Bya Magembe Sabiiti
Abalamazi abatambuza ebigere okuva mu disitulikiti ye Mubende abawera 380 batandise olugendo lwabwe olubatuusa e Namugongo lwebanamalako ennaku 5.
Ate bbo abalamazi okuva mu gwanga lya Congo nabava mu Ssaza lye Kasese ne Fort portal abasoba mu 500 batuuse mu disitulikiti ye Mubende.
Abalamazi okuva e Mubende bakulembedwamu amyuka town Clark wa munisipaali ye Mubende…
Bya Ndaye Moses
Eyo nga tuvuddeyo, gavumenti etaddewo ebiffo ebyenjawulo okukebera ekirwadde kya Ebola mu balamazi abagenda okulamaga e Namugongo omwaka guno.
Bino webijidde nga Ebola yakatuka abantu abasoba mu 20 ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo.
Minister omubeezi owebyobulamu Sarah Opendi agambye nti abalamazi okuva mu DRC namawanga amalala age bweru banditeeka Uganda mu…
Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya
Ngolusoma oluppya lutandika olwaleero, akakiko ake ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission kajjukizza abazadde okubeera abegendereza nokufaayo okwewala okubawamba.
Okusinziira ku ssentebbe wakakiiko Meddy Kaggwa ategezeza nti waliwo obwetaavu okusomesa abaana benyini kungeri gyebayinza nga bava awaka okutuuka ku masomero mungeri.
Ono awabudde nti abazadde batekeddwa okukomya okuwa abaana…
Bya samuel Ssebuliba.
Kooti ey'omukago gwa East Africa kyadaaki etyemudde omusango ogwawabwa eyali speaker wa palamenti eno omukyala Nantongo ziwa nnga ono yali awakanya kyokumujja kubwa speaker olw'empaka.
kooti ekikakasizza nti eky'okujja Ziwa mubuyinza kyakolebwa mubukyamu, kale nga alina okusasulwa obukadde bw'ensimbi za uganda 1200.
Bwabadde ayogera ku nsala ya kooti eno, Zziwa agambye nti kino kyongedde oku…
Bya Abubaker Kirunda.
Omuwandiisi w’akakiiko akakola ku by'ekiramuzi aka Judicial service commission Ronald Ssekagya alaze obwenyamivu olw'omuwendo gw'abasibe abakyanonyerezebwako abali mu makomera okweyongera buli kadde.
Ssekagya agamba nti mumateeka abasibe bano abakyateberezebwa balina okumala mu komera emyezi mukaaga gyoka,kyoka kino kigenze kikyuka, era nga kaakano bawangalirayo ddala.
Ono agamba nti bakizudde nga abasibe abasuka mu 1,000 bebali mu…
Ritah Kemigisa.
Akakiiko akakola ku nsonga z’edembe ly’obuntu kategeezeza nga police bwegwana okwongera okuweebwa obukugu obwetagisa, kino kiyambe okukendeeza ku bikolwa eby’okutulugunya abantu naddala abateberezebwa okuzza emisango.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, ssentebe w’akakiiko kano Meddy Kaggwa agambye nti situgaanye ssabapolice yajeewo ekitongole ekya flying squad ekigambibwa okuliisa abantu akakanja, nga kwogase n’okuggalawo Nalufenya, naye kino tekimala kusanyaawo…
Bya samuel ssebuliba.
Akakiiko akebyokulonda nate kafulumizza entekateeka egenda okugobererwa mu kulonda kwobuiiko bwebyalo.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ssentebbe w’akakiko k’ebyokulonda mu gwanga, omulamuzi Simon Byabakama ategezeza nti bataddewo olwanga 10th July okulonderako ba ssentebbe be byalo.
Muntekateeka eno wagenda kubaawo okusunsulamu abanavuganya ng’ennaku zomwezi 4th okutuusa nga 5th July 2018, ate okuwandiisa abalonzi abagya kwakubaawo nga 22…
Bya Malikih Fahad
Poliisi e Sembabule eriko omusajja owemyaka 22 gwegalidde nga kigambibwa nti yakidde akalenzi akemyaka 16 nakatta.
Omukwate kitegezeddwa nti mulaalo nga mutuuze we Kyoloola mu Town council ye Sembabule.
Kigambibwa nti yakubye Fred Kaleebu ekitti ku mutwe ekyamuviriddeko okufa.
Abatuuze bategezeza nti bano bafunyemu obutakanya era bagenze okuwlira ngomulenzi alajana asaba buyambi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu…
Bya Sadat Mbogo
Abatuuze mu kabuga k'e Buwama mu district ye Mpigi baliko omuvubuka gwebatemyeko akagere lwakumukwatira mu bubbi.
Yusuf Sseggujja owemyaka 18 kigambibwa nti asangiddwa lubona mu kiro ekikeesezza olwaleero ng'awagula amatooke g'omusuubuzi omu mu katale ke Nalutaaya, kinnya na mpindi ne police y'e Buwama weeri.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku police e Buwama, Josephat Mbonigaba…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakulembeze e Mukono bavudeyo okuwakanya okusaba kwa
police okugyongera obudde bwegaliramu abantu okuva ku ssaawa 48 okudda waggulu.
Amyuka omwogezi wa gavumenti Col Shaban Bantariza yabadde ategezezza nti essaawa 48 tezimala police okunonyereza naddala ku misango eminene.
Wabula abamu ku bakulembeze be Mukono okuli omumyuka wa mayor Jamadah Kajooba, omukubiriiza wo’lukiiko lwa Central Division Frank Ssekayiba…
