Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Bannayuganda basabiddwa okusiiba nga bakuuma obutinde bwensi.

Bya samuel ssebuliba.     Banna- uganda basabidwa okuyingira  ekisiibo n'obumalirivu obw'okukuma obutonde bwensi. Bwabadde ayogerera mukusaba okw'okusiiga vvu wali ku parliament amakya ga leero ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitafe mu katonda Stanley Ntagali  agambye nti singa ekyamangu tekikolebwe, uganda eyolekedde okufuuka edungu lyenyini. Ono nga tanayogera eyaliko minister w’ebyempisa James Nsaba Buturo yeyasoose okusaba banna- uganda ku mitendera gyonna…

Read More

Aduumira Police mu kampala eyamaserengeta anonyerezebwako.

Bya Damalie Mukhaye.   Ekitongole kya police ekikwasisa empisa kitegeezeza nga bwekikute abaserikale baakyo bana   okuva mu  maserengeta ga kampala ,  nga bano balangibwa kwetaba kukunyaga banansi ba  South Korea  babiri. Twogedeko ne Vincent Ssekate nga ono yayogerera ekitongole ekya Professional Standards Unit n'agamba nti bano omugatte bali bataano ko n'aduumira ekitundu kino  Siraj Bakaleke. Ono ategeezeza nti…

Read More

Nekolera gyange bamukutte n’akalenzi ak’emyaka 14

Bya Shamim Nateebwa: Poliisi ekutte nekola gyange mu loogi nakalenzi akatanetuuka. Aruch Tendo owemyaka 35 nnekolera gyange ku mwalo gw'e Kasenyi akwatidwa poliisi lwakusangibwa mu loogi n'akalenzi akemyaka 14. Omulenzi kwewozaako agambye nti yabadde ayitaayita ku mwalo n'asanga omukazi ono n'amusaba amuwe 2,000/- era Tendo n'akkiriza n'amuyingiza mu loogi n'amweyambulira okumulagako. Omulenzi agambye nti yabade atandika okumukwatako awo poliisi…

Read More

Uganda egenda kukyaza olukungaana ku mutendera gwensi yonna

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kiri mu ketalo okutuuza olukungaana lwamawanga olwamakampuni ageyita agagoberera okuwa omusolo olwomulundi ogwokuna olwa  World Customs Organization Authorized Economic Operator Conference. Bwabadde atongoza olukungaana luno ku wofiisi zaabwe e Nakawa Commissioner wa URA avunayizibwa ku byamaguzi ebiyingira mu gwanga nokufuluma Dixon Kateshumbwa agambye nti basubira abantu 1000 okuva…

Read More

Ssedduvutto yasobezza kuwemyaka ebiri

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu district ye Buikwe ebakanye nomuyiggo ku Kaggwa ensonyi eyakidde ebbujje reymyaka 2 nalisobyako. Omwana ono kigambibwa nti bino okubaawo maama we ategerekese nga Rose Nakisekka omutuuze ku kyalo Lweru-Kiyindi, mu ggombolola ye Najja yabadde taliiwo ngali ku mulirwano. Kati Dr. Joseph Lwasa owa St. Charles Lwanga Hospital, agamba nti bekebejezza omwana ono nekizuuka…

Read More

Teri bibuuzo birala eri abakoppa!

Bya Damalie Mukhaye Ministry eyebyenjigiriza nemizannyo erabudde amasomero agalina ebibuuzo ebyakwatibwa, nti tebeyibaala teri bibuuzo biralala bigenda kubweebwa bayizi. Bwabadde ayogerera mu kusunsulamu abagenda okutandika okusoma ssiniya eyokutaano, mu kibangirizi kyabanamakolero e Lugogo, minister omubeezi John Chrysostom Muyingo ategezeza nti abakulu bamasomero gano bazze basaba nti baddemu okuweebwa ebibuuzo kyagambye nti tekisobokera ddala. Alabudde nti kino kibeera ekyokuyiga…

Read More

Kirumira yekandazze okuva mu maaso ga kooti

Bya Sam Ssebuliba Wabaddewo akavuvungano ku kitebbe kya poliisi e Naguru, eyali omuddumizi wa poliisi mu district ye Buyende Muhammad Kirumira bwagezezaako okufuluma, okuva mu kooti ya poliisi emuwozesa ngawakanya embeera eyobukambwe nobukwakulizo obumutekeddwako ku kusaba kwe okwokweyimirirwa. Kirumira ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde yasaba okwyimirirwa mu kooti eno, wabula bamuetegezeza nti yetaaga abasirikale babiri abamuli waggulu…

Read More

Abavuganya ku kifo kya Jinja East bamaze okusunsulibwa.

Bya Abubaker Kirunda.         E Jinja  okusunsulamu abagenda okuvuganya  ku bubaka bwa parliament obwa Jinja east kugenda mu maaso era nga abantu basatu bebakasunsulibwamu. Asoose munsiike abadde  munna FDC Paul Mwiru nekuddako agidde kubwanamunigina Faiza Mayemba olwo nemunna NRM Nethan Igeme Nabeeta n’agoberera . Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa kooti okugobayo  Nethen igeme Nabeeta…

Read More

Abdul Kitatta nebanne basindikiddwa e Luzira.

Bya Ruth Anderah. Kooti ey'amajje etuula wano e Makindye esidise akulira ekiwayi ekya Bodaboda 2010 e Abdul Kitata e  Luzira wamu nebanne  12, nga  kino kidiridde bano okulabikako eri koooti eno leero. Ono akedde kugasimbagana ne banamaggye mwenda nga bakulembedwamu ssentebe wa kooti ono Lt Gen Andrew Gutti, n'abasomera emisano okuli  egy'okusangibwa n'ebyambalo by'amagye ko n'ebikozesebwa…

Read More

Olwaleero ensi yonna lwekuzizza olunaku lwa Radio

Bya Ritah Kemigisa.   Emikutu gya Radio gyogedwako nga egikoze ekinene mukukuza eby'ebyemizanyo mu gwanga. Bino bigidde mukadde nga uganda yegatta kunsi yonna okukuza olunaku lwa Radio mu gwanga. Twogedeko n’omubaka we Makindye Allan Sewanyana era nga ye minister w’ebyemizanyo mu government ey’ekisikirize n'agamba nti  mukaseera kano radio zitandiise okuteera dala ensimbi  ezimala mu byemizanyo ekiyambye okubisitulira dala.   Twogedeko…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play