Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bugamba nti bwakukolagana ne banabyabufuuzi bokka abategera ensonga zobwakabaka.
Okusinzirra katikiiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abavvoola obwakabaka bali mu butamanya, kubanga tebamanyi kitufu na kikyamu.
Owembuga okwogeera bino abadde asisinkanye Ssempala Kigozi omubaka we Makindye Ssaabagabo mu office ya Katikkiro ku Bulange okumwebazza emirimu gyakolera obuganda.
Yye Ssempala Kigozi awezze okusigala ngawwereza…
Bya Ndaye Moses.
Ebibiina by'obwanakyewa bisabye government okujja licence ku bizinesi zonna ezimenya amateeka ag'okufuweeta taaba.
Twogedeko naakulira ekibiina ekya Uganda National health consumers organization Robinah Kaitiritimba n'agamba nti naddala amaduuka gakyagenda mu maaso n'okutunda sigala newankubadde bakimanyidde dala nti tebakirizibwa kutunda munwe munwe.
Ono agamba nti okusinziira kukunonyereza kwebakakola wano mu kampala kulaze nga amaduuka ebitundu…
Bya samuel ssebuliba.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama akakasiza nga okulonda kwe Jinja bwekukyatambudde obulungi newankubadde waliwo ebirumira, nadala e masese ewagambibwa okubeera abakwatiddwa n'obululu obugolole.
Bwabade ayogerako ne banamawulire wali e Jinja Byabakama agambye nti kituufu okulonda kugootanyiziddwa enkuba eyamaanyi ebadde etonya, wabula nga kino tekigenda kulemesa ntekateeka zonna.
Mungeri yeemu ono agambye nti agenda…
Bya Ivan Ssenabulya
Amawanga ga Africa gasabidwa okuiteeka ensimbi mu bitongole bye nnonyi, ebyamawnga gaabyo mu kifo kyokukozesa ezobwananyini.
Bwabadde ayogerera musomo ogwa Monitor Thought Leaders Forum ogubumbujidde ku Pearl of Africa Hotel, akulira Kenya Airways, Micheal Joseph agambye nti enyonyi nga zino zamugaso nyo mu kukuza ebyenfuna bye gwanga, ngamawanga ga Africa kino gagwana okukitwala nga…
Bya Ruth Anderah
Abantu bonna abaloopa emisango mu kooti nga bawakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bayitiddwa okulabikako mu kooti eya ssemateeka mu maaso gomumyuka wa ssbalamuzi Alfonse Owiny -Dollo ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.
Ebiwandiiko ebiyita abantu bano bifulumiziddwa omumyuka wa ssabawandiisi wa kooti Esther Nambayo nga biwerzeddwa aba Lukwago and company advocates, Uganda…
Wetwogerera nga abadde Ssabapolice ye gwanga Gen Kale kayihura amaze okukwsa munne amudidde mu bigere nga ono ye Martin Okoth Ochola .
Bwbade awaayo obuyinza Kayihura agambye nti omukulemebeze we gwanga okulonda munne gwabade akola naye okumudira mu bigere kimala okulaga nti abadda asiima emirimo gyebabade bakola bonna.
Ono agambye nti byakoze byeraga tebyetaga kwogerera ,…
ENTEBBE
Bya Stephen Kafeero
Waliwo omukozi mu nyonyi ya Emirates agudde okuva ku nyonyi ku kisaawe Entebbe nabuuka nebisago.
Ennyonyi ya Emirates EK 730 ebadde yakattikul abasabaze nga etikka balala okubatwala mu Dubai bino webibereddewo.
Aberabiddeko bategezeza nti omukyala ono asirittuse okuva ku madaala ate ababala bagamba nti agudde oluggi lwemabega nagwa, ekigambibwa nti alabika abadde ayagala kwetta.
Bwabadde ayogerako…
Bya Sam Ssebuliba
File Photo: Ababaka ba Palamenti mu lutuula
Omubaka wa Bugangaize East mu palamenti Onesmus Twinamasiko, yetondedde palamenti, abakyala ne gwanga awamu olwebigambo bye, ebyamuzalidde ebikaawa bweyawagira okukubamu ku bakyala mu maka.
Ono bangi babadde bamunenya nokumuteeka ku nninga byeyayogera abimenyewo, ngabalwanirizi be ddembe lyabakyala bagamba ebigambo bye byabade bikyamu tebyasubiddwa kuva mu mukulembeze.
Omubaka Onesmus yetondedde…
Bya Benjamin Jumbe
Omuntu omu alumiddwa enjuki nafirawo, nabalala 2 nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali bubi.
Abantu bano 3 bababde bakozi mu kitongole kyamasanyalze ekya UMEME nga balumbiddwa enjuki bwebabadde ku mirimu e Nsangi.
Omwogezi wekitongole kyabnaddukirize ekya Red Cross Irene Nakasiita afudde amumenye nga Mahad Ssekiryango.
Ate abalala abali ddwaliro ye James Nasimolo ne Ronald Kimuli.
Kkyo ekitongole kyamasanyalaze…
Bya Gertrude Mutyaba
Akakiiko akategeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 63 katuuse e Villa-Maria mu district y’eKalungu awagenda okubeera emikolo gino nga 13 April 2018, okwekenneenya ekifo n’okulambika enteekateeka ezigenda okugobererwa.
Akakiiko kano kakulembeddwamu sentebe waako ow’ekitiibwa Apollo Nelson Makubuya saako Minister avunaanyizibwa ku ntambula za Ssaabasajja ow’ek. Mariam Mayanja Nkalubo, n’abalala basabye banna Buddu enteeka teeka zonna zebakola bazikole n’okwagala.
Makubuya ategeezezza nti waakuteekebwawo ekijjukizo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja ku…
