File Photo : Abantu mu kataale
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasizza nga bwebakola kyonna ekisoboka okulaba nga bakulakulanya akatale ka Sabasajja ake Nankulabye.
Katikkiro agamba kino kigenda kusoboka nga abo abakakoleramu benyinni bakulembeddemu omulimu gw’okusonda ensimbi.
Bino Katikkiro abyogedde asolooza ttofaali okuva mu katale Nakulabye
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwabula abalimi ekya National Agricultural Advisory Organisation , kirabudde abalimu mu disitulikiti ye Kayunga ku bantu abatandise okubalimbalimba nti babasomesa okulima katunguluccumu ow’ettunzi.
Omukugu okuva mu kitongole kino e Kawanda Dr. Andrew Kiggundu agambye nti okunonyereza kwebakoze kulaga nti katungulucumu ono tadda, ate nga talina n’akatale, kyokka ng’abantu babasaba emitwalo 2 okubasomesa okumulima.
Kiggundu…
File Photo: Aronda nga ayogera
Waliwo abagwira 35 abakwatiddwa lwakubeera muno mu bumenyi bw’amateeka
Ku bano 33 babadde ba china ate 2 bannansi ba Thailand nga babadde bapangisa kalina Entebbe bonna mwebabadde babeera.
Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agambye nti bano emirimu gyabwe babadde bagiddukanyiza ku kompyuta nga kati bakunonyereza ku ngeri…
Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda asabye poliisi mu bwangu okukola ku ba bodaboda olw’obubenje obususse
Kiddiridde okufa kw’omwana Jude Mukisa owa Buganda road primary eyafudde oluvanyuma boda kweyabadde okukoonwa owa kiroole n’afiirawo.
Rugunda agambye nti aba boda basusse obusamaavu nga tebagoberera mateeka ga ku nguudo ate nga ne poliisi terina ky’ekola etunula
Bw’abuuziddwa omubaka we Nyabushozi Fred Mugyenyi…
Abasomesa ababiri ab’essomero lya Acorn international school Bukoto basingisiddwa omusango gw’okulagajjalira omwana era gyebyakkira ng’agudde mu kidiba ekiwugirwaamu n’afa
Omwana ayogerwaako wa myaka ebiri n’ekitundu Sunshine Baraza era nga yafa ku lunaku lwe olw’okuna ng’asoma
Bino byagwaawo nga 3 omwezi gw’omwenda mu mwaka 2012
Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabende agambye nti abasomesa bano okuli Deborah Akado…
Okuwulira omusango oguvunaanibwa abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kukyagenda mu maaso
Omusajja agambibwa okutegeka olukwe lwonna olw’atta abantu Issa Luyima alabiseeko mu kkooti neyegaana ebimu ku biri mu kiwandiiko kyeyasooka okukola ng’akkiriza okuzza emisango.
Luyima ategeezezza kkooti nti yakakakib aafande gw’ayise Namara okukkiriza emisango nti era bweyali ku kitebe ky’ekitongole ekirwanyisa obutujju, bamusikayo olulimi nebatandika…
File Photo: Kaihura nga yogera
Poliisi eyimirizza enteekateeka z’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okutuuka enkiiko ezebuuza ku bantu ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Mbabazi teyalaze oba ayagala kwesimbawo ku lwa NRM oba ku lulwe
Kaihura era akubye ebituli mu bbaluwa ya ssabawolereza wa gavumenti kko n’akakiiko akalondesa
Ono agambye nti…
File Photo: Mbabazi ngali nabawagizi
Libadde ssanyu gyerere ku kkooti e Masaka okuva eri abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amaama Mbabazi oluvanyuma lwabanaabwe 3 okuyimbulwa.
Moses Kasozi, 32, Charles Ssebadawo, 27,ne Charles Higiro, 37, baakwatibwa nga 8th June ku bigambibwa nti baali bagaba ebipande bya Mbabazi nga bakuba kampeyini nga obudde obugere tebunatuuka .
Abasatu bano baasindikibwa ku alimanda…
File Photo: Sente za uganda
Poliisi ye Masaka eri ku muyiggo gw’omukazi agambibwa okusindikira munne laddu n’emukuba n’emutta nga agenze okumubanja 5000.
Gertrude Nanyanzi omutuuze ku kyalo Nakitokoro mu gombolola ye Bukakkata y’awenjezebwa ku bigambibwa nti y’asse munne Zaina Kantaro 23, lwa 5000.
Poliisi egamba nti ebiriwo biraga nga Kantaro bweyafiiridde mu maka ga Nanyanzi gyeyabadde agenze okukima…
Enteekateeka z’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okutandika okwebuuza ku balonzi nga yetegekera okwesimbawo ku bwa pulezidenti kuli mu lusuubo.
Akakiiko k’ebyokulonda kamusabye enteekateekaye agikwasaganye n’eyekibiina kye nga tanatandika kutalaaga ggwanga okwebuuza.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu agamba baafunye ebbaluwa okuva eri ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM nga besamula enteekateeka za Mbabazi nge bwezitali za kibiina kyabwe.
Mu bbaluwa…