Bya Samuel ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akaladde naategeeza nga bwagenda okuggala radio zonna ezimala obudde mu nsonga ezitazimba gwanga mukifo ky'okulwanyisa obwavu nga bayigiriza abantu eby'okulima.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire nga asinziira mu maka g’obwa president e Lira president agambye nti okulwanyisa obwavu mutawaana munene ogwetagisa buli munna- Uganda okubaako kyagatako, naye kiruma okulaba…
Bya Malikh Fahad
Omusomesa wa secondary akwatiddwa olwokubba vanilla.
Omukwate musomesa ku ssomero lya Kitengesa comprehensive secondary school nga kigambiwa nti yabbye vanilla okuva mu nnimiro yomutuuze.
Bino bibadde ku kyalo Butale mu district ye Masaka, ngabatuuze babadde bamuguddeko nebamukuba poliisi yetasizza.
Bano oluvanyuma bakanyizza, omusomesa neyeyama okuwaayo ekitundu ttaka lye nobukadde 3 ngengasi.
Bya Shamim Nateebwa
Abakulu okuba mu bwakabaka bwa Buganda nga bakulembeddwamu Kamalabyonn, Charles Peter Mayiga beyanjudde mu kakiiko komulamuzi Catherine Bamugemereirwe, akanonyereza ku mivuyo gye ttaka, okuwa endowooza zaabwe.
Kattikiro ayongedde okukakasa akakiiko, nti ettaka lya mailo ssi lyerivuddeko endoliito mu gwanga.
Kamalabyonna era agenda kulaga Buganda weyimiridde ku nsonga yendoliito ku ttaka mu gwanga.
Gyebuvuddeko kianjukirwa nti akakiiko…
Bya Ivan Ssenabulya ne Sam Ssebuliba
Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lwokulwanyisa akatayabaga komusujja gwensiri, the World Malaria Day.
Ebibalo okuva mu ministry yebyobulamu biraga nti omusujja gukutte kiffo kya ku mwanjo okutta abantu, ngomwaka 2017 abantu 27% abafa bafa amu sujja gwa nsiri.
Mu Uganda era ku bantu 1000, 478 babaeera balwadde ngokusinga baana…
Bya Kyeyune moses
Olunaku olwaleero Parliament esiimye banabyamizanyo ba Uganda abagenda okukiika mu mpaKa z'amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza okukakana nga batuweesezza ekitiibwa.
Bano webaviirideyo nga omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yakamala okukyaza bano e Ntebe naasiima kyebaakolera egwanga.
Ekiteeso ekisiima bano kireteddwa omubaka we Ajuri Hamson Obua nekisembebwa omubaka we Bukedea Annita Among.
Mukwogera omubaka Obua agambye nti…
Kyeyune Moses
Waliwo ababaka ba parliament abatadde minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga kuninga Gen Jeje Odongo ku ninga nga ono baagala abanyonyole lwaki obumenyi bw'amateeka bweyongera bweyongezi mu gwanga
Kuno okwemulugunya kuleeteddwa ababaka okubadde owe Ishaka Gordon Arinda, ow'eBusia Municipality Godfrey Macho n'owe Buhweju Francis Mwijukye , nga bagamba nti bannayuganda battibwa buli kaseera,…
Bya Sam Ssebuliba
Bann-Uganda bakyalinamu enkenyera bwekituuka ku kunenya ku bakulembeze baabwe ku mutendera ogwa waggulu, songa bwekituuka ku bakulembeze aba wansi bakolokota awataliimu kutya kwonna.
Bwabadde afulumya alipoota gyebatuumye Frankly speaking oluvanyuma lwokunonyereza okwakoleddwa aba Twaweza Uganda, ebibalo biraze nti 85% bann-Uganda bakiriza nti batekeddwa okunenya abakulembeze baabwe ate 44% bebakakafu ero obukuumi gyebali nga baogedde…
Bya Ivan Ssenabulya
Abagoba ba Boda Boda banenyezezza nnyo gavumenti, olwebikwekweto ebitaggwa pikipiki zaabwe eziwerako mwezikwatiddwa nabo nebagalirwa.
Bano kati basabye gavumenti ebaweeyo akalembereza, okussa ku bisale byopkufuna permit ngekimu ku binayamba okulongoosa embeera gyebakoleramu.
Bwabadde ayogerako naffe, akulira Boda Boda mu Mukono Central Division Moses Musasizi agambye nti ekeizibu kyebalina byebisale ebiri waggulu.
Ono agamba nti kino kyakugenda…
Bya Benjamin Jumbe
Palamenti eyise teem ye gwanga eyakiika mu mizannyo gye commonwealth ku kyemisana olwaleero.
Kino kidiridde okukola aobulungi nebitone byebayolesa, bwebawanika bendera ya Uganda mu Gold-coast munda mu gwanga lya Australia.
Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wakulira ebyamwulire mu palamenti, Hellen Kaweesa ategezeza nti era wagenda kubaawo olutuula olwenjawulo, okuleeta ekiteeso okubasiima.
Kinajjukirwa mu gandaalo lya sasbiiti omukulembeze…
Bya Malikh Fahad
Police ye Lyantonde eriko omusajja owemyaka 29 gwegalidde nga kigambibwa nti yakidde muwala we namusobyako.
Omukwate mutuuze ku kyalo Kinoni mu gombolola ye Kaliiro mu district ye Lyantonde nga kigambibwa yatuzizza kawala ke akameyaka 11 ku mbuga ya sitaani.
Okusinziira ku balirwana bomusaja ono, bamuguddeko lubona ngasinda omukano ne kawala ke era mu bukambwe bagezezaako…
