Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Mukyala wa Muhamadh Kirumira azadde mulenzi

Bya Shamim Nateebwa Kabitte weyaliko omuduumizi wa police ye Buyende ASP Muhammad Kirumira  olwaleero azadde omwana mulenzi wali ku dwaliro e Rubaga. Ono asumulukuse ku ssaawa 9, omutabani n'atuumibwa erinya lya kaweesi nga kitaawe bweyalagira. Tukitegeddeko nti Kirumira yategeeza kitaawe nti mukyala we Mariam Kirumira bw'azaalanga omwana nga tannava Nalufeenya oba mulenzi oba muwala omwana bamuwanga erinnya lya…

Read More

Ekiddukano kibaluseewo mu nkambi za’babundabunda

Bya Shamim Nateebwa Ministry yebyobulamu ekakasaizza okubalukawo kwekirwadde kyekiddukano mu nkambi zababunda bunda okuli eye Kyagwale ne Kigolobya mu district ye Hoima. Okusinziira ku mwogezi wa ministry yebyobulamu Vivian Sserwanja kinop kivudde ku bungi bwemponzi abava ku mulirwano mu gwanga lya Democratic R. ya Congo okuyingira kuno. Vivian agamba nti okwekebejja kwebakoze okuva e Butabiika, bazudde ekirwadde ekimanyiddwa…

Read More

Kassaija yegaanye okubba ensimbi

Bya Ritaha Kemigisa Minister webyensimbi Matia Kasaija ategezeza nti talikko nsimbi za gavumenti enewole zeyabulankanya. Bino webijidde nga ssababalirizi webitabo bya gavumenti aliko okunonyereza kwaliko ku nsimbi obukadde bwa dollar za America 200 oluvanyuma lwokwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti, nga bagala ono nomuwandiisi we owenkalakalira Keith Muhakanizi bajjibwemu obwesige. Wabula minister Kasaija bwabadde ayogera ne banamwulire agambye…

Read More

Alumbye bba ngamutebereza obwenzi amusanze muffu

Bya Shamim Nateebwa Omukazi alumbye bba ku mulimu gy’akolera ng’amusubiriza obwenzi wabula kimubuuseeko bw’amusanze mu nnyumba nga mufu. Rosemary Asele owemyaka 38, alinnye takisi mu busungu okuva e Tororo n’agenda mu ddwaaliro ly’e Bugiri, bba Dan Anthony Kalumula owemyaka 45, gy’akolera ng’amuteebereza okuba n’omukazi omulala olwokumala  ennaku 4 ngamukubira essimu tazikwatta n’alwooza nti ali mu bwenzi. Abantu bewuunyizza…

Read More

UNHCR yakukola okunonyereza okwayo ku buli bwenguzi

Bya Ritah Kemigisa Ekitongole kyensi yonna ekirera ababundabunda ekya United Nations High commissioner for refugees kitegezeza nga bwekigenda okukola okunonyereza, okwakyo ku vvulugu wokubulankanya ensimbi, mu bakungu ba gavumenti ya kuno. Bwabadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zaabwe amakya ga leero, omwogezi wekitongole Teresa Ongaro ategezeza nti babakaknye dda nokunonyereza. Ongaro agambye nti bagenda kwekennenya nnyo byonna ebibadde…

Read More

Obwakabaka buwakanyizza alipoota

Bya Shamim Nateebwa File Photo: Mayega nga yogera Obwakabaka bwa Buganda buwakanyizza alipoota eyekiseera eyafulumiziddwa, akakaiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gye ttaka. Bino bibaddewo amagombolola, Makulubita ne Nnyimbwa bwegakiise embuga mu nkola eya Luwalo Lwaffe mwebetekidde ettu lya bukadde 3. Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde abatikkula agambye nti, obwakabaka tebukkiriziganya na byafulumiziddwa mu alipoota y'akakiiko komulamuzi Catherine…

Read More

Omuvubuka asadaase omwana afune obugaga.

Bya Magembe Ssabiiti. Police e kyegegwa ekute omuvubuka wamyaka 20 lwa kuwamba mwana wa myaka 10 namusadaaka n'ekigendererwa eky'okufuna obugagga. Ettemu lino libadde ku kyalo Kijongobya mu gombolola ye Luyonza e Kyegegwa nga okusinzira ku taata w'omwana atiddwa Bumali Kaawa mutabani we Mukune Abdallah abadde amaze enaku 2 nga abuzidwawo. Omuddumizi wa police e Kyegegwa Benon Byamukama akakasizza…

Read More

Minister yeeganye obukuubagano mu bitongole ebikuuma dembe.

Bya Ssamuel ssebuliba. Government ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo okusika omuguwa wakati w’ebiwayi ebikola ku by’okwerinda  nadala bwekituuka kumutendera ogw’okukola ebikwekweto , kko n’okunonyereza kubuzzi bw’emisango. Gyebuvudeko amawullire gaze gakiraga nga bwewaliwo obutakaanya wakati wa ISO, Police ne CMI, era nga buli omu abaddde ayingirira emirimo gyamunne. Bwabadde ayogerako ne banamawulire , Frank Tumwebaze nga  ono ye minister…

Read More

Minista awakanyizza eby’okwewola emisaala gyabakozi

Bya Ben Jumbe.   Ministry ekola ku by'ensimbi  evudeyo newakanya ebibadde bitambula nga biraga nga  government bwegenda okwewola ensimbi obuwumbi 700 nga zino zakusasula  misaaala gy'abakozi. Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire wali ku media center minister Matia Kasaija agambye nti  kyebaakoze kwekusaba  palament ebakirize beewole  munda mu gwanga ensimbi obuwumbi 738 okusobola okukola ku nsonga ezenjawulo , wabula…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play