Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Aba NRM Basiimye Kadaga

Bya Moses Kyeyune Ababaka aba NRM, ekibiina ekigufa era ekira omuwendo mu palamenti basiimye omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebecca Kadaga olwokukiriza ekiteeso kyomubaka wa Igara West Raphael Magyezi nekisomebwa. Ababaka bamutenderezza, nga bamwiogeddeko ngomukyala naggwano, kubanga ensonga yazikutte ngeri ya kisajja kikulu. Kati ekiteeso okusiima Speaker kireteddwa omubaka wa Buzaaya era Minister omubeezi owenkulakulana yebibuga nokuzimba, Isaac…

Read More

Bannamawulire Bagenda Kuwawabira Akakiiko Kebyempuliziganya

Bya Benjamin Jumbe Ekibiina ekrera eddembe lyabanawmulire ekya Human Rights Network for Journalists Uganda, kirangirirdde nga bwekigenda mu kooti, okuwawabira akakiiko akebyempuliziganya aka Uganda Communications Commission  olwokulemesa, emikutu gyamwulire okuwereza buterevu ebyabadde bigenda mu maaso ku palamenti. UCC olunnaku lwe ggulo, yafulimizza ekiwandiiko nga bagamba nti amawuliro ga palamenti gabadde gatekeddwa okusooka okusunsulwa, ssi kumala gagaleeta, ekyabadde…

Read More

Wofiisi za NRM e Mubende Zigaddwa nga Babanjibwa Obupangisa

Bya Magembe Ssabiiti Wofiisi yekibiina kya NRM e Mubende egaddwa lwakulemererwa kusasula nsimbi ezobupangisa kati okumala omwaka mulamba nekitundu. Ssentebe  wa NRM e Mubende, Joseph Kakooza nga ye mubaka we Buweekula akakasizza nga wofiis eno bweyagaddwa nga babanjibwa ensimbi ezisoba mu bukadde 3 zebatalina mukiseera kino. Kino kidiridde abakulembeze  ba NRM okuva magombolola agenjawulo ababadde mu lukiiko lwe…

Read More

Kaihura Agamba nti Ababaka Babadde Bagala Kwokya Palamenti

Bya Sam Ssebuliba Ssabapoliisi we gwanga Gen. Kale Kayihura anderezza obukugu, agamba abasirikale ba police bwebayolesezza okufuluimya ababaka okuva mu palamenti, olunnaku lwe ggulo. Bwabadde ayogera ne banamwulire e Kasenyi olwaleero, Kaihura agambye nti tewali kwetonda kugenda kukolebwa olwebyo ebyabaddewo, abasing byebavumiridde, nokukyogerako nti kwabadde kuzinda palamenti. Kaihura ategezeza nti kino bakikoze, poliisi nebitongole ebiralal ebyebyokwerinda babadde bakitegeddeko…

Read More

Abavuganya govumenti bazize palamenti.

Bya Kyeyune Moses. Ababaka ba parliament abavuganya gavument, kko nabatawagira ky’akukyujja  komo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga basazeewo okuzira palamenti Bano nga bakulembedwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza bagamba nti kino bakikoze lw’akwagala kwegata kubanaabwe 24  sipiika beyagobye mu palament olunaku lwajjo. Ono agamba nti tekikola makulu okusigala nga bakiika, songa banaabwe bwebabade balwana entalo bagobeddwa.

Read More

Ekiteeso Kyo’mubaka Magyezi Kisomeddwa, Okujja Ekkomo ku Myaka

Bya Kyeyune Moses Ekiteeso ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kyanjuddwa era omubaka wa Igara West, Rapheal Magyezi naweebwa olumummula lwa palamenti, okuleeta ebbago ngomubaka ssekinoomu okukola ennongosereza mu ssemateeka, jja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Ono kataki akiriziddwa okubaga ebbago okukwata mu kawayiro 201/b aka ssemateeka we gwanga, akakwata ku myaka gyomukulembeze we gwanga…

Read More

Ababaka 25 bagobedwa mu parliament.

Bya moses kyeyune. Getwakafuna  okuvamu parliament galaga nga speaker  Rebecca Kadaga  bwagobye ababaka ba parliament 25  lwakusiiwuka mpisa akawungezi akayise. Abamu kubagobeddwa kuliko :Roanld Kibuule, Allan Sewanyana, Monica Amoding, Sam Lyomoki, Moses Kasibante  Nambooze Betty, Sentamu Kyagulanti, Zaake Francis, Ibrahim KAsozi, William Nzoghu, Gilbert Olanya, JOanthan Aodul, Mohammad Nsereko, Angelina Osegge, Alfred Niwagaba, Odoga Otto, Nandala Mafabi,…

Read More

Ettaka libisse abantu musanvu mu district ye Rubanda

Bya Samuel Ssebuliba. Mu district ye Rubanda agavaayo galaga nga abantu musanvu bwebafudde mu kiro ekikeeseza olw’aleero , nga kino kidiridde etaka okubumbulukuka. Eno enjega ebadde mu gombolola ye Muko, wabula nga etaka lino liyeze abantu bano neribasuula mu gombolala endala eye Bufundi. Ayogerera police yeeno Elli Matte atubuulide nti eno enjega okugwaawo kidiridde enkuba okutonya olutasalako okukakana…

Read More

Ebyo’kuteesa mu Palamenti Bisanyaladde, Olutuula Lwongezeddwayo

Bya Ivan Ssenabulya Ebyokuteesa mu palamenti bisanyaladde akawungeezi ka leero, ngomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa leero, okutukira ddala olwenkya ku ssaawa 8. Ebyokuteesa ku kiteeso kyomubaka wa Igara West Raphaeal Magyezi kubadde kuzeemu, ababaka ate kwekutabanguka. Ababaka bayimbye oluyimba lwe gwanga nga kitutte ebbanga, nga tebasirika, Kadaga akanyizza kubayita nga wa. Mu kusooka lyabadde bbugumu,…

Read More

E Mpigi Abazigu Basse Kansala Wa’bavubuka

Bya Shamim Nateebwa Entiisa ebutikidde abatuuze be Mpambire mu distrct ye Mpigi abaziggu bwebasse Kansala w’abavubuka nebaleka mukazi we nga bamutemyetemye nga bamulese bamusibye emigwa. Tadeo Ssebunya Kasule owemyaka 30 ngabadde musuubuzi w’ebizimbisibwa yatiddwa. Ono abatemu okumutta  baamusanze mu maka ge nebamutematema, nebamuleka ngataawa wabula, afudde nga yaakatuusibwa mu ddwaliro e Nsambya. Akulira poliisi ye Mpigi, Ronald Mugarura ategezezza…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play