Bya Alex Tumuhimbise
Waliwo alipoota empya efulumizddwa aba Civil Society Budget Advocacy Group eraze nti mu mwaka gwebyensimbi 2016/17 abawala bangi abasoma, ku mutendera gwa primary bwogerageranya ne banaabwe abalenzi.
Ebibalo biraga nti ku masomero ga primary 570 gebakolako okunonyereza, abaana omugatte emitwalo 41 bebayita mu masomero.
Ku bano emitwalo 20 mu 9,000 nga gakola 50% baali bawala…
Bya Ben Jumbe
Akalulu akekikungo ssi Uganda kyeyetaaga wabula aokuzimba empagi za democrasiya, okusinziira ku mukubiriza wa palamenti ye gwanga lya Estonia.
Abekibiina kya NRM ekiri mu buyinza bali mu ntekateeka okuleeta ekiteeso wabeewo akalulu kekikungo ku kyokwongeza ebisanja byomukulebeze we gwanga okuva ku myaka 5 okudda ku myaka 7.
Wabula wabadde ayogerako naffe ngasinziira mu wofiis ye…
Bya Benjamin Jumbe
Abakulu mu kakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission bagamba bagenda kwongera amanyi mu kujjako amasimu agebikwangala.
Akakiiko kalagidde amakampuni gamasimu okujjako essimu zonna enfu.
Fred Ottunu omukwanaganya wemirimu gyekitongole nabe bweru mu UCC agamba nti kino tekirubiridde nsonga za byakwerinda wabula kutaasa ku bantu, okubaguzanga ebintu ebijirire, wabulanga kigenda kukolebwanga mpolampola.
Kati abantu babulijjo…
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi 14 abakalondebwa okutuula mu kooti enkulu nemu kooti ejjulirwamu olwaleero abegnada kulayizibwa mu maka gobwa presidenti Entebbe.
Bano kuliko Christopher Madrama, omulamuzi Stephen Musota, Percy Tuhaise ne Ezekiel Muhanguzi nga bakutuula mu kooti ejjulirwamu.
Abalala kuliko omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa, Joyce Kavuma, Olive Kazaarwe Mukwaya, Alex Ajiji, Tadeo Asiimwe ne Emmanuel Baguma.
Musa Sekaana ne…
Bya Samuel Ssebuliba
Abakiise mu lukiiko lwekibuga olwa KCCA batanudde okubanja nate nti etteeka lyekibuga likolebwemu ennongosereza, okulinyisa obuyigirize obwetagisa omuntu okufuuka kansala okutuuka ku A-level oba S 6.
Bano nga bakulembeddwamu kansala we Kyambogo Bruhan Byaruhanga, babadde balabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akenonga zobwa presidenti nebategeeza nti kikulu kansala wa KCCA nowa division okubeer abayigirizeeko wakiri…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi we ddala erisooka e Mukono Pamela Bomukama ariko abasajja 10 n’omukazi omu basindise mu kooti enkulu nga bateberezebwa okwenyigira mu misango gy’obutujju, okuwandiika n’okutendeka abayekera okwegatta ku ADF.
Bano kuliko Lukia Namulondo, Abdullatif Azizi, Shakul Musoke, Muhammed Senabulya, Abubaker Katende, Asuman Musigo, Sulaiman Wayabi, Bashiralial Nyangisho, Yusufu Abasi, Fikili Aldada ne Sula Usama…
Bya Benjamin Jumbe
Omuwendo gwababundabunda abava mu gwanga lya Democratic Republica ya Congo abayingira Uganda gususse mwabo emitwalo 6 bebategekera.
Okusinziira ku kitongole kya Uganda Redcross Society, abappya abaayingira okuva nga 1 January wa 2018 baweze emitwalo 6 mu 1,537 ngabasinga abawera emitwalo 4 mu 1,736 bava Ituri ate omulwalo 1 mu 9,801 ava mu ssaza lya…
Bya Sam Ssebuliba
File photo : taapu y'amazzi
Okunonyereza okugya kulaze nti omwaka 2030 wegunatukira, ensi ejja kuba yetaaga amazzi 40% nga kino kyakuva ku misinde ensi kwekulira.
Abekibiina kyamawanga amagatte UN Water aid, alipoota gyebafulumizza mu gwanga lya South Africa ekwata ku mazzi eraze nti abantu obukadde 300 ku bantu obukadde 800 mu wansi we ddungu Sahara…
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi 2 ku balamuzi 3 aba kooti ejjulirwamu, okuli omumyuka wa ssbalamuzi Alfonse Owinyi Ddolo ne Paul Mugamba basazizaamu okulondebwa kwa munna NRM Winfred Matsiko Komuhangi abadde omubaka omukyala owa district ye Rukungiri ngera ekiffo kino kirangiriddwa nti kikalu.
Bano balagidde akakiiko kebyokulonda okutegeka okulonda okugya nga ne Matsiko alagiddwa okusasula Betty Muzanira Bamukwatsa…
Bya Nelson Wesonga
Palamenti eyimirizza banamwulire abasakirayo obutaddamu kutuuza nkungaana zaabwe nababaka munsda mu kizimbe.
Kitegezeddwa nti buvunanyizibwa bwekitongole kyebyamawulire ekya palamenti okutuuza banamwulire, okwogera ku nsonga ezenjawulo.
Moses Bwalatum omwogezi wa palamenti ategezeza nti bakimanyi bulungi nti waliwo ababaka abatukirira banamawulire “nga basaba press conference naye, bakubirizibwa okukwatagana nekitongole kya palamenti ekyamawulire.
Ono alabudde nti kino…
