Bya Ruth Anderah
Abenganda zomukazi eyali omutebeeyi wokunguudo, Oliver Basemera owemyaka 37 eyagwa mu mwala gwe Nakivubo, abakwasisa amateeka bwebaali bamugobaganya baddukidde mu kooti enkulu.
Bano bawawabidde ekitongole kya KCCA ne Ssabawolererza wa gavumenti nga bagala okubaliyirira obukadde 800.
Muwala womugenzi Rose Nalujja neba kooja be Patrick Kugoza ne Richard Baleke okuba e Kyenjonjo balumiriza Kituuma Rusoke ne…
Bya Malik Fahad Jingo.
Nate abatemu bazeemu okutigomye ebitundu bye masaka ne district ezirinayeewo, nga mu kiro ekikeeseza olw’aleero batemye abantu ku byalo bisatu mu district ye Kalungu.
Eno enjega ebadda mu gombolola ye Lwebenge, era nga ebyalo ebikoseddwa kuliko Kikoota, Kalumaga, ne Bukiri nga bino byonna bisangibwa Lwabenge .
Abatuuze bagamba nti bano obwedda banyaga buli mutuuze…
Bya Damalie Mukhaye.
Mu district ye kasese mu kitundu kye Bwera agavaayo galaga nga ekirwadde kya kolera bwekirumbye ekitundu kino, era nga wetwogerera abantu 3 bebakafa, songa 36 bali mukufuna bujanjabi.
Twogedeko ne Dr yusuf Basega, nga ono yaakulira ebtobulamu e Kasese n’agamba nti ababiri abaasose okufa baafude amangu dala nga baakatusibwa mu dwaliro, songa omulala yafiiride…
Bya Ben Jumbe.
Waliwo okunonyereze okukoleddwa n’ekizulibwa nga banna Uganda ebitundu nga 30% ensimbi zaabwe bazitereka mubikondolo na wansi wa mifaliso.
Kuno okunonyereze kw’akoleddwa eb’ekitongole ekikola ku by’emiwendo mu Uganda ekya Uganda Bureau of Statistics, nga bano bagamba nti wetagawo okusomesa banna-uganda obukulu bw’okutereka ensimbi mu bifo nga bank.
Twogedeko n’omukungu okuva mu kitongole kino James Muwonge nagamba…
Bya Andrew Baagala.
Police etegeezeza nga bwesazizaamu akakalu kw’eyali eyimbulidde ababaka 13 abakwatibwa mukadde kali parliament weyajiramu akacankalano Sabiiti ewedde.
Twogedeko n’ayogerera ekitebe ky’abambega ba police Vincent Ssekate n’agamba nti bano ababaka baabade balina okuddamu okweyanjula ku police kyoka mpaawo gwebaalabyako.
Ababaka aboogerwako kuliko Nandala Mafabi, Matias Mpuuga, William Nzoghu Robert Kyagulanyi, n’abalala.
Kati ono agamba nti akadde konna…
Bya Ibrahim Manzil.
Oluvanyuma lwa parliament okukiriza omubaka we Igara West Rachael Magyezi okugenda awandiike ebago ly’eteeka ely’okugya ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, tutegeezedwa nga ebago lino bweriwedde, era nga ligenda kusomebwa mu parliament omulundi ogusokera dala ku lwokuna lwa Sabiiti eno.
Kinajukirwa nti Ku mutendera guno ebago terikubaanyizibwako birowoozo,wabula lisomebwa busomebwa n’esindikibwa mu kakiiko akakola…
Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bulabudde ku nsonga zokukola ennongosereza mu ssemateeka, nengeri gyezikwataiddwamu nti kino kireseewo obunkenke mu gwanga.
Mu kiwandiiko ekifulumye eri bannamwulire, ekitereddwako omukono gwa Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga ,obwakabaka bubadde bulaba nokolondoola buli ekibadde kigenda mu maaso naddala ku palamenti mu nnaku ebbiri eziyise.
Kattikiro agambye nti ekikwata…
Bya Samuel Ssebuliba
Ekibiina kya NRM kiwolerezza omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebecca Kadaga olwokukubiriza palamenti negenda mu maaso awatabadde, aboludda oluvuganya gavumenti.
Olunnaku olwe ggulo palalmenti, yagenze mu maaso oluvanyuma lwabavuganya gavumenti okuzira, nga bawakanye ekya banaabwe abakangavvulwa.
Bwabadde ayogerako naffe, ssabwandiisi wa NRM, Richard Todwong agambye nti spiika talina teeka lyonna lyeyamenye.
Kinajjukirwa nti aboludda oluvuganya gavumenti…
By Ben Jumbe.
Olukiiko olufuga obusiramu olwa Uganda Muslim Supreme Council lutabukidde ababaka ba Palament n’adala abaabade bawakanye eky’okukwata ku nyingo, nga abalanga kwambala ntalabuusi kyoka nga n’abamu sibasiramu.
Kinajukirwa nti oluvanyuma lwa sipiika okubagaana okwesiba obuwero obumyufu kumitwe, abamu basalawo okwambala entalabusi emyufu -ekinyiiziza abakulu bano.
Twogedeko ne Hajji Nsereko Mutumba omwogezi w’olukiiko luno , nagamba nti…
By Ben Jumbe.
Ebibiina by’obwanakyeewa bisabye banna- uganda abakikirirwa ababaka 24 abaagobedwa mu palament obutasirika busirisi nga edoboozi lyabwe lizibikiddwa.
Crispy Kaheru nga ono y’emukwanaganya w’ekibiina ekya citizen Coalition for electoral Democracy agamba nti ababaka bano baasibiddwa ko n’okukubwa agakonde nga ensonga yakutuusa doboozi ly’abantu baabwe.
Kati ono ayagala abalonzi abaabatuma nabo baveeyo okukaatiriza ensonga z’abantu baabwe.
Ono agamba…
