Bya Ndaye Moses
Nga Uganda ekuza olunnaku lwabakozi olwaleero, abasawo abakyali mu kutendekebwa nate batadde wansi ebikola nga bawakanya ekyokulwawo okubasasula ensako yaabwe.
Presidenti owabaana bano Robert Lubega ategezea nti mu myezi ebiri ejiyise, gavumenti ebadde tebakombya ku munwe gwa nnusu.
Kati bano balangiridde akediimo kaabwe mu malwaliro 36 okwetoola egwanga gyebabadde bakolera emirimu.
Bano era baemulugunya nti banaabwe…
Bya Gertrude Mutyaba
Ssentebbe owekibiina kyabakozi mu gwanga ekya NOTU Usher Wilson Owere asabye omukulembeze we gwanga, okunogera eddagala ebizibu ebiri mu ministry yebyobulamu.
Owere abadde ayogerera ku mikolo gino, kwekutegeeza president Museveni nti ministry ejjuddemu okulwanagana.
Ono ategezeza nti omukulembeze we gwanga talimbibwa nti buli kimu kiri bulungi, ,wabula amazima gali nti waliwo ebisobye.
Owere avumiridde ekyokuleeta abasawo…
Bya Sam Ssebuliba
Abakozi ba gavumenti abasaba okubongeza emisaala, bakulinda, era ensonga zaabwe ssi zakukolebwako kati omukulembeze we gwanga YKM bwategezeza nti akyayagala kukola nguudo.
Kino kidiridde akulira ekibiina kyabakozi mu gwanga ekya National Organization of Trading Union Usher Wilson Owere, okusaba president Museveni nti nga bwakoze enguudo kati atunule nemu misaala gyabakozi.
Wabula presidenti Museveni agambye nti…
Bya Ndaye Moses.
Ministry ekola ku by'obulamu etegeezeza nga bwerina entekateeka ez'okutegeka okugema okwekikungo eri abaana bonna abatanaweza myaka etaano okusobola okubatangira ekirwadde eky'embiro.
Bano bagenda kuweebwa eddagala okusobola okubataasa obuwuka obuleeta obulwadde buno naddala mu baana abato.
Twogedeko n'akulira ebyokutekateeka mu kitongole ekya a UNEPI ekikola ku byokugema abaana nga ono ye Dr. Bernard Opar n'agamba nti…
Bya Getrude Mutyaba.
Abantu abasooba mu 700 baweereddwa obujanjabi obw'obwereere okuva mu bitongole eby’enjawulo mu lusiisira lw’ebyobulamu olubadde mu kibuga kye Lukaya ku ddwaliro lya Matovu Medical Centre.
Mu ntekateeka eno endwadde ezijanjabiddwa kubadeko kookolo,mukenenya, omusujja, akafuba, lubyamira n’endala.
Omusawo omukugu mu kujanjaba endwadde z'abaana Dr Margaret Ntambaazi nga yoomu kubawadde obujanjabi akubirizza abantu okutwala obulamu bwabwe ng’ekikulu era naasaba abazadde okugemesa abaana…
Bya samuel Ssebuliba ne Getrude Mutyaba.
E ssembabule ewali emikolo egy'okukuza olunaku lwabakozi agavaayo galaga nga emikolo bwegitandise wabula nga gigootanyiziddwa enkuba ekedde okufudemba.
Mukaseera kano abakungu ba government batandise okutuuka, era nga akadde konna ne president era nga yemugenyi omukulu wakutuuka.
Okusinziira ku ntekateeka, abantu 150 bebagenda okuweebwa emidaali egibasiima.
Abamu kubagenda okuweebwa emidaalo kuliko Joshua…
Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya
File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe
Uganda yakwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’abakozi, olwemkya.
Emikolo gye gwanga emitongole gitegekeddwa okubeera mu district ye Ssemababule.
Wabula owaleero abekibiina kya FDC balangiridde emikolo egyabwe, ejigenda okukwatibwa mu district Buikwe.
Bwabadde ayogereko ne banamawulire Habib Buwembo akola ku by’ekikula kyabantu mu kibiina agambye nti eno…
Bya Benjamin Jumbe
Waliwo abanadiini abasazeewo okutekateeka okusaba okwegwanga lyonna, nga bagala okusabira ebikolobero eby’obumenyi bw’amateeka ebisusse mu gwanga.
Bano webaviirideyo ngebikolwa eby’okuwamba, obutemu, okunyaga n’okulya enguzi byeyongedde mu gwanga lyonna.
Bwabadde eyogerako ne banamawulire Apostle John Bunjo owa Christian Restoration Ministries International agamba nti kati webituuse egwanga lyetaaga kusabirwa kubanga buli kigenda mu maaso kiraga nti Uganda…
Bya Ndaye Moses.
Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwetanakola kusalawo okw'onkomeredde ku kyokuleeta abasawo okuva mu Cuba bajje bakole mu uganda.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Dr. Diana Atwine nga ono ye muwandiisi ow'enkalakalira mu ministry eno agambye nti government mu kaseera kano ekyakubaganya ebirwozo ku kiteeso kino, kale nga akadde konna okusalawo kwakukolebwa era banansi baakumanyisibwe.
Ono…
Bya Abubaker Kirunda.
Wano e Bugiri waliwo omusajja wa myaka 65 agonose naafa, nga ono abadde mu baala mu kabuga ke Busowa
Omugenzi ategerekese nga Canani Mugoya nga ono abadde yasuze mu baala nga yeewamu, bubade bukya naafa.
Twogedeko n'ayogerera police yeeno James Mubi naakakasa ebibadewo, n'agamba nti kati okunonyereza ku nsonga eno kutandise
Ate e Iganga ku kyalo…
