Bya Ivan Ssenabulya
Ekibinja kyabalamazi ekisoba mu 1000 abasimba kasooli okuva mu ssaza lye Tororo emisana ga leero batuuse ku kigwa kyabajulizi e Namugongo oluvanyuma lwolugendo olwa 200 km.
Bano olugendo lwabwe balutandika ku Lwakutaano oluwedde bwebasimbula ku kereziya ye Nyangole e Tororo, nga bazze bawumulira mu biffo bya mirundi 5.
Nga bakatuuka baniriziddwa ssabasumba we Gulu John Baptist…
Bya Gertrued Mutyaba
Waliwo abantu 4 abatiddwa mu ntiisa mu district ye Kalungu, nga kisubirwa nti kivudde ku nkayana ku ttaka.
Gwalabisi Musitafa owemyaka 51 ngabadde yazimba essabo ku bukojja bamutidde mu ntiisa bakojja be bwebamutemyeko omutwe ne nnyina Nalwadda Benah owemyaka 80 bwabadde agezaako okutaasa mutabani we.
Bino ate olududde mu matu g'abatuuze kwekwesulamu jjulume nebatta Kasolo Vincent…
Bya Ben Jumbe
Owa FDC Muzanira
Abatuuze mu district ye Rukungiri olwaleero bakulonda omubaka waabwe omukyala anakiika mu palamenti.
Abantu 4 bebali mu lwokaano okuli owa FDC Betty Muzanira, owa NRM Winnie Matsiko, Fabith Kukundakwe owa People Progressive Party ne Ssezi Mbaguta independent.
Akulira ebyokulonda mu district ye Rukungiri Umar Kiyimba tells atutegezeza nti buli kimu kikoleddwa okukaksa nti…
Bya Ssebuliba Sam
File Photo: Omukyala akola mobilo manne
Palamenti enenyezeddwa olwokuyisa omusolo ku nkola eya mobile money neku mikutu muyunga bantu.
Bino webijidde ngeteeka lya Excise Duty Amendment Act erya 2018 lyayisiddwa akakungeezi akayise, wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu babaka abamu.
Mu tteeka lino buli abakozesa WhatsApp nemikuttu emiralala okutandika ne July nga 1st, bakujibwangako Shs 200 buli…
Bya Ruth Anderah
Omusajja owemyaka 30 avunaniddwa noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira olwokusiiga omwana owemyaka 4 akakwuka ka mukenenya.
Moses Sendagire asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Jane Francis Abodo wabula emisango nagyegaana.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 16th June mu 2015 ku kyalo Nabutiiti mu Kampala yasobya ku mwana ono atenga yali akimanyi…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi erangiridde entambula yebidduka enagobererwa, mu kulamaga kwomwaka guno nga 3rd e Namugongo ku Sunday ya wiiki eno.
Bwabadde ayogera ne banamwulire e Nmugongo, omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Norman Musinga asabye abantu okugoberera amateeka agalambikiddwa.
Agambye nti waliwo enguudo ezigenda okuggalwa nokusalwako mu biffo nga ku nkulungo e Naalya, eye Kireka, eye Kiira,…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kitongozza entekateeka zebikujjuko bya city carnival eyomwaka guno 2018.
Akulira ekitongole kya KCCA Jennifer Musisi tenderezza ebitongole naantu ssekinoomu abawagidde emirimu nentekateeka ezokulongoosa obuwereza eri abantu.
Ategezeza nti batadde ensimbi eziwera mu byenjigiriza okuli, okudabiriza amasomero, okugatekamu computer, nokuzimba zzi kabuyonjo.
Eno amakampuni agenjawulo gasonze ensimbi okuwagira entekateeka zomwaka guno.
Bya Ben Jumbe.
Wetwogerera nga ebigenda okukozesebwa mukulonda kwe Rukungiri bituusidwa mu kitundu nga kakano abeeno balinze okulonda ku lwokuna luno.
E bikozesebwa bino bikebeddwa Rogers Mulindwa kulwa NRM, songa kulwa FDC Aloysious Mugarura yabadewo nga kwogase ne Edwin Atukunda akikiridde abatalina kibiina.
Twogedeko n’akulira eby’okulonda e Rukungiri Umar Kiyimba nagamba nti okuletebwa kwebikozesebwa bino kiraga nti okulonda…
Bya Ivan Ssenabulya.
Abalimi ba Vanilla wano e mukono basabiddwa okufaayo ku nsonga y'omutindo naddala nga beewaala okukungula akyali omuto.
Kuno okulabula kukoleddwa akulira ekibiina ekya UVAN Ltd Aga Ssekalala Jr, nga ono okwogera bino abadde asisinkanye a bantu be Kimennyedde wano e mukono.
Ono agamba nti okwagala ensimbi ezamangu kufiirizza uganda akatale , kale nga kino abalimi…
Bya Samuel Ssebuliba
Gavumenti eragidde ministry ekola ku by’etambula okwanguwa okukyusa obuuma obugema emotoka okuduka embiro ezitagwana buyite Speed Governors, olwo bateekemu obw’omulembe obusobola okulondolwa, era nga buliko n’obuuma obukwata amaloboozi.
Bino okutuukibwako kidiridde akabenja akaagudde waano Kiryandongo okukakana nga abantu 23 .
Bwabadde abuulira palamenti ebyakanyizidwako cabinet ku nsonga y’obubenje ku nguudo,minisita omubeezi akola ku by’entambula Aggrey…
