Bya Samuel Ssebuliba.
Speaker wa parliament ye gwanga Rebecca Kadaga asabye asabye abagirizi b’obuyambi okutandika okuteeka ensimbi mu project ezigenda okugasa abakyala, kibayambe okwejja mu bwavu.
Kadaga bino abyogeredde mu kibuga Newyork ekya America gyali mu kaseera kano okweta mu lutuula lw’akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte olwogera ku nsonga zabakyala.
Kadaga agamba nti ebibiina okuli ne banka yensi yonna…
By Abubaker Kirunda.
E Iganga Police eriko omulambo gw’enyuludde okuva mu kitoogo,kye Nabidongh mu Iganga Munisipali nga guno gw'amusajja ateberezebwa okubeera n'emyaka nga 22.
Ayogerera police eya Busoga East police James Mubi agambye nti omugenzi ayinza okubanga yattidwa okuva mu kitundu ekirara , kyoka omulambo negusulibwa e Iganga
Mukaseera kano omulambo gutwalidwa mu gwanika nga okunonyereza kwa police…
Bya Ben Jumbe.
Kikasiddwa nga ababundabunda abayingira mu uganda okuva mu gwanga lya lya South Sudan bwebaatandise okujja n’emundu , ekigenda okuteeka eby’okwerinda mu katyabaga
Bino bizuuliddwa omukugu mu kunonyereza Dr. Ronald Kalyango, bwabadde eyogerako eri abakulembeze mu district ezibudambye ababundabunda bano.
Kati bwabadde afulumya alipoota ku bizibu abakulembeze by'ebasnga nga bakolagana n'ababundabunda bano, Dr Kalyango agambye nti…
Bya Ben Jumbe.
Abasubuzi bawano mu kampala bawadde government obutasukka nga April 10th nga bakoze ku nsonga zaabwe oba sikyo bakwekalamula.
Bano abeegatira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bagamba nti bagenda kuggala amaduuka gaabwe mu bwangu dala ate batambule nga boolekera offize zebagamba okubalemesa ekibuga
Twogedeko n'ayogerera KACITA Isa Ssekitto, nagamba nti emisolo gifuuse emisolo, ensimbi z'obupangisa zisusse,…
Bya Shabibah Nakirigya.
Company enkozi y’enguudo eya China Communications Construction Company etegeezeza nga bwegenda okuwaayo ekiwayi ekisooka eky’oluguudo olwa Entebe express highway eri ekitongole ky’ebyenguudo omwezi ogujja nga kino kiriko obuwanvu bwa 51.4km.
Bweyabadde alambula oluguudo luno, ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ekya UNRA Fred Omach agambye nti company eno eya CCC egenda kusooka kubakwasa ekitundu…
Bya Ssamuel Ssebuliba.
Police ekola ku biduka wano mu kampala ekakasizza nga omugoba wa bus eya companye eya Divine Coaches bwakwatiddwa, nga ono yaagambibwa okukoona omuserikale wa traffic wano ku Lubaga Road n'amutta.
Omukwatte ategerekese nga Godfrey Kakonge , nga ono akukunuddwa Kyetume mu Kyazanga, gy'abadde yekwese
Ono yagambibwa okuvuga bus eno mungeri ey'ekimama okukakana nga akoonye Corporal…
Bya samuel Ssebuliba.
Agenaku agava e Katakwi galaga nga bwewaliwo omuserikale avudde mu mbeera okukakana nga akubye banne babiri amasasi agasse, nga kwogase ne muganzi , naye bwamaze neyetta
Omuserikale ekoze kino ye omara Alfred Otto akolera ku police ye Kapujana mu gombolola ye Kapujana , nga ono yazze kubanne okuli Corporal Nandutu Lilian ne police constable…
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abayizi ba Muteesa I Royal University ku bikolwa byokwekalakasa nategeeza nti omuzze muzze guno gutatanira ddala ekifaananyi ky’ettendekero era n'abasaba okuwagira abakulira ettendekero okulaba nga batereeza okusoomoozebwa okutera okubaawo.
Emyaka ebbiri egiyise abayizi ba Yunivasite eno bazze bekalakasa nga yagalwako mu October 2017 kyokka negulwawo mu December…
Bya Ruth Anderah
Omumyuka wa Ssabalamuzi, Alfonse Owiny-Dollo alagidde nti omusango ogwabawakanya okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga guwulirwe e Mbale nga April 4th 2018.
Olwaleero omulamuzi Dollo asisinkanye abantu bonna 7 ne banamateeka baabwe abawaaaba era nebakanya nti bonna 7 emisango gyabwe gigattibwe mu ggumu era gwulirwe mu district ye Mbale.
Wabula abamu ku banamateeka nga…
Bya Sadat Mbogo.
Eggombolola y'e Buwama ategeezeza nga byetegese okuddiza gavumenti ya ssaabasajja Kabaka ettaka lyayo lyonna mu kitundu kino nga omwaka guno tegunnagwako.
Ekyama kino kibikkuddwa ssentebe w'eggombolola y'e Buwama Muwanga Girigooli bw'abadde ayogerako n'abakungu ba ssabasajja mu ggombolola eno.
Ono ategeezezza nti alinda lukiiko lw’abakiise okukakasa ensonga eno n'oluvannyuma ettaka aliweeyo.
Etaka eryogerwako liweza yiika 45 era…
