Bya Benjamin Jumbe ne Samule Ssebuliba
Omumyuka womukubiriza wa palamenti, Jacob Oulanya awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa leero, oluvanyuma lwababaka naddala ku ludda oluvuganya gavumenti, okutabanguka.
Ababaka batanudde okulekanira waggulu, nga mpaawo kiyinza kugenda mu maaso.
Oulanya agambye nti tayinza kukubiriza palamenti eyabantu abakaawu.
Kati oluvanyuma ababaka, aboludda oluvuganya gavumenti batanudde okujaganya, nokuyimbira waggulu oluyimba lwe gwanga.
Bano bajjeyo firimbi nebenanika…
Bya Sam Ssebuliba
Ekiteeso ekyokujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga tekiri ku lukalala lwebyo ebigenda okutesebwako olwaleero nga bwekibadde kisubirwa.
Kinajukirwa nti ba-speaker ba parliament 2 baakava mu kafubo akokusalawo ebinatesezebwako, wabula tutegeezedwa nti olupapaula lwebakanyizako lulaga nti ekiteeso ekyokusaba oluwummula, okugenda okubaga ebbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga tekkiriiko.
Wabula okusinziira ku mateeka agafuga…
Bya Ndaye moses.
Abayizi be Makerere wetwogerera nga baguddde mudene okw’olekera ekibangirizi kya ssemateeka, kko ne parliament, nga nabo bawakanya eky’okuja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Mukaseera kano abamu batuusse wano e Wandegeya batambula, songa basatu kubakulembeze baabwe police emaze okubakwata.
Bya samuel ssebuliba.
Omulord w’ekibuga Kampala Erias Lukwago wetwogerera nga ye amaze okukwatibwa ono y’omu kubantu ababade bategese okutambula nga boolekera ekibangirizi kya ssemateeka wansi we nkola eya Togibikula.
Ono police emujje mu makaage e Wakaliga bwabadde agezaako okugenda ku city hall webabade bagenda okukunganira nga abakulembeze abalonde aba KCCA n'oluvanyuma bagenda ku kibangirizi kya ssamateeka.
Mukaseera kano…
Bya Sam Ssebuliba
Omumyuka wokubiriza wa palamenti asabye ababaka abesunga okuleeta ekiteeso kyokuleeta ebbago ku myaka nti balindeko, kubanga kiri mu lusuubo.
Jacob Oulanyah ababdde akubiriza palamenti akawungeezi ka leero, nagamba nti bagenda kusooka kutuula ne mukama we Rebecca Kadaga, okukanya obanga kino kinabeera ku lupapula lwebyo ebiganda okutesbewako.
Ategezezza nti bafunye okwemulugunya okuva mu bantu babulijjo abawerako…
Bya Kyeyune Moses
Abababka ba palamenti mu kibiina kya National Resistance Movement ekiri mu gavumenti, blonze nebawagira nti ddala baleete ebbago okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Ababaka bano bevumbye akafubo ku wofiisi ya ssabaminista mu Kampala ngababaka 287 ku bababaka 296 bawagidde ekiteeso kyomubaka wa Igara west, Raphael Magyezi ayagala okwanja ebbago lino.
Kitegezeddwa nti ababaka…
Bya Moses Ndaaye
Abasawo abakugu, bagodde ku bye kkomo ku myaka gyokululembeze we gwanga.
Abasinga kubanna-Uganda bakyebuuza ku obusobozi nembeera zobwongo bwomuntu owemyaka 75, obanga ddala aba assobola okufuga egwanga.
Kati abasawo abakugu bagamba bategese nabo okuwa endowooza zaabwe, ssinga banabatukirira okubebuzaako.
President owa Uganda Medical Association, ekibiina ekitaba abasawo mu gwanga Dr. Ekwaro Obuku agambye balinze omukulembeze we…
Bya Damalie Mukhaye.
Abakulembeze abalonde aba KCCA mu kibuga Kampala, nabo beegasse mu lutalo olw’okulwanyisa abaagala okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Kati bano baliko kaweefube gw’ebatuumye ‘’Togibikula’’.
Bwebabede boogerako eri bannamawulire nga bakulembedwamu amyuka lord mayor wa Kampala omukyala Sarah Kanyike, bano bagambye nti olunaku lw’enkya bagenda kukeera kukumba okw’olekera ekibangirizi kya ssemateeka okulaga obutali bumativu…
Bya Ruth Anderah
Omukyala omulenzi w’akaboozi avunaniddwa omusango gw'okwasa endabirwamu y’e mmotoka ya kasitooma we oluvanyuma lw'okugaana okumusasula.
Arinaitwe Pentince avunaniddwa mu kkooti ya City hall mu maaso g'omulamuzi we daala erisosoka Beartrice Kainza omusango nagwegaana.
Oludda oluwaabi nga lukulembedwamu Jackie Kyansimire lugamba nti nga June 10th 2017 e Ntinda Kinawataka mu division ye Nakawa omukyala ono yayasa…
Bya Ruth Anderah
Kansala we Kubowa Parish Rubaga division Juma Lubega Kabootongo awonye ekkomera oluvanyuma lwa KCCA okwekuba endobo n’emujako emisango gy’okweyisa mu ngeri etagasa.
Kino kidiridde Kansala ono nga yeegatiddwako n’abatuuze okw’etika ebikutiya bya kasasiro bina nebabiyiwa ku wankaaki w’ekitebe kye gombolola ya Rubaga .
Kabootongo nebane abalala 3 basimbiddwa mu kkooti ya city hall mu maaso…
