Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Leero lwerwokuna olutukuvu

Bya Ivan Ssenabulya Buli Muntu eyesamba omusalaba, yewala kuzukira. Buno bwebubaka bwomulangira wa Kkerezia, omutukirivu Paapa Francis eri obukadde bwabantu mu nsi yonna, ku lunnaku luno Olwokuna mu wiiki entukuvu. Paapa agamba ntu Yesu yakyusa ebibi byaffe, natusonyiwa era nakyusa okutya kwaffe nebufuuka obwesige gyali, nga bwebulokozi. Vatican ekibuga ekitukuvu, bategezeza nti ebimu ku bigenda okukolebwa ,Paapa agenda kunaaza…

Read More

Abakulu mu Buganda balemereddwa okusisinkana akakiiko

Bya Shamim Nateebwa File Photo:M7 nga akwasa mayiga ebyapa Obwakabaka bwa Buganda butaddewo olwanga 5th April, nga gwe mwezi ogujja okusisinkana akakiiko kaba minister akatekebwawo omukulembeze we gwanga, akatunula mu ndagaano ya 2013 eyakolebwa wakati wa gavumenti nobwakabaka. Okusinziira ku mwogezi wobwakabaka bwa Buganda, Owek. n Noah Kiyimba, babadde batekeddwa okusisinkana akakiiko kano olunnaku olwe ggulo wabula nebalemererwa. Ennaku…

Read More

District yegaanye okutunda etterekero lye ddagala

Bya Ivan Ssenabulya Aba district ye Mukono basambazze ebigambibwa nti batunda store ye ddagala. Mukono erina etterekero lye ddagala mu masekati gekibuga Mukono, abamu kyebabadde balumiriza nti waliwo ekkobaana eryakolebwa okulitunda. Spiika wa district ye Mukono Emmanuel Mbonye wabula agambye nti council yatuula omwaka oguwedde nesalawo nti basengule etterekero lino, ssi kulitunda. Ategezeza nti store eno weyali waali wafunze,…

Read More

Obutakanya bwa Mutebile ne Mulyagonja bwakukosa ebyenfuna

Bya Tajuba Paul File Photo: Kasaija nga yogeera Minister webyensimbi Matia Kasaija alabudde nti obutakkanya bwa gavana wa Bank enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ne kalisoliiso wa gavumenti, omulamuzi Irene Mulyagonja, bwandikosa ebyenfuna bye gwanga. Kasaija bwabadde ayogerako ne Daily Monitor oluvanyuma lwensisinkano nabekitongole kya Forum for Women in Democracy mu Kampala, bwebabadde bawa nedowooza zaabwe ku mbalirira ye…

Read More

President asiimye emirimo gya Gen Kale Kayihura.

Bya Samuel Ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni  atenderezza nyo eyali ssabapolice we gwanga Gen kale kayihura gwagambye nti yateeka munkola ekirowoozo eky'okutondawo ekibinja kyabavubuka abayambako police  mukulwanyisa obuzzi bw'emisango bayite ba Crime Preventors. Bwabadde awayaamu n’abavubuka bano wali e Lugogo, president agambye nti project yaba- crime preventer teyali ya Kayihura nga omuntu, wabula kino kyali ekyakanyizibwako…

Read More

Male Mabiriizi atabukidde omulamuzi Elizabeth Musoke.

Bya Ruth Anderah. Nga kooti ya ssemateeka etegeka okuwulira  omusango gw'abemulugunya ku ky'okujja ekomo ku myaka gy'omukulemebeze we gwanga , nate waliwo  omu kubemulugunya awandiise abaluwa nga asaba nti omulamuzi Elizabeth Musoke agibwe ku lukalala lw'abalamuzi 5 abagenda okutuuka ku koot eno.  Ebaluwa eno eyawandiikidwa  Male mabiriizi, egamba nti omukyala ono justice Musoke  agenda kubaamu kyekubiira, kubanga…

Read More

Abavubuka abasobya ku bamalaaya bakwatiddwa.

Bya Sadat Mbogo. E Buwama  wano mu Mpigi police eyodde abavubuka 15 , nga bano batebereza okusobya kubakyala abalenga akaboozi. Bano basangiddwa mu bbaala eyitibwa One Ten Club mu kabuga kano wabula nga abamu basobodde okwemulula nebadduka. Atwala police mu kitundu kino Joseph Kamukama agambye nti  abakwatiddwa basibiddwa mu kaduukulu ka police e Buwama. Bano okukwatibwa, kiddiridde abakyala abatunda…

Read More

Eyasudde kasasiro mu paaka akwatiddwa.

Bya Ruth Anderah. Waliwo omutuuze eyavudde e Jinja n’asuula kasasiro mu paaka enkadde wano mu Kampala okukakana  nga atwaliddwa mu  komera e Luzira. Laroo Peter ow’emyaka 28 nga yavudde  Jinja  kigambibwa nti nga March 26th 2018 ku paaka enkadde yakwatibwa aba KCCA abakwaasi b’amateeka ng’alya asuula mu paaka. Wabula Laroo yeeganyi omusango mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka…

Read More

Abakulira UMEME basisinkanye omukulembeze we gwanga.

Bya Ben Jumbe. Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni kyadaaki asisinkanye  abakulu okuva mu kitongole kya UMEME , nga bano bamusanze mumakaage wano e Entebbe, nga ensonga ezibaluma zakugaana kuzza bujja ndagaano yaabwe kwebagabira amasanyalaze. Bano mumaka ga president baagenzeeyo,kawungezi kayise nga  bakulembedemu sentebe w’olukiiko lwa UMEME Patrick Bitature. Kinajukirwa nti contract ya Umeme egwako mu mwaka gwa…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play