Bya Eria Lugenda
Abakulira ekibuga kye Kayunga batandise okutta ebisolo ebitayaya mu kibuga.
Bamutandise na kutta embwa ezibadde zitayaya
ekiro nemisana ekitadde abatuuze ku bunkenke.
Akulira ebyobulamu mu kibuga Dr Daniel Ebberu bwabade ayogerako naffe agambye nti bagenze okutandika okutta embwa zona nokubowa ebisolo ebirala ebitayaya
ngebbanga ddene eribadde liyiseewo, okuva lwebasemba.
Kati abayonja ekibuga batandise okuyoola emitumbi gyembwa.
Bya Benjamin Jumbe
Kyankizo nnyo okunoonya ensibuko yensimbi okuvujiririra emirimu gyomukago.
Kino kyekimu ku biri ku mwanjo lukungaana lwabakulembeze ba East African Community olwe 19th olujibwako akawuuwo mu Kampala.
Wabaddewo okusomozebwa okwamanyi okussa mu nkola ebyo ebikanyiziddwako ngomukago.
Omumyuka wa sbabawandiisi womukago Jesca Eriyo atubuliidde nti amawanga agamu nokutuusa kati gakyalemererddwa okuwaayo ensimbi ezobweyamu bwazo ng aba memba.
Agamba batekeddwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe mu district ye Mukono ne Buikwe basabye gavumenti okwongera okukola ku bizibu byabwe, okuli okulongoosa ebimbe okubaterako webayita, nokubatusiza obuyambi bwonna obwetagisa.
Bano bakubye omulanga ku mukolo bwebabadde baweebwa obugaali 197 nemiggo 35 enkata ebakubiddwako abekitongole kya Father's Heart Mobility Ministry.
Wano omukubiriza wolukiiko lwa district ye Mukono Emmanuel…
Bya Ivan Ssenabulya
Abaliiko obulemu district ye Mukono bawanjagidde gavumenti nebitongole ebigabiriizi byo'buyambi okubakwasizaako
mu kusomesa abaana.
Bano nga bakulembeddwa kansala waabwe ku gomboloola ye Kimenyedde mu Ssaza lye Nakifuma Abdu Ssekagya Kapere bagamba nti basanga okusomozebwa kubanga omulembe gwabantu abasomye.
Bagamba nti obwagazzi okusomesa abaana babwe babulina naye bwebafuuba bakoma mu bibiina ebya wansi jiyite primary.
Bya Ruth Anderah
Kooti esnukulumu eyongezaayo okuwulira omusango gweyali omuddumizi wa poliisi e Mukono James Peter Aurien ngawakanya ekibonerezo ekyemyaka 40 ekyamuweebwa, olwokutta mukyala we.
Kooti ejjuirwamu eyawa ono ekibonererzo kyokwekabaka mu kkomera emyaka 40.
Wabula ono bwabadde alabiseeko mu maaso gabalamuzi 5 ababadde bakulembeddwamu Stella Arach Amoko wabula munamateeka we Andrew Sebugwawo ategezeza kooti nti babadde tebetegese…
Bya Moses Ndaye
Uganda eri mu kiffo kya 151 mu lusengeka lwamwanga agasingamu okulya enguzi, ku mawanga 180 agatunuliddwa.
Ssenkulu wekitongole kya Transparency International Uganda, abakoze okunonyereza Peter Wandera, agambye nti Uganda yasigadde mu kiffo kyekimu kyeyalimu mu lusengeka opkwalsemba.
Agambye nti mu mawanga gobuvanjuba bwa Africa, Rwanda yeyakoze obulungi mu kiffo kya 48, Tanzania mu 103, Kenya…
Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko olutwala emizannyo gya zzaala nokutebereza olwa National Gaming Board lulangiridde okuggala ebibanda nobudduuka bwa zzaala okwetoola egwanga.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Center, akulira olukiiko luno Edgar Agaba agambye nti waliwo omujjuzo ogususse, nga bann-Uganda batwala obudde bungi mu kutebereza anawangula natawangule, ekiviriddeko amaka mangi okusasika, busniness okufa nabamu okubagoba ku mirimu.
Ategezeza…
Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti ewabuddwa ku masomo ga science, agasinga okuwa abayizi obuzibu.
Okusinziira ku byavudde mu bigezo bya S. 6 ebyakolwa omwaka oguwedde 2017, ebyafulumye olunnaku lwe ggulo abaana bakoze bubi amasomo gano.
Kati omukulu we’ssomero lya Seeta High Green Campus Obbo Allan agamba ensomesa embi yevirideko okusuula baana nga’basomesa abasinga basomesa abaana awatali kufaayo, nga balinga…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatwala ebyenjigiriza mu munisipaali ye Mukono bagadde amasomero g’obwananyini 8 olw’obutatukiriza bisanyizo ebisokwerwako.
Kumasomero agaggadwa kuliko Eran Pre and P/School, Kitete Christian Nursery School, Blue Light Junior School n’amalala ng’agasinga gabadde tegalina bizimbe bimala abaana mwebasomera, abasomesa obutaba na bbaluwa za buyigirizze, obutakuuma buyonjo, n’ebirala.
Omulambuzi w’amassomero mu munisipaali ye Mukono Olivia Bulya agambye nti…
Bya Malikh Fahad
Poliisi ye Bukomansimbi eriko abantu 28 begombyemu obwala mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro okwetoola district.
Ekikwekweto kibadde mu magombolola okuli Bigasa ne Kitanda, oluvanyuma lwokwemulugunya okuva mu batuuze ku bumenyi bwmaateeka obweyongedde.
Abataka bagamba nti abavubuka bangi bamala obudde mu zzaala ekyandiba nti kyekibavirako okwenyigira mu kumenya amateeka.
Ouddumizi wa poliisi mu district ye Bukomansimbi, Charles…
