Bya Ivan Ssenabulya
Abakulu okuva mu kibiina kya NRM abawanguddwa mu kulonda okwabadde okwokuddibwamu, okwa Jinja East bagamba nti tebamatidde nebyavudde mu kulonda kuno, nga bagamba bakyetegereza oba banagenda mu kooti.
Kino kidiridde akawungezi akayise akakiiko kebyokulonda okulangirira Paul Mwiru ngomubaka eyalondeddwa bweyawabgudde owa NRM Igeme Nabetan nabalala 6 bwebavuganyizza.
Kati bwabade ayogerako ne banamawulire, ssabawandisi wa NRM…
Bya Ruth Anderah.
Waliwo Omwana ow'emyaka 15 avunaniddwa n'asindikibwa mu komera ly'abaana e Naguru ku bigambibwa nti yabbye computer.
Kigambibwa akalenzi kano computer kagibba nga March 10th-2018 wabula bwekasomeddwa omusango gw'obubbi mu maaso g'omulamuzi we daala erisosoka ku city hall Beartrice Kainza abyeganyi.
Wano omulamuzi wamusindikidde ku alimanda e Naguru okutuusa okutuusa March 26th omusango gutandike okuwulirwa.
Ate era…
Bya Ssebuliba Samuel.
Banayuganda balabuddwa okwerinda amataba, ko n’okubumbuluka kw’etaka okuyinza okubalukawo naddala mu buvanjuba bwe gwanga, ebugwanjuba,ko nenjegoyego zolusozi Elgon nga kino kiva kunkuba ey’amaanyi etonya.
Kuno okulabula kukoleddwa office ya saabaminister , nga eyita mu kitongole ekyatekebwawo okwetegereza ebigwa tebiraze nga tebinatuuka.
Kati bano balabudde abakulu ba government bonna abali mubifo bino okwanguwa okulabula abantu okweseega…
Bya Ritah Kemigisa.
E Makerere abaana abasoma eby'okubala balumbye office z'abakulu , nga bano babalanze kulemwa kubawa byava mubibuuzo byabwe mubudde.
Bano bagamba nti kati semesters 2 ezakayitawo nga tebalaba ku byaba mu bibuuzo byabwe, kyebagamba nti tebayinza kukigumukiriza
Bano abaso a mu 1000 mukujja babade bakulemebedwamu abakulira Charles Katuramu.
Wabula ye akulira esomero elyebyobusbuzi bano mwebagwa Prof.…
Bya Ben Jumbe .
Nakakano abatuuze be Jinja East nakakano bakyali mu kujaganya, nga kino kyadiridde akakiiko k’ebyokulonda okulangirira munna- FDC Paul Mwiru, nga eyawangudde akalulu akaakubiddwa olunaku olwajjo.
Mukulonda kuno Mwiru yafunye obululu 6,654 , munne Igeme Nabeeta owa NRM naafuna 5043 , olwo Faizal Mayemba nadako n'obululu 117 .
Bweyabadde ayogerako eri banamawulire amangu dala nga…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi w'eddala erisooka mu kkooti e Mukono Mariam Nalugya asindise abasajja 4 mu kooti enkulu bawozesebwe emisango gyobutemu nga kigambibwa nti bebakuba musiga nsimbi amasasi, eyali akulira kampuni ya Nile Steel and Plastics e Nangwa.
Abavunanwa kuliko Francis Ogwal owemyaka 30 ng'amukuumi mu kampuni y'obwanayini, Joseph Nalondah owa 32 nga muzimbi era omutuuze we…
Bya Ivan Ssenabulya
E Jinja abawagizi ba munna FDC Paul Mwiru bajaganya, oluvanyuma lwebifulumye ebyekiseera ebiraga nti bali waggulu.
Eno abantu bakedde wakati mu nkuba okulonda , okubadde okwokuddibwamu, oluvanyuma lwa kooti okusazaamu okulondebwa kwabadde omubaka Nathan Igeme Nabeeta.
Okulonda kutambudde bulungi wakati mu nkuba etonyye, nebirumira ebitontono okusinziira ku ssentebbe wakakiiko kebykulonda omulamuzi Simon Byabakama.
Okulonda kugaddwawo ku…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ya CPS wano mu Kampala, ekutte omuwala agambibwa okubeera mu kibinja ky’ababba mu maduuka g’omu Kampala nga beefudde abaagala okugula ebintu.
Sharifa Nalubowa akwatiddwa ekitongole kya Flying Squad oluvannyuma lw’abamu ku babbibwako ebintu okumulumiriza.
Abasubuuzi bagamba emirundi mingi ono azze akwatibwa ku Camera ezasibwa mu maduuka, nga mu kizimbe kya KK Trust ku Namirembe…
Bya Moses Kyeyune
Omubaka we ssaza lye Ngora mu palamenti David Abala asabye palamenti, enonyereze ku butakanya obuli wakati womukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga nomubaka we Bukono era minister webye ttaka Persis Namuganza, abesojja obutamala.
Bino webijidde nga Namuganza alabiddwako ngalumba Kadaga mu lujidde.
Kati omubaka Abala asabye omumyuka sa spiikaJacobb Oulanyah nti palamenti egwana eyingire mu nsonga…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Jinja ekakasizza okukwatibwa kwabantu 11, ababade bagezaako okugotaanya okulonda kwa Jinja East.
Omwogezi wa poliisi mu Kiira Dianah Nandaula, ategezeza nti bano babade bagezaako okutataganya okulonda.
Bano bakwatiddwa okuva ku byalo ebyenjawulo, nga katiJ bakumibwa ku CPS e Jinja.
Poliisi eamba nti bagenda kuggulwako gwa kugotaanya kulonda, okubba akalulu nokwonoona ebintu mu bigenderevu.
Abantu 8…
