Bya Ivan Ssenabulya.
Oluvanyuma lw'abanna FDC okuwangula okulonda kw'e Jinja East ekyaletedde NRM okutegeeza nga bwegenda mu kooti, bo banna-DP babasabye obutamala budde kugenda mwebyo kuba tebalina bujulizi bwonna.
Kinajukirwa nti munna- NRM Igeme Nabeeta yakubwa bubi nyo mu kalulu akaaliwo sabiiti ewede, era muna FDC Paul mwiru n'alangirirwa, kyoka ssabwandiisi w'ekibiina Justine Kasule Lumumba nategeeza nga…
Bya Abubaker Kirunda.
Mu district ye Iganga agavaayo galaga nga abantu 4 bwebafudde, n’abalala musanvu nebabuuka n’ebisago, nga kino kidiridde akabenje okugwa mu district eno.
Kano akabenje kagudde wano ku kyalo Namasoga ku luguudo olugatta Igang-Jinja.
Kano akabenje kagudewo oluvanyuma lwa takisi number UBA 343B ebadde eva e Kampala nga ebade edda Mbale okukonagana ne Fuso namba UAA…
Bya Ruth Anderah
Eyali omubaka we ssaza lya Bubulo West mu Palamenti Tonny Kipoi Nsubuga asindikiddwa mu kooti yamagye gyagenda okuwozesebwa e Makindye.
Kipoi avunanibwa misango egyekuusa ku byokwerinda nga kigambibwa nti yajizza mu November 2012 ne December 2013, mu districts za Uganda ezenjawulo, nekigendererwa okutabangula ebyokwerinda bye gwanga.
Ono alabiseeko mu kooti eno nabajaasi abalala 5 abebgye…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Kiyoola ekisangibwa mu gombolola ye Nakisunga mu district ye Mukono baliko, omusajja gwebaguddeko ekiyifuyifu nebamunaaza lwa bikyaafu.
Omusajja ono aterekese erya Kiremeera nga mutemi wa mbizzi, abatuuze bagamba nti babadde bamulabudde enfunda eziwera nayenga tafaayo kwekwekolamu omulimu nebamunaaza.
Mukama we abadde amukozesa aterekeseeeko erya Bataamye agamba omuvubuka abadde amugobera neba kasitoma.
Bya Ivan Ssenabulya
Presidenti wekibiina kya FDC Patrick Amuriat Oboi agamba nti yenyimiriza kubanga asobodde okugonjoola obutakanya wakati wa banakibiina, beyavuganya nabo mu lwokaano lwobwa presidenti.
Bwabadde afulumya alipoota eyebyo ebikoleddwa mu bbnag lye eryemyaka 100 mu wofiisi, Amuriat ategezeza nti basisinkanye ne Gen Mugisha Muntu eyali presidenti wekibiina, era nebakanya okukolera awamu.
Wabula bwabuziddwa lwaki Gen Muntu…
E mubende police etegeezeza nga bwekutte akulira eby'okwerinda ku gombolola muyite GISO nga ono bamulanze kwetaba mukubba nte.
Akwatiddwa ye Nkangi Mathias , nga no ye GISO wa Mubende municipality.
Ono okukwatibwa agidiridde omutuuze Muwereza Birimumaaso okumulumiriza nga bweyabye enteeze ku kyalo Kibyayi .
Nanyini Nte ategezezza nga bweyawulidde atwala Enteze kwekutemya ku batuuze ne basobola okukwata Nkangi…
Bya Shamim Nateebwa.
Amasomero gasabidwa okwanguwa okugula obuuma obukwata laddu, nadala mu kaseera kano nga twakalabulwa nga laddu bwezigenda okutandika.
Gy’ebuvudeko okulabula okwavudde mu kitongole ekikola ku ntebereza y'obudde kwalaze nga enkuba eno egenda okutonya nadala wano okwetoloola enyanja Nalubaale bwegenda okubaamu ne laddu, nga kwogasse n’okwanjaala kwamazzi.
Kati twogedeko ne minisita wa Buganda akola ku by’enjigiriza Hajji…
Bya Samuel ssebuliba.
Ebibiina ebirwanirira edembe ly’obuntu bisabya amyuka Ssabapolice we gwanga omujja Brigadier Muzeeyi Sabiiti obutageza kutandika kutendeka police ye gwanga ng’atendeka amagye.
Kinajukirwa nti omukulu ono bweyabadde afulumya abaserikale abaabade mu kutendekebwa wano e Kigo, yagambye nti ye talaba njawulo wakati wa police n’amagye, kale nga police egwanga okwetegeka okukola emirimo nga egyamagye singa eba…
Bya Ndaye Moses
Abaasomerako ku ssomero lya Kibuli SSS basabye ministry yebyenjigiriza nemizannyo okukangavvula, eyali omukulu we ssomero agambibwa okukabasanya.
Gyebuvuddeko eyali omukulu we ssomero lino eyali aluddeko Hajj Ali Mugagga yakakibwa okuddako ebbali anonyerezebweko.
Okusinziira ku Agaba Abasi omu ku bayizi, balina alipoota eyaabwe naye bakyalinze ministry eveeyo ebeeko kyekolawo.
Bya Ruth Anderah
File Photo: Kaliisoliso wa gavumenti Irene Mulyagonja
Kalisoliiso wa gavumenti omulamuzit Irene Mulyagonja ajjeeyo emisdango ejibadde ku mulamuzi we ddaala erisooka e Nakawa Agnes Napiyo, egyokulya ekyoja mumiro.
Kino kibukuddwa mu maaso gomulamzui wa wansi mu kooti ewozesa abalyake Patricia Amoko amakya ga aleero, Diana Nantabaazi abadde akiridde IGG bwategezeza nti yawereddwa ebbaluwa eyawandikibwa nga…
