Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Aba NRM beekalakasizza

Waliwo abawagizi ba NRM okuva mu bitundu bye Bukedi abasanyalazze emirimu mu kibuga kye Tororo nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa Bano babadde bavumirira eky’eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Bano ababadde bambadde emijoozi gya kyenvu nga baduumira amyuka akulira NRM abakyala Phibby Otaala bagambye nti Mbabazi tasaana kukulembera ggwanga nga pulezidenti Museveni y’alina okwesimbawo ate…

Read More

Paapa wakutuuka wano nga November aggwaako

Ekitebe ekikulu ky’obukatoliki mu kibuga Vatican mu ggwanga lya Italy kikakasizza nga Papa Francis bw’agenda okukyala mu Uganda ne Central African Republic wakati wa 27- 29 omwezi gw’ekkumi n’ogumu. Kino kizze nga wakayita wiiki emu bukya Papa akakasa nga bw’agenda okukyala wano mu Uganda bweyali mu lukungaana ly’abasumba okwetoloola ensi yona, olw’omulundi ogw’okusatu. Pope Francis ajja okujaguza…

Read More

Abasuubuzi bakaaba

y’abakyala ababiri abakubiddwa mu kwegugunga kw’abasuubuzi ba Energy centre yeeralikiriza. Abakoseddwa kuliko Carol Nagawa omutuuze we Kitintale Zone 1 nga ono yakubidwa essasi ly’ekipiira mu kugulu, ate yye Yudaya Nabulime nga mutunzi wa airtime wansi w’ekizimbe  yajjiddwaamu eriiso nga asiiba mu maziga olw’okufuna obulemu nga teyenyigidde mu buvuyo. Twogedeko n’aboluganda lw’abantu bano nga basaba bafune obujanjabi okuva…

Read More

Abawagizi ba Mbabazi abalala bayimbuddwa

Kkooti e Masaka ekkirizza abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi Masaka okweyimirirwa Omulamuzi w’eddaala erisooka Ann Komuhangi agambye nti abasatu bano baakubye olukungaana olumenya amateeka Abavunaanibwa kuliko Moses Kasozi, Charles Ssebadawo ne Charles Higiro nga bonna batuuze mu Nyendo, Bano ogubavunaanibwa kutimba bifananyi bya Mbabazi omusnago gwebegaanye Balagiddwa okusasula emitwalo 25 buli omu ate ababaeyimiridde nebalagirwa okuwa obukadde 2 ezitali…

Read More

Sejusa ayimbuddwa

Eyali akulira ekitongole kya gavumenti ekikessi Gen David Sejusa kyaddaaki ayimbuddwa Sejusa akwatiddwa enkya ya leero bw’abadde awuubira ku bagoba ba bodaboda ababadde bamwetolodde era n’atwalibwa ku poliisi y’oku luguudo oludda e Jjinja. Ono akwatiddwa okumala essaawa nya n’oluvanyuma nebamuyimbula oluvanyuma lw’okukola sitatimenti Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiraano Haruna Isabirye agamba nti ono bamulabudde…

Read More

Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu- Gavumenti

  Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agamba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu kubanga ssemateeka akikkiriza Kino kizze mga Mbabazi yakafulumya enteekateeka ze ez’okutambula eggwanga lyonna nga yebuuza ku bantu ku nteekateeka ye ey’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Ono era yawandiikidde n’akakiiko akalondesa  kko ne poliisi ku nteekateeka ze Wabula Ruhindi agamba nti Mbabazi alina…

Read More

Bannamateeka bawabudde poliisi ku Mbabazi

Waliwo ekibinja kya bannamateeka ekisabye poliisi okwewala okukwata abantu abatalina musango. Bano babadde baanukula ku kukwatibwa kw’abawagizi ba Amama Mbabazi. Omu ku bannamateeka bano Severino Twinobusingye agamba nti poliisi esaanye okusooka okwetegereza amateeka nga tennakwata bantu Ono agamba nti abakwatiddwa tebalina musango gwebazizza era tewali nsonga lwaki abakwatiddwa Wabula yyo poliisi egamba nti abakwatibwa baali bamenye amateeka agakwata ku…

Read More

Aba FDC batandise okuperereza Besigye

Waliwo ekibinja kya bannakibiina kya FDC abatandise okuperereza eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okukwata bendera y’ekibiina kino mu mwaka 2016 Besigye ayalekulira emirimu gy’ekibiina mu mwaka 2012 enfunda eziwera azze ng’ategeeza nga bw’atajja kwesimbawo okutuuka ng’amateeka g’ebyokulonda gatereezeddwa Banna FDC bano bakulembeddwamu Robert Mayanja ne Jethro Nuwagaba nga bagamba nti Besigye y’asobola okuyuuya pulezidenti…

Read More

Gen Sejusa akwatiddwa

Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga  Gen David Ssejjusa akwatiddwa. Ono akwatiddwa okuva ku luguudo lwa Kampala road, oluvanyuma lw’okuva mu motooka ye natandiika okuwubira ku bantu, era natwalibwa ku poliisi ya Jinja road. Ssejusa akyagenda mu maaso n’okukola statement ku poliisi ya Jinja road era ebisingawo tujja kubifina mu mawulire agaddako.

Read More