Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

E gomba omusamizze attidwa mu bukambwe.

Bya Mbogo Sadat. Abatuuze ku kyalo Nsambwe mu ggombolola y'e Kyegonza mu district ey'e Gomba baguddemu entiisa bwebasanze omulambo gw'omusawo w'ekinnansi nga yattiddwa mu ntiisa. Ssessaazi John, 43, yattiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero era omulambo negusuulibwa ku duuka ly'omusuubuzi e Nsambwe ategeerekese nga ye Kirumira James.  Omugenzi abadde abeera ku kyalo kirala ekiyitibwa Kizigo kyokka ate baamutidde Nsambwe…

Read More

E Mubende akebenje kasse omu.

Bya Magembe Sabiiti. E mubende Omuntu omu afiridde mu kabenje n'abalala basatu  nebafuna ebisago mu kibuga Mubende,  Motoka ekika kya Primio namba UAT 720b bwetomedde abantu babiri ababadde batambulira ku bodabooda ey’ekika kya bajaj boxer . Afudde tategerekese manya songa abantu ababiri ababadde mu motoka nabadde atudde ku pikipiki badusiddwa mu dwaliro eMubende nga bali mu…

Read More

Abasubuzi ba KACITA tebanasazaamu kwekalakaasa kwabwe.

Bya Samuel Ssebuliba. Abasuubuzi b'omu Kampala abegattira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bakyakalambidde nga bagamba nti bakwekalakaasa  nga April 10th , singa government teveeyi kukola ku nsona zaabwe ezibasiiwa. Kinajukirwa nti sabiiti ewedde ssabaminister we gwanga Dr Ruhakana Rugunda yakaanya okukola ku nsonga z’abano, okuli ebeeyi y’amasanyalaze, eb’ekitongole ekiwooza ababakwata nga ab’atujju, nga kwogasse n’eteeke erigenda okulambika…

Read More

Akakiiko kasalawo leero ku by’okusisinkana Kadaaga.

Bya Samuel Ssebuliba. Akakiiko ka Parliament akakwasisa empisa olwaleero kagenda kutuula kategeke kyekazaako wakati mu kunonyereza ku nkayana eziri wakati wa sipiika Rebecca Kadaga ne minister  omubeezi ow’ebyetaka Persis Namuganza. Sabiiti ewedde minister Namuganza y’alabikako mu kakiiko kano n’alumiriza speaker okweyingiza mu nsonga z’ekitundu ky’atwala ekya Bukono , nga kwogasse n’okumulimiriira okumulemesa obukulembeze bw’ekitundukye. Akakiiko kano kaasalawo  okusisinkana…

Read More

Omukulembeze we gwanga wakusisinkana ssabasumba wa kampala.

Bya ben jumbe. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ne ssabasumba we saza lya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga  bakaanyiza okubaako akafunda webatuula bakaanye ku nsonga ezibaawula. Bino webigidde nga ssabasumba y’akategeeza egwanga nga bwewaliwo abakessi government beyamuteekako, nga balowooza nti alina olukwe olw’okuvunika obukulembeze obuliko. E kiwandiiko ky’etufunye okuva mu maka g'obwa president kiraga nga  bano bwebaayogeraganyiza ku …

Read More

Abaana 21 Bebazaliddwa mu malwaliro

Bya Ivan Ssenabulya File Photo: Abalwadde mu dwaliro Ekifananyi kijiddwa mu bikadde Abaana amakumi 21 bebazaliddwa mu malwaliro agenjawulo e Mukono ku lunnaku lwa Easter. Abasawo mu ddwaliro lya Mukono Church of Hospital bategezezza nti abakyala 2 bebasumulukuse nga bonna bazadde abaana balenzi. Ate mu ddwaliro lya Mukono Heallth Center IV, abakyala 15 bebazadde ngabakyala 7 bazadde balenzi ate abakyala…

Read More

Police mu kampala eyodde 200 ku Mazuukira.

Bya Kato Joseph. Kifananyi kikadde. Wano mu Kampala, agavaayo galaga nga police bweyakutte abantu abasukka mu 200 nga  bano balangibwa kwetaba mukuzza misango mu gandaalo lya  Easter. Twogedeko n’aduumira police mu Kampala n’emiriraano  Frank Mwesigwa,  n’agamba nti mubakwate mulimu  abagoba b’emotoka 100  nga bano baakwatiddwa nga bavuga ate nga  batamidde, songa abasigadde baakwatidwa lwakwenyigira mumisango na okunyakula obusawo,…

Read More

Ssabalabirizi yeekokkodde obwavu naddala mu byalo.

Bya Shamim Nateebwa. Ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali  alazze obw'enyamivu olw'obwavu obusukiridde mu banayuganda bwabagambye nti bulese bangi nga bajjudde emitaafu byenyi, kko n’okubeera mu bulamu  obuteyegaaza. Bweyabadde abuulira mu kanisa eya all Saints wano e Nakasero mu Kampala, ssabalabirizi yagambye nti  kiruma okulaba nga abantu nadala mu byalo tebakyalina kaakulya, school…

Read More

Abatuuze be Mbale baaniriza kooti ya Ssemateeka.

Bya Fred Wambedde & Arthur Wadero   Nga ebula enaku mukaaga  zokka kooti ya ssemateeka okutandika okuwulira omusango ogw’okujja ekomo ku myaka gy'omukulembeze we gwanga, bo abatuuze be Mbale ewagenda okukutuula kooti ya ssemateeka bawadde endoowoza zaabwe ku kusalawo kuno. Abamu kubatuuze bwetwogedeko  nabo bagamba nti kino kigenda kutunda nyo erinya lya district yaabwe, songa abalala bagamba…

Read More

Laddu esse abantu 3 e Iganga.

Bya Abubaker Kirunda. Mu  district ye Iganga  abantu  basatu  bafudde nga kino kidiridde ladu okubakuba nga beggamye enkuba. Abafudde kuliko Muniru Dembere  owemyaka  40   Rashid Mutebe  owemyaka b27 nga kwogase ne   Ronal Okware  nga bonna batuuze be Bukasero  mu  gombolola ye Bukaatube . Moses Kato  nga ono ye ssentebe w'ekitundu kino akasizza bino bwebyabadewo, n'agamba nti walowiwo …

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play