisa, n'agamba nti omuliro guno gubadde gutandikidde wagulu, wabula polisi egwanguyidde okukakana nga guzikidde.
Mukaseera kano police ekyanonyereza ekiviirideko omuliro guno.
Bya Ruth Anderah
File Photo: Mukulu ngali ku npingu
Okwetegekera omusango gweyali akulira abayekera ba ADF Jamil Mukulu kusubirwa okutandika amakya ga leer mu kooti enkulu ewozesa ba kalintalo.
Okutandika okwetegekera eomusango guno na biki ebigukwatako kwalina okutandika nga May 14th ekitasoboka oluvanyuma lwomuwaabi wa gavumenti John Baptist Asiimwe okusaba kooti wiiki endala bbiri okwetegeka obulungi, alyoke alage…
