Waliwo liita za waragi eziri eyo mu 1300 bangi gwebakazaako erya Dete mu disitulikiti ya Agago gwebakumyeko omuliro.
Waragi ayiisibwa abatuuze n'owomubuveera yawerebwa mu kitundu kino kubanga wabulabe.
Waragi ono akwatiddwa mu katawuni ke Patongo nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino Charles Ray Okwir agamba bakoze kino okuteeka mu nkola eyasalibwawo olukiiko lwa disitulikiti okuwera…
Minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga alabudde abantu bonna okwewala effujjo nga twetegekera okulonda kwa 2016.
General Aronda Nyakayirima okulabula kuno akuwadde atongoza okugaba endaga Muntu mu disitulikiti ye Masaka.
Gen. Nyakayirima agamba nga okulonda kubulako emyezi mibale okutuuka, ebitongole ebikuuma ddembe biri bulindaala okwanganga omukozi w’effujjo yenna.
Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba nga y’akiikiridde omugenyi omukulu omumyumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ayagala eggwanga lya Rwanda liyirire bannayuganda bonna abafiirwa ebyaabwe mu lutalo olwaleeta gavumenti y’eggwanga lino mu buyinza wakati wa 1990-1994.
Bweyabadde aggulawo ekkolero ly’enanansi wali mu gombolola ye Maziba mu disitulikiti ye Kabale , pulezidenti Museveni yategezezza nga Rwanda ensonga eno bw’ebadde egitunulira ekyamuli sso nga kyetaagisa.
Museveni yasuubizza okujjukiza omukulembeze w’eggwanga lya…
Minisitule y’ebyenjigiriza etadde abakulira ebyenjigiriza ku zi disitulikiti ku ninga banyonyole lwaki abamu ku basomesa tebannafuna musaala gwaabwe ogw’omwezi oguwedde.
Kino kigyidde mu kiseera nga abamu ku basomesa mu disitulikiti ye Iganga, Arua ne Kampala tebannafuna musaala guno.
Minisita omubezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako John Chrysostom Muyingo agamba minisitule y’ebyenjigiriza y’aweereza dda emisaala gino kale ng'abakulira ebyenjigiriza bano balina…
Akakiiko k’ebyokulonda kakyagenda mu maaso n’okwekenenenya enkalala z’abalonzi okukakasa ebyo byonna ebyaweebwayo abalonzi.
Akakiiko kano omwezi oguwedde kaamaliriza okuwandiisa bannayuganda nga twetegekera okulonda kwa 2016 omwezi oguwedde.
Omwogezi w’akakiiko kano Jotham Taremwa agamba enkalala zino zakumaliriziba akadde konna basobola okutandika okuzitimba kwebasuubira okutandika nga 22 July 2015.
Ku zino kwekugenda okusinziirwa okulonda abakulembeze mu mwaka ogujja
Enkaayana z’ettaka ku nsalo eyawula Uganda ne Congo zikyagenda mu maaso oluvanyuma lw’enjuuyi zombi okulemererwa okukkanya ku ani nanyini ttaka omutuufu.
Ekitundu kye Vura mu disitulikiti ye Arua kyaggalwa oluvanyuma lwa Congo okweyongeza ettaka lya Uganda eriwezaako mita 300 okuva ku nsalo yaabwe .
Abakungu okuva mu gavumenti ya Congo beekwasa nti bbo wano baagala kuzimbawo kibangirizi…
Abantu abasoba mu 120 bafudde mu ggwanga lya Pakisatan mu ssaza lye Sindh olw’ebbugumu erisusse.
Ab’ebyobulamu bagamba nti okusinga bafudde mu bitundu bye Karachi nga eno akasana kali pereketya nga era abasinga kati basigala mu mayumba gaabwe okwewala ekibambulira.
Mu bitundu ebisinga amasanyalaze matono ddala olw’abantu okugayayanira okukozesa ebyuuma ebireeta ku mpewo.
Abasinze okufa bebannamukadde.
Munansi w’eggwanga lya Bungereza eyattidwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa mu ggwanga lya Kenya, kizuuliddwa nti abadde namba 2, mu bakulira ekimu ki bibinja bya banalukalala na Al –shabab mu ggwanga lya Somalia.
Thomas Evans, 25, okuva Buckinghamshire yattiddwa mu bulumbaganyi obwakolebwa nga 14 omwezi guno omwafiira n’abasirkale ba KENYA 2.
Mu bulumbaganyi buno banalukalala 11 beebattibwa nga bagezzako…
Minisitule y’ebyenjigiriza ewereddwa amagezi okwongera amaanyi mu kitongole ekirambula amasomero.
Mu kiseera kino minisitule eteeka ensimbi obuwumbi obusoba 2 mu kulambula amasomero kyoka abamu bagamba nti ensimbi zino ntono nyo.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union James Tweheyo agambye nti olw’ensimbi entono ministry z’eteeka mu kulambula amasomero, district ezimu ezirina amasomero agakola obubi, tezifuna…
Gavumenti yenyamidde olw’omuwendo gw’ababundabunda ogweyongera buli lunaku
Kamisona atwala ensonga z’ababundabunda muu ofiisi ya ssabaminista David Kazungu agambye nti abasinga ku bano bava mu ggwanga lya South Sudan ne Democratic Republic eya Congo.
Kazungu agambye nti South Sudan wokka abantu 170,000 beebali mu Uganda n’asaba abagabirizi b’obuyambi okukwasizaako Uganda mu kulabirira abantu bano
Bino bizze nga Uganda yegatta…