Bya Ivan Ssenabulya
Abayizi b’ettendekero lya YMCA e Mukono olwaleero balumbye omubaka Betty Nambooze mu maka ge nga bagala ayingire mu nsonga zaabwe.
Abayizi bagamba nti basula bubi, balya bubi ebraoala abatwala ettendekero byebatafuddeeko, ngolunnaku olwe ggulo poliisi yabakubyemu nomukka ogubalagala.
Wano omubaka Nambooze agumizza abayizi nti agenda kutuula n’abakulira ettendekero lino bagonjoole ensonga zabwe.
File Photo: Museveni nga ayogera
Mungeri yokugonjoola obutakanya wakati wa Governor wa banka enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ne kalisoliiso wa gavumenti, omulamuzi Irene Mulyagonja, President Museveni asisinkanye abantu bano bombi, era nabalagira okwetereeza.
Bano baliko akafubo kebabaddemu okumala ebbanga nebabaako byebamulungula.
Kalisoliiso yawandikira gavana ebbaluwa ngamulaga nga bwagenda okunonyererza ku nkyukakyuka ku bakozi, wabula Mutebile kyeyawakanya.
Abamu ku balina…
Bya Shamim Nateebwa
Amagombolola okuva mu Masaza okuli, Gomba, Ssese ne Ssingo, gakiise embuga mu nkola ya Luwalo-Lwaffe era galeese oluwalo lwa bukadde 30 nomusobyo.
Ku mukolo gwegumu ekibiina kya UHMG kiwagidde emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka age 63 bwekiguze obujoozi bwa bukadde busatu 3.
Ate Equity bank ewagidde enteekateeka z'amazaalibwa ga n'obukadde 10.
Katikkiro asinzidde wano naddamu nannyikiza ebikulu…
Bya Ivan Ssenabulya
Abekibiina kya Democratic Party bagamba nti abantu babulijjo batekeddwa okutekebwa butereevu mu ntekateeka yokugaziya ekibuga Kampala.
Bwabadde ayogera ne banamawulire ssabawandiisi wekibiina Gerald Siranda agambye nti mu ntekateeka egenda mu maaso, abantu babulijjo balekeddwa bbali.
Anokoddeyo obwagagavu bwebibuga mu Africa nga Lagos mu gwanga lya Nigeria ne Cairo ekya Misiri, kalenga byabadde bigwana kutwalibwa ngekyokuyigirako.
Bino…
Bya Ruth Anderah
Kooti etaputa ssemateeke eronze ekibinja kyabalamuzi 5 abagenda okuwulira omusango gwabantu abawakanya ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.
Abalamuzi abalondeddwa kuliko amyuka ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Kenneth Kakuru ne Cheborion Barishaki.
Wabula era basazeewo okukyusa olunaku oluibadde lugenda okutandika okuwulirirako omusango guno, okuva nga 4th April okudda ku lunnaku lwa…
Bya Kyeyune Moses
Omubaka wa Jinja East omugya, mu palamenti Paul Mwiru has akubye ebirayiro olwaleero luno.
Mwiru okuva mu kibiina kya Forum for Democratic Change yawangula owa NRM Nathan Igeme Nabeeta mu kulonda okwali okwokuddibwamu.
Mwiru ebbanga lyonna abaddenga ayita mu kalulu ka nvunula-bibya okugenda mu palamenti.
Omumyuka womukubiriza wa palamenti, Jacob Oulanyah yalayizza Mwiru.
Kyo ekibiina kya NRM…
Bya Magembe Ssabiiti.
Kansala akikirira egombolola ye Kigando ku lukiiko lwa district ye Mubende Muhwezi Patrick alaze okutya olw'ebikolwa eby'okusobya ku baaba ebyeyongedde mu kitundu kino.
Ono ategezezza nga bwebaze bekubira enduulu eri police ku basajja abasobya ku baana abato wabula nga police ebata awatali kuvunanibwa.
Kati ono ategezezza nga bwebakatwala emisango 5 ku police mubanga etono dala…
Bya Sadat Mbogo.
Wano e Mpigi Police ekutte omusomesa wa myaka 32 nga ono emulanga gwakudda ku kaana ka myaka – 14 n’akasobyako.
Joseph Kamukama nga ono yatwala police ye Buwama agambye nti omusomesa ono owa God’s Mercy Junior School ku kyalo Ssenyondo yaakwatiddwa oluvanyuma lwa maama w’omwana okutegeeza ku police.
Kamukama agamba nti mungeri yeemu bakutte n'akulira…
Mu kooti: Abasajja babbiri gabamyuse nga batwalibwa mu komera e Luzira kubigambibwa nti babye crate za biya enkalu 14.
Nkurunziza Erick ow'emyaka 19 ne mune Museveni Moses myaka 35 bebasomeddwa omusango gw'obubbi mu kooti ya city hall mu maaso g'omulamuzi we daala erisosoka Patrick Talisuna nebagwegaana.
Wabula oluvanyuma omulamuzi alagidde batwalibwe ku alimanda e Luzira okutuusa April…
Bya Ndaye moses.
Waliwo ekirwadde kya muwogo ekirumbye abantu be Kiryadongo, kyabagamba nti kisemberedda okubassa enjala nobwavu.
Twogedeko ne Sarah Kirya nga ono yomu kubatuuze , nagamba nti yalima yiika 7 , nga asuubira okujjamu obukadde butaano, kyoka kyamulumye okulaba nga yajjemu emitwalo 300,000 gyokka
Ono aggamba nti muwogo ono avunda okuva mutaka, okukakana nga akaze nagwawo, wabula…
