Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono eriko omukazi ne mukwano gwe gwegombyemu obwala nga bateberezebwa okuba nga bekobanye n’ebatta omwami.
Abakwate ye Jackline Nakku owemyaka 25 mukyala w’omugenzi ne mukwano atanategerekeka mannya abatuuze ku kyalo Upper Nabuti masekati gekibuga Mukono.
Kigambibwa nti banno mu kiro ekikeseza olwaleero bakidde Eric Ssenyonjo owemyaka 33 omusubuzi mu kibuga Mukono nebamutta nga…
Bya Sadati Mbogo
Abatuuze ku mwalo gwe Busimuzi ku bizinga by'e Bunjakko mu district y'e Mpigi baguddemu ekyekango oluvanyuma lw'okugwa ku mulambo gw'omuvubuka ategerekeseeko erya Mpanga nga gugobgye ku lubalama.
Mu kunonyereza okukoleddwa, kizuuliddwa nti omuvubuka yabadde awuga ku mwalo e Golo mu ggombolola y'e Nkozi n'awagamira mu butimba obukwata engenge n'alemererwa okuvaamu okukkakkana ng’afudde.
Police okuva e…
Bya Sadati Mbogo
Wabaddewo katemba atali musasulire ku kyalo Buwere mu gombolola y'e Buwama mu district y'e Mpigi oluvanyuma lw'enjuki okukyankalanya amazika ga Ssalongo Mutumba Johnson eyafudde, gyebwavuddeko.
Kigambibwa nti enjuki okutandika okulumaaluma abakungubazi kivudde ku bekika okunyooma n'okuvvoola ekiraamo kyomugenzi eyali yategeeza nti bw'afanga, bamuziike wansi w'omuti ogulimu omuzinga gw'enjuki zeyayogerako nti zeezimukuumye ebbanga lyamaze nga…
Bya Ruth Anderah
Ssabawaabi wa gavumenti alagidde kooti ya Buganda Road okugoba okusaba kwomusirikale wa poliisi eyali DPC we Buyende Muhammad Kirumira ayagala ayimbulwe ngawakanya ekyokuwozesebwa mu kooti ya poliisi ekwasisa empisa.
Akiridde wofiisi ya DDP nga ye muwaabi wa gavumenti ku kooti ya Buganda road Jonathan Muwaganya ategezeza nti mukama we amulagidde oksaba kwono kugobwe kubanga…
Bya Stephen Otage
Mu Kampala abagalana bakedde mu kibuga okwegulira ku birabo ebyokuwa abagalwa baabwe.
Yyo gavumenti esazeewo okuyambako emigogo gyabagalana 8 okufumbiriganwa mu butongole.
Essaawa wezaweredde 5 ezokumkya ngekiri ku mwaliriro ogwokutaano ku George Street mu wofiisi ya Registrar General, nga Mercy Kainobwisho, yakulembeddemu okubayisa mu birayiro.
Kimanyikiddwa nti gavumenti okuyita mu wofiisi eno egatta abantu mu bufumbo,…
Bya Damali Mukhaye.
E Makerere agavaayo galaga nga abasomesa beeno abasomesa olw'egulo bwebategeeezeza nga bwebagenda okudamu okugaana okukola nga kino kidiridde university okulemwa kubawa obusiimo bwabwe nga bweyabsubiza
Kinajukirwa nti bano mu mwezi oguwedde baali baateka wansi ebikola nga bagamba nti babanja, era univesty n'esubiza okubafaako, kyoka nakakano mpaawo kyali kikoleddwa.
Kati twogedeko n'ayogerere ekibiina ekigatta abasomesa be…
Bya Damali Mukhaye.
Leero Bannakibiina kya FDC baakedde kutuula wali ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi okwetaba mu kugaba omusaayi, kyoka bakanze kulinda abakugu okuva mu kitongole ekigaba omusaayi bagukime nga mpaawo atuuka.
Amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija, agamba nti babade bakaanyiza naba Blood transfusion service nti okugaba omusaayi kutandike ku saawa satu ez'okumakya okutuusa ku saawa…
Bya Samuel Ssebuliba.
Ababaka ba Parliament okuva mu West Nile batabukidde government nga baagala eveeyo etunule mu by’enjigiriza mu district ezibudamya ababundabunda .
Mukaseera kano uganda esuza babudandabunda 1.4 okuva mu mawanga nga Sudan ne Congo era nga abasing babeera mu West Nile .
Kati omubaka wesaze lye Obongi Hassan Kaps Fungaro agambye nti amasomero geeno…
Bya Moses Kyeyune.
Olunaku olwaleero akakiiko ka parliament akakasa abalonde ba president lwekatandise okusunsulamu abalamauzi 14 omukulemebeze we gwanga beyakalonda okwegatta ku kooti ejulirirwamu ne kooti enkulu.
Abamu kubalamuzi abagenda mu kooti ejulirirwamu kuliko Justice Christopher Madrama, Justice Stephen Musota, Justice Percy Tuhaise ne Justice Ezekiel Muhanguzi.
Songa ye Paul Gadenya, Joyce Kavuma, Olive Kazaarwe Mukwaya, Alex Ajiji,…
Bya Damali Mukhaye.
SAM KULOBA. Komisona wa secondary
Ministry ekola ku by'enjigiriza etegeezeza nga bwegenda okukyusa abakulira amasomero abawerera 187 ko nababamyuka okwetoloola egwanga lyona.
Twogedeko ne commissioner akola kubya secondary nagamba nti agamu ku masomero gabade tegalina bagakulira kubanga abamu baagenda songa abalala baafa.
Ono agamba nti wabadewo emiwaatwa mingi kubanga abasinga kubano baakuzibwa nebalekawo ebifo byabwe, songa…
