Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku byalo Kisowera, Kituuba, Canansite ne Mpoma
Nama mu district ye Mukono babadde nokwekalakaasa okwemirembe nga bawakanya entekateeka yekitongole kya Atomic Energy Council okuzimba etterekero lyamayengo oba radiation mu kitundu kyabwe.
Abatuuze bagamba nti kino kyabulabe eri obulamu bwabwe nga bawera nti bakugenda mu maaso okukiwakanya, nga bagala Ministry yamasanyalaze erowooze ku kitundu ekirala.
Kati…
Bya Ivan Ssenabulya
Minisiita w'ebye'njigiriza mu munisipaali ye Mukono nga ye mumyuka wa mayor Jamadah Kajooba mweralikirivu olwamasomero ga gavumenti okuba nti tegalina byappa ku ttaka kwebatudde.
Amassomero gano agamba nti kuliko Kati P/S e Katikkolo, Ngandu P/S e Ngandu, Lwezza P/S e Wantoni-Lwezza ne
Kiwanga UMEA erisangibwa e Nantabuulirirwa.
Kajoba agambye nti amassomero gano galekedde okusanawo, ngasabye gavumenti…
Bya Abubaker Kirunda
Omuntu omu kikaksidda nti afiridde mu kubwatuka okubadde mu kkolero erisanuusa ebyuma erya Yogi steel factory nabalala 7 nebabuuka nebisago, wali mu munispaali eye Njeru mu district ye Buikwe.
Omugenzi ye Justus Eyaku ngabadde mutuuze ku kyalo Malindi mu munipaali ye Njeru.
Ekivuddeko okubwatuka kuno, okubaddewo amakya ga leero tekinategerekeka .
Omwogezi wa poliisi mu tundutund…
Bya Steven Ariong
Maama owolubuto afiridde mu matana, oluvanyuma lwe mmotoka gyabadde atambuliramu okulemererwa okusala olutindo lwe Lorengechora mu bitundu bye Karamoja lwebajjewo nebasaawo nebasaawo ekigoma.
Kino kyavudde ku mazzi amangi agabooze mu kitundu kino.
Omugenzi ye Rose Angolere owemyaka 27 ngabadde agenda Soroti mu ddwaliro okusumulukuka.
Sarah Nangiro abadde amulabirira ategezeza nti ono yabadde asazeewo azalire Soroti bbaawe…
Bya Ivan Ssenabulya
Abasomesa basabiddwa okwetanira enkola endala ezitali za bulabe okugunjula abaana.
Okuwabula kuno kubadde mu musomo gwabasomesa ogwe nnaku ebbiri ogwategekeddwa ababulirira aba A-Z Professional Counseling and Support Center, nga guyindidde ku masomero ga Biraali e Bwaise nga gukomekerezebwa olwaleero.
Bwabadde ayogerako naffe ssenkulu wekitongole kino Ali Male agamba abasomesa, balina okwewala okulinyirira eddembe lyabaana.
Bino byebigobererdde…
Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono eriko omwana gwetasizza eyabadde abbiddwa, Chelsea Tezanya, muwala wa Arthur Tazenya omutuuze we Kira.
Omwana Chelsea yabadde abbiddwa omukozi aterekese nga Esther Mulekateete eyabadde yakakola mu maka ga Tazenya ennaku 4 zokka.
Poliisi egamba nti yasobodde okulondoola yaaya nga bakozesa ssimu ye oluvanyuma yasangiddwa nomwana ku kyalo Kachanga mu…
Bya Gertrude Mutyaba
Abakungu ba District ye Sembabule babiri bakwatiddwa poliisi wakati mu kunonyereza palamenti kweriko okwokubulankanya kwensimbi.
Charles Musinguzi akulira eby’ensimbi e Sembabule n’akola nga engineer, Denis Sekitoleko bebakwatiddwa oluvannyuma lw’okulemwa okulaga ensasaanya y’obukadde 312 ezaali ez’okuddaabiriza enguudo.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensimbi mu gavumenti ez’ebitundu ku Ssaza e Masaka nga bombi batunudde…
Bya Ivan Ssenabulya
The President Yoweri Kaguta Museveni
Obuyiiya nokuvumbula kwa technologiya mu byobusuzi is kigwana kuyambako okwongauya ebyobusubuzi wabula ssi kudibya empagi ezimanyiddwa ebyobusubuzi kwebitambulira.
Okuwabula kukoleddwa President Museveni ngagambye nti abantu abasing berabidde ebyobusubuzi engeri gyebirna okukwatibwamu nebatwalibwa nokukyamukirira kwa technologiya.
Presidenti Museveni abadde mu kutongoza olukungaana lwa BLOCKCHAIN mu Kampala,.
Mungeri yeemu gavumenti yeyamye okwongera okuteeka ku…
Bya Abubaker Kirunda
Gwebateberezza okuwamba omwana abatuuze batwalidde amateeka mu ngalo nebamukuba okutuuka okumutta.
Bino bibadde ku kyalo Bugodi mu gombolola ye Baitambogwe mu district ye Mayuge.
Omugenzi kidiridde okumulaba ngaliko omwana womutuuze ategerekeseko nga Maliki, ngamutwala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga east James Mubi ategezeza nti omusajja ono gwebabadde batanategeera mannya ge nebimukwatako, afiridde mu ddwaliro lye Igang-Nakavule…
Bya Ritah Kemigisa
Abasawo nabasomesa ba gavumenti kakati bagenda kusalulwanga, nnaku zebakoze ngezo zebebulankanyizza ku mirimu ssi bakusasulwa.
Okusinziira ku akulira ebyokugula ebituntu mu wofiisi ya ssbaminista Prof Ezra Suruma, kino kyakukolebwa nga bayita mu byuma byebafunye okuva e Bungereza olwaleero nga bibalirirwamu emitwalo gya dollar 60 ebinalondoolanga.
Kuno kuliko biometric machines 52, computers 56, amasimu 60 nezzi…
