Bya Kato joseph.
Eyali omuddumizi wa poliisi mu district ye Buyende Muhammad Kirumira kyadaaki awereddwa okweyimirirwa olwaleero.
ono okuteebwa Kidiridde Assistant commissioner wa poliisi Sam Omara okuvaayo okumweyimirira.
Kirumira gyebuvuddeko bamutekako obulippo, okuli okuleeta abamusinga amayinja okumweyimirira wamu nokweyanjula eri ekitongole kya police ekikwasisa empisa buli lunaku.
Kati ono bamulagidde okuddamu okweyanjula mu kooti nga 26.
Kirumira avunanibwa misango gya…
Bya Ben Jumbe.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye abakulembeze bane abali mu mukago gwa East Africa okugatira wamu amaanyi okulaba nga bakola ku mitawana gyonna egy'ebyobulamu egitawanya amawanga gano.
President okwogera bino abade wali e munyonyo mu lusirika lw'amawanga amagatte olugenda mu maaso, nagamba nti East Africa erina buli kalonda wa ndwadde, kale nga bagwana bakyuse…
Bya Ivan Ssenabulya
Waliwo maama azirikidde mu kooti e Mukono omusajja eyamukwatira omwana bwakkirizza nti ddala omusango yaguzza wabula nasaba ekisonyiwo.
Maama ategerekese nga Nalumansi Christine owe Kibubbu mu gombolola y’e Kawolo mu district y’e Buikwe abadde amaze emyaka 6 ngalepuka nomusango.
Wabula omuvunanwa Mulo Musa muliranwa we bwakirizza nti omusango yaguzza omukazi nagwamu amanyi nebamuyolayoola.
Omulamuzi wa kooti…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi asindise ssemaka mu nkomyo amaleyo emyaka 25, olwokukira muzzukulu we okwegadanga naye.
Leevi Wandega owemyaka 65 omutuuze w’e Kanyogoga mu gombolola ye Naggojje e Mukono kigambibwa nti yakabawaza muzzukulu we owemyaka 8.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulemberwamu Janat kitimbo omusango Wandega yaguzza mu June wa 2011.
Omwana ono yali…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga lya Tanzania, John Pombe Magufuli atuuse mu gwanga olwaleero okwetaba mu lukungaana lwabakulembeze bomukago gwamawanga gobuvanjuba olwomulundi ogwe 19th olwa Ordinary East African Community heads of state Summit olunajubwako akakwuuwo kumLwokutaano lwa wiiki enos.
Nga yakatuuka kuno, Magufuliz yevubye akafubo ne munne owakuno kamukyaza Yoweri K. Museveni mu maka gobwa presidenti…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakozi mu kkolero lyemitayimbwa erya Tembo Steels Uganda Ltd e Lugazi amakumi 50 bali mu ddwaliro oluvanyuma lwekyuma ekyajidde mu bikadde oba Scrap okwabika nekivaamu omukka ogugambibwa nti gwa butwa, ekyaviriddeko abakozi okuziyira.
Bino byabaddewo ku Sunday, ngabakoseddwa bali mu ddwaliro lya Joska Medical Centre e Lugazi.
Enjega eno yabadde mu kiffo omusanusizibwa ebyuma ebikadde,…
Bya Damali Mukhaye ne Ndaye Moses .
Olunaku olwaleero ekitongole kya UNEB lwekifulumizza ebyavudde mu bibuuzo by’abaana aba S.6 nga bino biraze nga abaana bwebaakoze obubi okukira ku baana abaakola mu mwaka gwa 2016.
Ebifulumye biraze nga abaana abafunye principle pass esatu bwebaabadde 34,819, songa abafunye principle pass 2 bali 26,122, ate 1,141 bbo baagudde
Kati ono agamba…
Bya Ben Jumbe .
Ministry ekola ku by’obulamu esabiddwa okufuba okunonyereza ku ndwadde ezibalukawo nga bukyali, nga kwogase n'okukaza amaaso ku ndwadde enkambwe eziyinza okubalukawo nadala mu kaseera kano ak'enkuba etandise.
Kuno okusaba kukoleddwa akulira ekitongole ekikola ku ntebereza y'obudde Dr Festus Luboyera bweyabadde ategeeza egwanga embeera y'obudde mu myezi 3 egijja.
Dr Luboyera agamba nti endwadde nga…
Bya Ritah Kemigisa.
Akakiiko akakola ku nsonga z’ababundabunda mu kibiina ky'ensi yonna, kategeezeza nga bwekamaze okutongoza enkola egenda okuyitwamu okubala ababundabunda abali mu uganda bonna.
Bano webaviirideyo nga kyakazuuka nti waliwo abakungu mu office ya ssabaminister abagezza omuwendo gwababundabunda abali mu uganda okukakana nga babye ensimbi.
Twogedeko n'omwogezi w'akakiiko kano Teresa Ongaro, n'agamba nti kaweefube ono wakutandika nga…
Bya Sam Ssebuliba
Okufa kwabagwira babiri abisirizza ogwenkomerero mu Uganda kitereddwa ku kukozesa biragalalagala, okusinziira ku alipoota zabasawo ezekikugu
Tersvouri Petteri munansi wa Finland yafiira ku Pearl of Africa Hotel, Alex Sebastian omu-Swedi yasangibwa nga yafiira mu Sheraton Hotel.
Abalala kuliko Montigai Watson ne Rita Sharot eyafiridde mu district ye Nyoya mu kkumiro lyebisolo erya Murchison falls.
Bwabadde ayogerera…
