Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda butegezeza era abakulu nebakakasa nti bewaddeyo era bakugenda mu maaso okulwanyisa ekirwadde kya Nalubiri oba Sickle cells eyefunyiridde okutuga bann-Uganda.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde atongoza ebikujjuko byamattikira ga Ssabasajja agomulundi ogwe 63 nemisinde ejikulembera egya kabaka Birthday run had akinyikizza nti walwio obwetaavu obwamanyi, abantu nga tebanafumbiriganwa okumanya…
Bya Ruth Anderah
Wabaddewo katemba ku kitebbe kyakakiiko akanonyererza ku mivuyo gye ttaka e Wandegeya omuddumizi we gye lye gwanga David Muhoozi bweyebalambye banamulire nasigala wansi mu basement.
General Muhoozi abadde alabiseeko mu maaso gakakiiko akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemeire okunyonyola ku bigamabibwa nti waliwo banamagye abokuntikko abetaba mu kubba ettaka lya Kyaaka 1 mu district ye Kyegegwa…
Bya Magembe.
Abazadde n'abayizi ku somero lya St Charles Katente primary school mu gombolola ye Kiyuni e Mubende baguddemu eky'ekango omwana owe 14 bwakubiddwa ejinja naafirawo.
Omugenzi ategerekese nga ye Gwoliranye Sylvia nga abadde muyizi mu kibiina eky’omukaaga.
Ono okufa kidiridde kampuni ya ba China eya China Communication Construction Uganda Ltd ekola oluguudo lwa Mubende -Kakumiro okwasa amayinja…
Bya Ruth Anderah.
Waliwo abajasi ba UPDF 4 abagobedwa okuva mu majje ge gwanga nga bano bebabade bavunanibwa ogw'okulumba enkambi y'eKabamba , nga bano babade bawerenemba n'emisango gino mu kootu yamagye wano e Makindye
Abagobedwa kuliko Lt.Col Phillip Frank Eguma, Lt.Ronald Waibi Mwavu, Capt Hilman Bosco Aleper ne Private Kenneth Sekajja.
Kigambibwa nti bano wakati wa September 2013…
Bya Samuel ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ategeezeza nga semazinga wa Africa bwatuuse ku mutendera oguvuganya kukatele k'ensi yonna, nga kino kidiridde abakulembeze okutandika okutekateeka obulungi eby’enfuna.
President okwogera bino abadde wano ku wooteri ya serena , nga agulawo tabamiruka w’ebitongole ebiwooza wans World Customs Organization nga ono yetabidwamu abakungu abasoba mu 1000 abavudde mu mawanga…
Bya Samuel Ssebuliba.
Omumyuka wa sipiika wa palamenti ye gwannga Hon Jacob Oulanyah alagidde minister akola ku by'obulamu okujja leero mu palament anyonyole egwangga ku bikwatagana n'ekirwade kya kinyenya mutwe mu butingole.
Kinajukirwa nti gyebuvudeko minister akola ku by'obulamu Jane Ruth Achenge yayita banamawulire nabategeeza nga ekirwadde kino bwekiwedeyo mu mamabuka g'egwanga , era nga enaku zino…
Bya Kyeyune moses .
Police e Jinja ekakasiza nga bweyakutte abawagizi b’omu kubesimbyeewo mu lw’okaano lwa Jinja East Paul mwiru abawerere dala 48, nga bano yabalanze kwetaba mu kwonoona ebintu, ko n’okukola efujjo.
Bino byabadewo kawungezi kayise , amangu dala nga bano bakakomekereza olukungana olw’akomekereza kakuyege.
Twoyogedeko n’omukwanaganya wa kakuyege wa mwiru nga ono ye Chula Philemon n’agamba…
Bya Shamim Natebwa
File Photo: Magogo owa Fufa
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akalatidde abadukanya omuzanyo gwomupiira mu gwanga okussa esiira mu kuwangaana amagezi.
Owembuga okwogera bino abadde asisinkanye akuliira omuzannyo gwomupiira mu gwanga Eng. Moses Magogo okukubaganya ebirowoozo ku nkulakulanya yomupiira wakati wobwakabaka bwa Buganda ne FUFA.
Eno Presidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo anyonyodde Katikkiro ku…
Bya Ivan Ssenabulya
Okunoonya akalulu, ka Jinja East akokuddibwamu kugaddwawo akakwungeezi kano.
Bano kati betegekera kulonda okubindabinda .
Ebimu ku bibaddewo, omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye okulonda abakulembeze, abanawagira enkulakulana ye gwanga.
Presidenti Museveni abadde ayogerera mu lukungaana, okunoonaya akulu ka Nathan Igem Nabeta agambye nti yetaaga ababaka abanalonda okuyisaawo entakteeka za gavumenti, newabkubadde bayinza obutaba balungi…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekibiina kya DP kitegeezezza ngo'mukulembeze we gwanga bwagwana okwanguwa okukangavula omubaka we Bukono County MP Persis Namuganza, ngamulanga kuvvoola bwa-Kyabazinga.
Kinajukirwa nti Namuganza ono yazze ku kyabazinga nalagira abantu beeno okumukuba amayinja buli bwebamulabye, okwabadde n’okuvvoola speaker Rebecca Kadaga.
Kati bwabadde ayogerako ne banamwulire, amyuka omwogezi wa DP Fred Mwesigwa agambye nti akageri kekiri nti president…
