Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Abagwira abafiira mu woteeri bafa butwa

Bya Ritah Kemigisa Police etegezeza nti alipoota yaabwe ku bagwira abafiridde mu zzi woteeri mu Kampala bafudde butwa. Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima wabula mpaawo bya nnyo byayogedde ku nsonga zino, kubanga okunonyereza kukyagenda mu maaso. Kayima ategezeza nti baliko abantu 5 bebagalidde bakuyambako mu kunonyereza. Kinajjukirwa nga 5th February  ku Pearl of Africa  hotel waliwo munansi wa Finland Thomas…

Read More

Kamagu mukwate

Bya Ritah Kemigisa Police ekakakasizza okukwatibwa kwomukozi woku Radio Richard Kasule amanyiddwa ngomuggaga Kamagu gwebajje ku mulimu amakya ga leero. Omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima ategezeza nti Kamagu yakwatiddwa oluvanyuma lwokwogera ebitatananatana amannya gabantu, era agaliddwa ku poliisi e Wandegeya gyagenda okukolera statementi. Ono asabye banamawulire nabakozi boku radio bonna okugobereranga amateeka. Okukwatibwa kwa Kamagu kujidde mu…

Read More

Abasiramu abalala 19 basimbibwa mu kooti- emisango gyabutujju.

Bya Ruth Anderah. Mu kooti:Nate  ekiwayi ky'abasiramu  abalala 19 leero batandise okuwerenemba n'emisango mu kooti enkulu nga bano bavunanibwa misango gy'akulya munsi lukwe. Abamu kubavunanibwa kwekuli  ne Aisha Nakasibante Nazaala wa Dr. Aggrey Kiyingi , nga bano bali ku gwakulya munsi lukwe, kko nobutatemya ku bakwasisa amateeka nga bategedde ensonga eno.. Obujulizi obuliwo bulaga nti bano baali bategese…

Read More

Kakuyege mu Jinja East atandise leero.

Bya Ben Jumbe. E Jinja abavuganya ku kifo ky’omubaka wa Jinja East olwaleero lwebatandise okunonya akalulu ,mukaweefube  wokujuza  ekifo ky’omubaka ow'ekitudu  kino. Abamu kubali mu lwokano luno kuliko munna- NRM  Nathan Igeme Nabeta, owa FDC Paul Mwiru, Faizal Mayemba ne Francis Wakabi Nga bano bagidde kubwanamunigina. Twayogedeko n’akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama , n'agaamba nti abagenda okuvuganya…

Read More

Emwanyi ya Uganda yakutwalibwa mu China ne Russia.

Bya Ritah Kemigisa. Mukaweefube ow’okwongera kubungi bw’emwanyi ezitundibwa e bunayira ekitongole ekikola ku by’emwanyi kitegeezesa nga bwekigenda okusagula obutale obulala  mu mawanga aga Maghreb , nga kuno kwekuli China, North Korea and Russia n'amalala. Twogedeko n'akulira ekitongole kino Emmanuel Lyamulemye n'agamba nti situgaanye  emwanyi ya uganda yankizo nyo mu katale k'ensi yonna, naye ate mumawanga agamu tenatuuka,…

Read More

Abavubuka bakwatidwa lwa kulya nsimbi z’akwekulakulanya.

BYA YAHUDU KITUNZI. E Butaleja  Police ekutte abavubuka mwenda  nga bano balangibwa kulemwa kuzza nsimbi zebeewola okwekulakulanya mu 2013. Ayogerere police  ye Bukedi Sowali Kamulya akasiza okukwatibwa kwabavubuka bano , n'agamba nti bano bagenda kuvuninabwa gwakufiriza government nsimbi. Akukira eby’emirimo e Butaleja district, Alex Felix Majeme  agambye nti bano bebamu kubavubuka 32 abeewola obukadde 360  mu 2013  kyoka…

Read More

Omusomesa asobezza ku mwana wa myaka 6

Bya Abubaker kirunda. E  Namwendwa mu district ye Kamuli  police ekute omusomesa owa primary nga ono emutebereza o kusobya ku mwana wa myaka mukaaga gyokka. Omusajja ono ow’e myaka 24   kigambibwa nti yayise akaana kano n'akatwaka munyumba okukakana nga akasobezaako. Joshua Mboizi nga ono yaakola ku by’abaana e Kamuli agamba nti  baafunye okukubagulizibwako okuva  mu kibiina ekya  …

Read More

Alipoota ya Bamugemereirwe esooka efulumye

Bya Sam Ssebuliba Catherine Bamugemereire nga yogeera Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni awereddwa alipoota eyekiseera, okuva eri akakiiko keyalonda okunonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga. Ssentebbe wakakiiko kano, omulamuzi Justice Catherine Bamugemereire, akwanze President Museveni alipoota yaabwe eyekiseera nebyo byebakazuula, mu nsisinkano gyebabaddemu ku Kawumu State Lodge. Omulamuzi Bamugamereire atendererza enegri abantu gyebawagiddemu akakiiko nokukettanira, okwogera ensonga zaabwe. Akakiiko…

Read More

Ekanisa ya uganda etenderezza obuwereza bwa Luwumu.

  Bya Samuel Ssebuliba. E mikolo emikulu egy’okujukira omugenzi eyali ssabalabirizi wa uganda Janan Luwumu  gikomekerezedwa  nga gino gibadde wali e Mucwini mu kitgum district. Bwabadde abuulira ,Ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitafe mu katonda Stanly Ntagali agambye nti  situgaanye  uganda esingamu abantu abakiririza mu  yesu christu, naye bangi kubanayuganda ate ku katonda omulamu  bagatako e mpeekera, ky’agamba…

Read More

Abaliko obulemu beetaga obukadde 500 okusoma.

Bya Damali Mukhaye Mukaweefube w’okuduukira abaana abalina obulemu ku mubiri gyabwe okusobola okusoma, abalwanirizi b'edembe  batutegeezeza  nga bwebeetaga ensimbi obukadde 500 okubagulira ebikozesebwa byebeetaga okusoma obulungi Twogedeko ne Edson Nyirabakunzi,  nga ono y'akulira  ekibiina ekibagatta ekya NUDIPU n'agamba nti mukaseera kano abaana abalina ebyetagisa mukusoma bakola ebitundu 2, kale mukaseera kano  abaana ebitundu 98% tebalina abafaako. Ono agamba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play