Bya Mbogo Sadat.
Omubaka wa president e Mpigi Hajji Swaibu Lubega alagidde abakulembeze mu bitundu bino okuyambako police batandike okukwata abaana abataayaaya nga tebasoma nadala mukade kano akokusoma.
Omukulu ono okwogera bino abadde Buwama ku gombolola bw'abadde ayogerako n'abamu ku batuuze abamuloopedde nga abaana abali wansi w'emyaka 14 bwebasusse ku makubo e Kayabwe, Mbizzinnya, Kamengo ne Mpigi…
Bya Ruth Anderah.
Abalamuzi basatu abatuula mu kooti ejulirirwamu basatu nga bakulirwa eyali amyuka ssabalamuzi , nga ono ye mulamuzi Steven Kavuma basazewo nti Peter Mugema Panadol y’emubaka omutuufu owa Iganga Municipality, nga bano basazizaamu okusalawo okwa kooti ye Jinja eyali erangiridde Mudyobole Abdul Nasser nga omuwanguzi.
Bano mukusalawo kwabwe bagambye nti ensonga ezesigamwaako omulamuzi Margaret Mutoni…
Bya ben Jumbe.
Omukulemebeze we gwanga aliko e baluwa gyawandiikidde ministry ekola ku nsonga z'omunda mu gwanga , nga alagira okugobwa kw'abakungu 2 abakola ku nsonga z'obutuuze mu uganda.
Ab’enkizo abagobeddwa kuliko director akola akola ku by'obutuuze Godfrey Sasaga ko ne commissioner Anthony Namara.
Twogedeko ne minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Obiga Kania n’agamba nti…
Bya Getrude Mutyaba ne Malik Fahad
E Ssembabule waliwo omuserikale akubye abantu babiri amasasi n’abattirawo nga entabwe evudde ku nkayana zataka.
Kigambibwa nti omusirikale ono ategegerekeseeko elya Ogwang lyoka ekikolwa kino eky’obutemu ekikoledde ku kyalo Nkonge mu gombolola ye Lwemiyaga, bwakubye Joseph Engule ne Tabu Egesa amasasi nga bagezaako okumubbako emmundu nga bakozesa akasaale.
Ayogerera police yeeno Lameck…
Bya Ruth Anderah
Waliwo omutunzi we ddagala awawabidde ekitongole kya National Drug Authority mu kooti enkulu, ngabalanga kulangirira ddagala lye erya Hepatitis B eigema nti ffu songa bebamu abalyekebejja nebalikakasa.
Agnes Nabulwala owa Safe Script Pharmaceuticals Ltd agamba nti yagoberera emitendera gyonna egya Ministry yebyobulamu ngafuna edagala lino.
ono era agamba nti eddagala lino abaddenga aliguza namsomero agenjawulo, nabantu…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi ya Jinja olwaleero ekutte omusajja owemyaka 30 ateberezebwa nti yeyatomera natta omugenzi Teddy Sezi Ceeye nga 1st March wali e Nakawa ku bitaala.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigyire, baludde nga balinnya omukwate akagere gwebamenye nga Rogers Kirya nga bakozesa camera eyali ku bbali okumutegeera.
Kirya nga mugoba wa boda-boda…
Bya Ruth Anderah
Kooti ya Buganda Road eragidde poliisi okuwaayo passporta ya Frank Gashumba asobole okwetaba mu lukungaana lwebyobulambuzi, oluvanyuma lwokukola okusaba kuno.
Ekiragiron kiyisiddwa omulamuzi wa kooti ya Buganda Road James Ereemye Mawanda.
Wabula agobye okusaba kwa Gashumba okumujjako eisango ejimuvunanwa ngagamba nti jirimu okutyoboola eddembe lyobuntu.
Gashumba ne muganda we Innocent Kasumba bavunanibwa emisango 26 egyekuusa ku…
Bya Kyeyune Moses
Abakulembeze bamawanga ga Africa emisana ga leero batadde omukono ku ndagaano gyebatuumye Kigali declaration etekawo ebyobusubuzi awatali akauba ku Mukono, ngegwanga lya Niger, lyelisoose okutekako omukono.
Endagaano eno etukiddwako mu kibuga kya Rwanda ekikulu Kigali oluvanyuma ttabameruka gwebabaddemu okumala ennaku 3.
Omukulembeze we gwanga lya Rwanda President, Paul Kagame ategezeza nti guno tegubadde mukolo ogwabulijjo…
Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi e Lukaya eriko ekoze ekikwekweto mweyooledde abavubuka abeefumbiza nokufumbirwa nga tebaneetuuka.
Abakwatiddwa babadde bataano nga ba myaka 17 ng’abawala babadde mu myaka 15.
Akuliddemu ekikwekweto Patrick Emukule akunyizza ngai wamu nomubaka wa gavumenti Sarah Nanyanzi, nebogera ebitakwatagana.
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi eriko omugwira gwekutte ku kisaawe Entebbe ngakukusa ebiragalalagala.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesigyire, Karim Elisabeth owemyaka 53 munannsi wa Norwegh.
Oweyesigyeri ategezeza nti ono bamukutte ne grama zenjaga 3700 gyeyabadde akukulidde mu nsawo ye, ngaylekera Norway ku nnyonyi ya Brussels airlines.
Bino webijidde nga waliwo abagwira babiri abakajja bakwatibwe ku…
