File Photo: Abajjasi ba Japan
Mu ggwanga lya Japan abaayo bali mu kujjukira nga bwegiweze emyaka 70 bukyanga lutalo lwa Okinawa luggwa omwafiira emitwalo n’emitwalo gy’abantu.
Enkumi n’enkumi z’abakungubazai bakunganidde ku kijjukizo mu kibuga kye Itoman nga wano abasinga webattibwa.
Katikiro w’eggwanga lino Shinzo Abe naye talutumidde mwana.
Abajaasi b’eggwanga lya Japan abali eyo mu 80.000 bafiira mu lutalo…
File Photo: Omukazi akutte taaba
Abalimi ba taaba okuva Bugangaizi mu disitulikiti ye Kibale bakwanze omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga ekiwandiiko nga bemulugunya ku kulwawo okusasulwa.
Abalimi bano wansi w’ekibiina kyabwe ekya Kakumiro farmers Association balumiriza kampuni ya continental tobacco Uganda Ltd okubakandaliriza okubasasula nga bajiwadde taaba waabwe nga tebafunanga yadde ennusu okuva mu mwezi gwa August omwaka oguwedde.
Nga…
File Photo :Abeyiita ba poor youth mu NRM
Abavubuka b’ekibiina kya NRM abeyita abaavu babakanye nekawefube w’okukunganya emikono egy’okukangavvula ssentebe w’ekibiina kyabwe.
Bamusaayi muto bano balumiriza pulezidenti Museveni nti emirimu gimulemye,nga atonzeewo n’obukundi mu kibiina kyabwe.
Nga bakulembeddwamu omukwanaganya waabwe Hussein Kato, abavubuka bano bategezezza nga pulezidenti Museveni bweyalemererwa okuwa embalirira ku nsimbi ezasondebwa okuzimba ekitebe ky’ekibiina n’…
Kkampuni nnya ezibadde zitwaala abantu ebweru ziggaddwa ne layisinsi zaazo nezisazibwamu lwakutunda bantu gyebabatutte okubafunira emirimu nebakola nga abaddu
Mu zino kuliko ey'omuyimbi Stecia Mayanja emanyiddwa nga Spema Uganda international limited.
Endala kuliko Migro opportunity limited, Oasis external employment agency, ne Al-salaam logistics consultancy.
Abakungu okuva minisitule y’ekikula ky’abantu n’eyensonga z'omunda w’eggwanga bebasazeewo okuggala kampuni zino.
Omukwanaganya w’akakiiko akatekebwawo…
Enguumi enyokedde ku kitebe ky’ekibiina kya DP oluvanyuma lw’ekibinja ky’abavubuka okulumba nga bawakanya obukulembeze obwayise ttabamiruka w’ekibiina kino.
Ekibinja kino kyonoonye ebintu ebiwerako nga baasizza n’endabirwamu z’ekizimbe era mu kavuvungano, basatu balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro
Bano era kigambibwa okuba nga bakuulise n'ebisumuluzo bya woofisi wa ssabawandiisi w'ekibiina .
Abamu ku bannakibiina balumiriza nti bano bawagizi ba munna DP…
Poliisi ye Mukono eriko omusajja ow’emyaka 44 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyezi 5 n’aleka nga amunuubudde mu bitundu bye eby'ekyama.
File Photo : Mt. Elgon
Omukwate ategerekese nga Paul Okwale nga era mutuuze mu gombolola ye Mpatta e Mukono.
Kagwensonyi ono okukakkana ku bujje lino mukyalawe Contress Achagi y’abadde tali waka nga amulekedde obuvunanyizibwa…
Poliisi ye Mukono eriko omusajja ow’emyaka 44 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyezi 5 n’aleka nga amunuubudde mu bitundu bye eby'ekyama.
Omukwate ategerekese nga Paul Okwale nga era mutuuze mu gombolola ye Mpatta e Mukono.
Kagwensonyi ono okukakkana ku bujje lino mukyalawe Contress Achagi y’abadde tali waka nga amulekedde obuvunanyizibwa bw’okukuuma muwala waabwe .
Omukyala agamba olwakomyewo ewaka y’asanze…
Waliwo ekibinja ky’abakungu b’ekibiina kya DP e Masaka abaweze okuzira ttabamiruka w’ekibiina lwamivuyo
File Photo: Ba na Dp
egyetobeka mu kulonda abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egyawansi.
Abakungu b’ekibiina kino bemulugunya nti enfunda eziwerako bazze basaba okulonda kw’e Masaka kuddibwemu wabula nga bekikwatako tebafuddeyo ku nsonga zaabwe.
Omu ku bano omubaka wa Bukoto East Florence Namayanja agamba ebiseera bingi bekubidde enduulu…
Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga Gen. David Sejusa aweze obutapondooka ku njiri y’enkyukakyuka mu ggwanga.
Sejusa okwogera bino y’abadde ayimiriddeko mu katawuni ke Kyabi weyategerezza nga gavumenti eriko kati bweri enkoowu kale nga bannayuganda basaana okugiggyako nga bayita mu kulonda.
Gen.Sejusa era y’alabudde omukulembeze w’eggwanga ku by’okutulugunya abamuvuganya kubanga ddembe lyabuli munnayuganda okwesimbawo ku kifo ky’ebyobufuzi…
Abayisiraamu balabuddwa obutagendera ku ssaawa nga balya ddaaku wabula batunulire nkaliriza embeera y’obudde nga bwekirambikiddwa mu kitabo ekitukuvu ekya Quran. Mambya bw’asala kabonero akalaga nti daaku eweddeko nga okusiiba kutandise. Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okufulumya essaawa ezawukana ku ddi omuntu kwalina okulya ddaaku nga abamu bagamba eggwako ssaaka 10 nga bukya sso nga abalala kkumineemu…