Bya Ivan Ssenabulya, Magembe Sabiiti, Malikih Fahad ne Sadat Mbogo
File Photo:Ndirangwa eyalondewa ku bwa Mufti
Kibuli Supreme Mufti Sireman Ndirangwa asabye wabeewo obumu, mu mbeera egenda mu maaso etali ya butebenkevu okuwamba nokutt abantu.
Bwabadde abuliira abaasiraamu Sheik Ndirangwa agambye nti kino kyekijja okuyamba.
Wano era asabye gavumentyi nakakiiko kebyokulonda ku mulundi guno, okulondesa ba ssentebbe bebyalo nga…
Bya Kato Joseph ne Ritah Kemigisa.
Muft wa uganda Sheik Shabana Ramadhan Mubajje asabye government okwanguwa okuliyirira abayisiramu bonna abazze batekebwako emisango egitali gyabwe n'okutusibako obuvune.
Okwogera bino abadde wano ku muzigiti gwa Old Kampala mu kusaala Eid eno
Ono agambye nti abasiraamu bangi bazze bakwatibwa, nebatekebwako emisango egy'obutemu, kyoka oluvanyuma kizuuse nti abatemu balala.
Ate e Kubuli Jajja…
Bya Ben Jumbe.
Ebibiina ebirwanirira edembe ly'obuntu binakuwalidde omukulembeze we gwanga olw'okuvaayo nategeeza nga kooti ne police bwebitagwana kuddamu kukiriza muntu kuweebwa kakalu, nga agamba nti kino kyekivirideko obumenyi bwamateeka okweyongera.
Olunaku lw'eggulo omukulembeze we gwanga yakaladde nagamba nti abantu gamba nga abateberezebwa okutta abantu tebagwana kuloza ku kakalu ka kooti oba police.
Twogedeko ne executive director wa…
Bya Magembe sabiiti.
Mityana :Omuliro gusanyizawo ekisulo kya bayizi ku somero lya Good life Primary school mu gombolola ye Nabingoola e Mubende.
Akulira esomero lino Kaddu Rafairi ategezezza nga omuliro guno bwegutakosezza mwana yena wabula nga ebitabo ne bikozesebwa bya bayisizza bwebisanyizidwawo omuliro guno ogukute mu kiro ekikesezza leero.
Omuddumizi wa police e Mubende Okoyo Martine ategezezza nga…
Bya Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero emizigiti mu gwanga lyonna gibooze abayisiriramu abakedde okwetaba mukusaala Eid-el fitri, nga eno yekomekerezza okusiiba omwezi guno ogwa Ramadan.
Wano e Kibuli supreme mufti Sheik silima kasule Ndirangwa avumiridde etemu erisusse mu gwanga, nga wano anokodeyo n'omubaka we Arua municipality Ibrahim abiriga eyakattibwa.
Ono agambye nti ekitta bantu kyatandikira ku bakulembeze b'abayisiramu abazze…
Bya Ivan Ssenabulya
Eri abayisiraamu omwezi gulabise era okusaala Eid kwa lunnaku lwankya.
Akulira ebya Sharia ku kitebbe yobusiraamu ku Uganda Muslim Supreme Council Sheik Yahay Ibrahim Kakungulu yakaksizza ngokusaala Eid El Fitri .
Ategezeza nti okusaala kwakubeera ku muzikiti omukulu ku kasozi Kampala Mukadde okutandika essaawa 3 ezokumakya.
Bya ssebuliba samuel.
Amagye ge gwanga aga UPDF gakakasizza nga bwegalina eyaliko omuduumizi wa polisi Gen Kale kayihura , era nga kakano akuumirwa mu Baracks yamagye wano e Makindye.
Ekiwandiiko ekituwerezeddwa nga kiriko omukono gw'ayogerera amagye ge gwanga Brig. Richard Kalemire, kiraze nga kayihura bweyakimiddwa enyonyi yamagye okuva mu famuye e Kashagama Lyantonde okubaako byanyonyola.
Ono agambye…
Bya Ritah Kemigisa ne Sam Ssebuliba
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alabudde nti tajja kukiriza enkola eyokuwanga abatemu nabantu abalala abali ku misango eminene okweyimirirwa.
Wano alabudde poliisi nabekitongole ekiramuzi obutamala gawa bantu abali ku misango egya namunkululu okweyimirirrwa, okulya obutaala.
Presidenti Museveni bino byayogedde oluvanyuma lwokusoma embalirira ye gwanga akakwungeezi kano.
Presidenti Museveni olumaze mu bukambwe owekitalo…
Bya Samuel ssebuliba ne Kyeyune moses.
Embalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi omugya 2018/19 esomeddwa ku Serena Conference Centre mu Kampala.
Mu lutuula olukubirizibwa speaker Rebbecca Kadaga, Minista owebyensimbi Matia Kasija agambye nti ebyenfuna bye gwanga byakukula ku 5.8% mu mwaka gwebyensimbi 2018/19, bwogerageranya ku 3.9% nga bwegubadde mu 2017/18.
Minista omuwanika awadde egwanga esuubi nti wajja kubaawo okukula…
Bya Damali Mukhaye.
Olunaku olwaleero company eyawebwa ogw'okuzimba ekizimbe ekya church house kaakano ekibuddwamu elya St Janani Luwum Church House wano ku Kampala Road bamaliririzza omuliomo, era ekizimbe nebakikwasa abakulu mu kanisa ya uganda.
Bwabadde akwasibwa ekizimbe kino, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda His grace Stanley ntagali agambye nti kino kiwemense obuwumbi 30, wabula nga kigenda kuba…
