Bya Kyeyune Moses
Abavuganya gavumenti mu palamenti nate bazizze olutuula lwa leero nga bwebalaliika, nga bawakanya ekyokugoba banaabwe mungeri gyebagamba nti emenya amateeka.
Okusinziira ku akulira oludda oluvuganya gavumenti, Winnie Kiiza basalawo okulaga obumu mungeri eno, nabo okuzira entuula ssatu ezo ezakaligibwa banaabwe, abaali bawakanya ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Kakati entuula 3 zigwako olunnaku lwenkya.
Kakati…
Bya Damalie Mukhaye
Poliisi eriko ababaka abamu ku abo abogobwa mu palamenti betangidde, okuyisa ekivvulu, nga babadde bolkera mu kibuga.
Ababaka bano babadde bakyaliddeko, mubaka munaabwe Robert Kyagulanya Ssentamu, owa Kyandodo East mu maka ge e Magere oluvanyuma lwebigambibwa kuba bbomu okubwatukira mu maka ge.
Wabula mu kuvaayo nomubaka Kyagulanya yennyini, babadde bayisa ekivvulu poliisi kyegaanye nebekiika.
Kakati omubaka…
Bya Abubaker kirunda.
Police e Iganga ekutte omusajja wa myaka 30 eyasse kitaawe nga amulanga kugaana ku muwa ku nsimbi zeyatunze mu taka.
Akwatidwa ategerekese nga Francis Kasozi omutuuze we Bumwaki mu gombolola ye Namungalwe Iganga
Police egamba nti Kasozi yakubye kitaawe Peter Ssemwenda omugo ku mutwe okukakana nga amuse.
Aduumira police ye Igangda Nasibu Ndita akakasiza bino.
Bya samuel ssebuliba.
Olunaku olwaleero ebago ly’eteeka erigenderedwamu okujawo ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga bwerigenda okusomebwa omulundi ogusookedde dala mu palament olw’egulo lwa leero.
Kinajukirwa nti omubaka we Igara West Raphael Magyezi yaweebwa olukusa okugenda awandiike ebago lino sabiiti ewedde, era bwalimaliriza kw’ekudda litandike olugendo olwokufuuka eteeka.
Okusinziira ku mateeka ga parliamentary , okusoma ebago ly’eteeka ku…
Bya Malik Fahad.
Police mu district ye Sembabule mu gombolola ye Kyabi etaasizza omuvubuka wa myaka 25 nga ono abatuuze babade basazeewo okumutta lwakubba matooke.
Ibrahim Mubiru omutuuze we Busabala mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi yaawonye okufa ,abatuze bwebamusanze nga akalakaala n’enkota z’amatooke 3 zeyabye.
Ono amatooke abadde agabye mu nimiro ya Nyansiyo Kiyimba.
Ayogerera police yeeno Lameck…
Bya Samuel sebuliba
File Photo: Opondo nga yogeera.
Oluvanyuma lw’ababaka okuli Robert Kyagulanyi owe Kyadondo East ne ne Allan Ssewanyana owa Makindye East okutegeeza nga bwebalumbiddwa abantu abatanategerekeka ne basuula ky’ebaayise grenade mu makagaabwe, yo government bino ebiyise bya ppa.
Omwogezi wa government Ofwono Opondo agamba nti buno obukodyo ababaka benyini bebabukozesa okuwununika banna uganda balowooze nti bino…
Bya Damalie Mukhaye.
File Photo: Besigye nga yogeera
Eyaliko president w’ekibiina kya FDC Dr Col Kiiza Besigye atabukidde abantu ebeeyita ‘’Banasoma’’ , baagambye nti besambye omulimo ogw’okulungamya egwanga, kko n’okwetaba mukawefube ow’okununula egwanga okuva mu kyayise ‘’obuwambe’’.
Bwabadde ayogerera mu makaage wano e Kasangati Besigye agambye nti abantu bano beetwala nga abatalaba mbeera banna-uganda gy’ebayitamu, kyoka nga balina…
Bya Joseph Kato
Eyali omuddumizi we gye lye gwanga, minister omubeezi owebyentambula Gen Katumba Wamala akyaliddeko omubaka owa munispaali eye Mityana Francis Zaake, gwagambibwa nti yakuba.
Okusinziira ku taata womubaka Zake nga ye Emmanuel Mutebi, Gen Katumba asabye byonna ebyaliwo mu palamenti obutabawula, era obutasattulula nkolagana wakati waabwe.
Okusinziira ku katambi, akakwatibwa munda mu palamenti, Gen Katumba yalabwako…
Bya Damalie Mukhaye
Aba FDC basabye minister omubeezi owebyentambula, Gen. Katumba Wamala okwetondera banna-Uganda nomubaka wa munispaali eye Mityana, Francis Zaake bweyamukakanyeko okumutujja zzi musolola ndaggu, wakati mu kavuvungano akaliwo.
Waliwo ebifananyi bya TV ebyalaze Gen. Katumba ono, ngawuttula omubaka Zaake, nga mu kiseera kino ali mu ddwaliro ajanjabibwa.
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire, ku kitebbe kyekibiina e…
Bya Ndaye Moses
Oluvanyuma lwomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, okugoba ababaka ba palamenti abagambibwa nti bebakola effujjo, abatuuze be Makindye bategezezeza nga bwebagala okuwayaamu na speaker yenyini ababuulire kiki kyayagaza omubaka waabwe.
Bano bagamba nti tebanamanya speaker lwaki alinga awalana omubaka waabwe Allan Ssewanyana.
Bano nga bakulembedwam councilors Muzafalu Kiyemba bagamba nti omubaka waabwe ono yaabadde abeetikira ebirowoozo…
