Bya Gertrude Mutyaba
Ekifananyi: kijiddwa mu bikadde
Poliisi ngeri wamu n’ebitongole byebyokwerinda omuli amagye bakoze ekikwekweto mwebayooledde abatebrezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 37 mu kibuga kye Masaka.
Ekikwekweto kino kikoleddwa mu gombolola ya Katwe-Butego mu bifo eby’enjawulo.
Abamu ku bakwate basangiddwa namajambiya, embazzi, ennyondo, enjaga, ebyuma ebisumulula emmotoka, emisokoto gya shisha n’ebirala, ebimenya amateeka.
Omubaka wa gavumenti e Masaka Joe Walusimbi…
Bya Shamim Nateebwa
Omuyizi wa Busoga College Mwiri asoma S3 asitudde muyizi munne nga bali ku ssomero n'amukuba wansi n’amutta.
Christopher Muwanguzi, owa S 4 yasitudde Kevin Macho n’amuggunda wansi nga baakamala okutendekebwa omuzannyo gwa ‘Rugby ekimuviriddeko omusaayi okuyiika mubwongo nafa.
Kigambibwa nti Macho, olwagudde wansi n’atandika okwesika nga basoose mumutwala mu ddwaliro lya Rippon embeera bwetabanguse, nebamwongerayo…
Abakadde abaazirwanako beeyiye mu kakiiko akanonyereza ku by'etaka nga bagaala kabayambibwe kubantu abaababbako etaka lyabwe.
Mu bakadde bano mubaddemu ne Mzee Kawuki George ng’ategezezza nti atemera mugy’obukulu 114, Wasswa Kisitu myaka 107 n’abalala abadde mu myaka kyenda.
Bano nga begatidde mu kibiina kyabwe ekya Uganda Ex-service men of World war 1 and 2 of Kyaggwe Chapter,bagamba nti…
Bya Samuel Ssebuliba.
Ssabaminister we gwanga lyatu Uganda Dr Ruhakana Rugunda ategeezeza nga ebeeyi ya seminti okulinya bwekivudde ku bantu abagula seminti okweyongera okulinya buli kadde.
Bino bigidde mu kaseera nga abantu abagula cement mu Uganda bakaaba olw'ebeeyi eyewanise nga mu kaseera kano ensawo eyali egula emitwalo 30,000 kati etuuse ku mitwalo 50,000
Bwabadde ayanukula ebibuuzo by'ababaka mu…
Bya Ben Jumbe.
Amawulire agenaku getwakafuna galaga nga ezike eribade likira obukadde mu bugwanjuba, obuvanjuba ko n'amasekati ga Africa erimanyiddwa nga Zakayo bwerifudde olw'eggulo lwa leero.
Omukulu Zakayo ono abadde mutaka wano e Ntebe era nga waafiridde nga emyaka akoonye 54
Twogedeko n'akullira ekifo ekya Uganda Wildlife Education centre James Musinguzi nakakasa okufa kwa musajja mukulu ono.
Ono…
Bya Magembe Sabiiti
Abasomesa 13 abakwatiddwa olw'okusomesa abayizi nga tebalina bisanyizo mu district ye Mubende basimbiddwamu kooti nebasomerwa omusango gw'okutandikawo amasamero bukyamu.
Abasomesa bano bakwatiddwa oluvanyuma lwamasomero gaabwe okugalwawo nga tegalina bisanyizo kyoka nebaddamu okusomesa nga tebakiriziddwa.
Omulamuzi wa kooti e Mubende Komaketch William yasomedde abasomesa bano emisango, 3 ku bbo nebagukiriza ate 10 nebagyegaana omulamuzi nabasindika mu…
Bya Abubaker Kirunda
File Photo: Endagga muntu yo Mukulembeze
Abobuyinza nebananyini zzi lodge mu Kabuga ke Buwenge mu district ye Jinja basazeewo nti tebajja kukiriza muntu yenna, mu kisulo nga talina ndaga muntu.
Mu lukiiko lwabananyini ludge olwatudde, omuddumizi wa poliisi mu Kiira North Henry Mugarura , kino kigendereddwamu okulwanyisa abamenyi bamateeka, ebkukuma muzzi lodge.
Abazzi lodge bakanyizza wabula nebasaba…
Bya Sadat Mbogo
Entiisa ebutikidde abatuuze Ku kyalo Ggolo mu gombolola ye Nkozi e Mpigi bwebasanze omulambo gw'omwana ow'emyezi 3 nga yatugiddwa nagusulibwa ku mabbali g'ekkubo.
Ono asangiddwa abamu ku batuuze ababadde bagenda ku mirimu gyabwe bebalabye omulambo guno, ngemabbali wasangiddwawo enkata, lumonde omwokye, nakasuuka nakajjirita.
Omu Ku batuuze, Makumbi Charles atutegeezezza nti yandiba nga abaamusuddewo baabaddemu ebikolwa…
Bya Gertrude Mutyaba
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’abakozi mu gwanga olugenda okuberawo sabiiti ejja ku Lwokubiri mu district ye Sembabule ziwedde.
Okusinziira ku bakulembeze, omugenyi omukulu asubirwa okubeera omukulembeze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Lameck Kigozi akakasizza abantu ng’ebyokwerinda bwebiri gulugulu.
Bya Ritah Kemigisa.
Nga ebula omwezi gumu gwokka okutuuka ku lunaku olw'amalamaga agaabuli mwaka , nate entakekateeka zitandise ez'okulaba nga oluno luno lubeera makula.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, omusumba wa Tororo Dioceses Emmanuel Obbo nga bano bebatesiteesi agambye nti beetaga obukadde 320 okutekateeka omukolo guno.
Ono agamba nti balina budget ya bukadde 720M, wabula kuzino bakafunako obukadde 390…
