Bya samuel Ssebuliba.
Police ya uganda etegeezeza nga bwetadde kubbali ensimbi akawumbi kalamba nga zino zezigenda okukozesebwa mukubunya, ko n'okunyikizza enkola eya police n'omuntu waabulijjo okutuukira dala ku mutendera ogw’amagombolola.
Ssabapolice we gwanga Gen Kale Kaihura agamba nti enkola eno egenda kusooka kugasa ebitundu bisatu ebiri ku mutendera gwa region wano mu kampala, ko ne region endala…
Bya Andrew Baagala.
Amawulire ag’enaku getwakafuna galaga omukyala Susan Magara ayawambibwa okuva wano e Lungujja mu Lubaga Division bw'asangiddwa nga attidwa omulambobgwe n’egusulibwa e kajjansi lu luguudo olwa Southern by pass.
Twogedeko n’ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire naakakasa nga omulambo gwa Magara bwegusangiddwa nga gusuliddwa ku Southern Bypass wabula nga kaakano police etuuse mu kitundu…
Bya Isaac Mufumba
Eyali omubaka wa Bubulo West Tony Kipoi Nsubuga avunanibwa misango gya bufere, ngabadde yeyita musawo wa kinansi.
Ono olwaleero atekeddwa okulabikako mu kooti mu gwanga lya Botswana mu kikuba ekikulu Gaborone okusomerwa emisango 4 egyekuusa ku kufuna ensimbi mu lukujjukujju.
Kipoi kitegezeddwa nti yakwatibwa mu wiiki esooka eya February nga kigambibwa nti aliko emitwalo…
Bya samuel ssebuliba.
Nga police ekyanonyereza ku bagwira bana abakafiira wano mu Uganda, nate waliwo abalala 2 abazuriddwa nga bafiiride mu bitundu eby’enjawolo.
Omu kubafudde munansi wa Germany Hans Jurgen nga ono yaffa nga 23rd February , amangu dala nga yakatusibwa e Nsambya okufuna obujanjabi, songa ye Eric Tvomr munansi wa Belgium afudde leero wano e Muyeganga.
Ayogerera…
By Abubaker Kirunda.
Police e Mayuge enoonya omusajja nga ono azze ku mwanawe omuto n'amusalako akagalo ak'omukaaga kayite ka Namagalo okukakana nga afudde.
Akwatidwa ye Gumusinze Waiswa omutuuze we Mbirizi mu gombolola ye Baitambogwe , nga ono olutegedde nti omwanawe eyakazalibwa alina Namagalo ye akutte jambiya akagalo n'akasalako
Ayogerera police ye Busoga east police James Mubi kakasiza ebibadewo.
Bya Ivan Ssenabulya.
Omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze Bakireke aweze okuwakanya ekyo’kuggala amasomero mu kitundu kye ng'agamba nti kigendereddwamu kunyigiriza omuntu omunaku.
Kinajjukirwa nti amasomero agali mu 10 gegaddwa wiiki ewedde olw'obutatukiriza bisanyizo, nga bassa mu nkola ekiragiro kya ministry y'ebyenjigiriza.
Omubaka Nambooze agamba nti kino kyabulabe era abantu bakufirwa emiriimu mingi atenga gavumenti eremereddwa okutondawo…
Bya samuel ssebuliba.
Ssabapolice we gwanga Gen kale Kayihura aweze nga police bwegenda okwongera amaanyi mu bikwekweto byekola okwetoloola uganda yonna okusobola okumalawo ekiwendo gy'abamenyi b'amateeka ab'eyonggedde.
Gen Kaihura okwogera bino asinzidde wali ku tendekero lya Police ekigo ewatudde akakiko ka police, nga omulamwa kwekubamu tooki.
Mukwogera kayihura ategeeze nga police bwegenda okukyusa munkola, kakano ebikwekweto bifuuke byabuli…
Bya Ivan Ssenabulya
Omwoleso gwa Pearl of Africa Tourism Expo gutandise amakya aga leero mu Jubilee Park wano mu Kampala “nomulanga okuddamu okuzuula ekkula eriri mu gwanga lyaffe”.
Omwoleso gwetabiddwamu abolesa 200 okuva e bunayira nabomunda mu gwanga.
Vincent Mugaba, omwogezi wekitongole kyebyobulambuzi ekya Uganda Tourism Board ategezeza nti waliwo ebikujjuko ebyatandika wiiki emu emabega, nga kampuni zabalambuzi…
Bya Joseph Kato
Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura, ayisizza ekiragiro eri abasirikale ba poliisi bonna, nga tayawudde wa ddaala ki obutagabana mawulire nebitongole ebeikuuma ddembe ebirala.
Mu bbaluwa ye gyeyawandiise nga February 21, Gen Kayihura agamba nti yakitegeddeko nti waliwo abasirikale be abayitibwa ebitongole mu kimpukumpuku nebogera buli kimu.
Alabudde nti waliwo abagenda okukangavvulwa, olwokukola kino.
Amalire agava…
Bya Sam Ssebuliba
Aba Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda bawandikidde omukulembeze we gwanga olutagajjo lwe bbaluwa, nga bagala abangewo akakiiko akatengererdde okunula mu nkyukakyuka ezetagisa mu mateeka gebyokulonda.
Mu bbaluwa gyebawandiise nga February 19th, aba CCEDU bagala kino kikolebweko kubanga omwaka guno, okulonda kungi okutunuliddwas.
Omukwanaganya wemirimu mu kitongole Crispy Kaheru, ategezeza nti buno era bweyamu…
