Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Gen Muntu alabudde amagye okwewala Togikwatako.

Bya samuel ssebuliba. Eyaliko omuduumizi w’amagye ge UPDF Gen Mugisha Muntu asabye amagye ge gwanga obutageza kulaga ludda mukaweefube ono agenda mu maaso ow’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga. Nga ayogerako ne banamawulire e Luweero mukaseera kano gyali,Gen Muntu agambye nti amagye galina kubeera kuluda lwabantu, kale nga tegagwana kukozesebwa abakulemebeze abeenonyeza ebyabwe. Ono mungeri yeemu akikaatirizza…

Read More

Lukwago ayagala kuliyirirwa obukadde 700.

Bya samuel ssebuliba. Omulodi w’ekibuga Kampala Ssalongo Erias Lukwago adukidde mu kakiiko akalera edembe ly’obuntu  aka uganda Human rights commission , nga y’emulugunya  olwa police okumukwata nga eky’onziira sabiiti . Kinajkirwa nti sabiiti ewedde bweyali agenda okwetaba munkola eya ‘’Togibikula’’ Police yamkwata mubukambwe  obwekitalo. Kati leero Lukwago adukidde eri akakiiko kano nga agamba nti bano baamunyiga n’obusajja, kko…

Read More

Bobi wine yeeganye eby’okuvunika gavumenti.

Bya shamim Nateebwa. Omubaka wa Kyandondo East mu parliament Robert Ssentamu Kyagulanyi,ategezezza nga bwatagenda kutisibwatiisibwa police olw’emisango egy’amugudwako. Kinajukirwa nti amangu dala nga yakadda okuva e bunayira  akawungezi akayise , Kyagulanyi ono yakwatidwa police n’emuvunaana omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu  nga ayita mu katambi akamaloboozi keyakola nga tanava mu gwanga. Ono mungeri yeemu asambazze ebize byogerwa nti yaweereddwa…

Read More

Eyabba Taxi akaligiddwa.

Bya Ruth Anderah.     Waliwo omusubuzi w’ematooke mu katale k’okukalerwe avunaniddwa gwa kubba motoka. Mawanda Patrick avunaniddwa ku city hall mu maaso g'omulamuzi we daala erisosoka Beartrice Kainza neyegaana omusango gw'obubbi. Wabula kino tekirobedde mulamuzi kumusindika mu komera e Luzira okutuusa October 4th lw'anadizibwa omusango gutandike okuwulirwa.

Read More

Omubaka Lyomoki Aleeta Bbago Okusikira Presidenti Museveni

Bya Benjamin Jumbe Omubaka wabakozi, Dr. Sam Lyomoki awandikidde omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, namulaga nga bwalina ekigedererwa okuleeta amateeka mu bubage ga mirundi 2. Bino webijidde ngomumyuka wa Speaker Jacob Oulanya olunnaku olwe ggulo, ekiteeso ekyokubaga ebbago ku kukjja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga yakyongeddeyo wiiki ejja. Mu bbaluwa ebbiri zawandiise, olwaleero nga=ennaku zomwezi 22 September…

Read More

Owa Buleke Dawuni Agaanye Okusika Mmotoka ya Bobie-Wine

Bya JOSEPH KATO ne DERRICK WANDERA Police egezezaako ekibinja kyabawagizi bomubaka wa Kyaddondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ababdde akomawo okuva mu kibuga New York mu gwanga lya America. Omwogezi wa poliisi mu Kamapala nemiriraano Emilian Kayima, akaksizza nti ababadde baziyizza Bobi Wine nabawagizi be, kubanga babadde bagenda kutataganya entambula yebidduka. Kayima agambye nti…

Read More

Akabenje e Kakiri Katuze Abatanakakasibwa Muwendo

Bya Ivan Ssenabulya Abantu abatanakakasibwa muwendo kigambibwa nti bafiridde mu kabenje kagudde e Kakira mu distruct ye Jinja. Okusinziira ku berabiddeko abantu 3 bandiba nga bebasirikidde mu kabenje kano. Mmotoka kika kya Taxi UAZ 772/H eyingiridde ki trailer namba UAB99Y/ ngeno ebaddeko enamba endala UAF 546/T ebade egezaako okukyukira wakati mu kkubo. Wabula omwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga…

Read More

Lukwago Ayagala Kumuliyirira, Ne Poliisi Emunonyerezaako

Bya Damalie Mukhaye ne Benjamin Jumbe Lord mayor wa Kampala, Erias Lukwago ayagala poliisi emuliyirire, nokumwetondera olwengeri eyobukambwe gyebamukuttemu, okuva mu maka ge e Wakalinga olunnaku lwe ggulo. Lukwago agamba nti poliisi yezinzeeko amak ge, nebamukwakula ku wankaaki nebatuuka nokumuyuliza engoye. Kati Ategezezza nti awandikidde ssbaworereza wa gavumenti, ngayagala bamwetondere nokuliwa olwebyo bybayonoonye. Wabula poliisi etegezezza nti Lukwago ono…

Read More

Omugwira eyawemulide mu Dubai akwatiddwa.

Bya samuel ssebuliba. Mu DUBAI waliwo omusajja enzaalwa ya Bungereza akwatiddwa nga ono kigambibwa nti aliko omugoba w’emotoka gweyalaze olugalo olw’omumakati mungeri ewemula Jamil Ahmed Mukadam omutuuze we Leicester, yafunye obutakaanye n’omugoba wa taxi ey’amulemesezza okuvuga nga bali mu jaamu, kale wakati mubusungu n’amulaga olugalo luno Mukaseera kano ali mu komera, alinze  kumanya nsala ya mulamuzi.

Read More

Abatemu basse omusubuzi e Bukomansimbi.

Bya Getrude Mutyaba.   Poliisi mu district ye Bukomansimbi eri mu kunoonya ekibinja ky’ababbi abaalumbye omusuubuzi n’ebamutta nga kw’ogasse n’okulumya mukyalawe ali olubuto. Israel Lutaaya omutuuze w’eKiryajuma mu gombolola ye Bigasa mu district ye Bukomansimbi y’attiddwa abatemu abatanategeeekeka. Lameck Kigozi nga y’ayogerera poliisi mu greater Masaka akakasizza ettemu lino

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play