Omuntu omu yeeyafiiridde mu nkuba eyatonye olunaku lwajjo
Isaac Okello yagudde mu mwala gwe Bwaise era ng’omulambo gwe gwasobodde okuzuulibwa.
Mu ngeri yeemu waliwo omusajja eyategerekese nga Robert eyanunuddwa okuva mu mwala gwa Nakivubo era natwalibwa mu ddwaliro e Mulago.
Ate bbo abantu babiri banyiga biwundu oluvanyuma lw’enyumba mwebabadde okubagwiira mu nkuba eyatonnye olunaku lwajjo.
Bilia Lukia ne Florence…
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde akaka ku byamutuusiddwaako olunaku lwajjo ng’agamba nti wandibaawo olukwe okumutta.
Besigye yakwatiddwa olunaku lwajjo bweyabadde ayolekera Wankulukuku era mu kavuvugano, emotoka ye yayasidwa naye kenyini okukubwa kamulali
Ng’ayogerako eri bannamawulire e Kasangati, Besigye agambye nti tewali nsonga lwaki abasirikale babadde bamuyingirira ng’ali ku gagwe nebatuuka n’okumukuba kamulali butereevu…
Waliwo akatambi akafulumye okuva mu ggwanga lya Syria ng’abakambwe ba Islamic State bakaka omusibe okusima entaana mw’abadde agenda okuziikibwa
Omusajja ono abadde mu yunifoomu y’abasibe eya kipapaali alabibwa mu katambi ng’akwata ensuluulu, enkumbi n’ekitiiyo okusimba entaana ye.
Abakambwe bano olumaze nebamusalako omutwe nebamukasuka mu ntaana esimiddwa olwo nebeyongerayo
Nga tebannamusalako mutwe, basoose kumulagira akufamire mu maaso g’entaana olwo…
Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe bagaanye okweyimirirwa.
Abasatu bano abagambibwa okutta David Ojok balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Albert Rugadya Atwooki
Abayizi baali basabye basaba bayimbulwe okusobola okukola ebigezo byaabwe
Omulamuzi agambye nti abayizi bano basobola okukola ebigezo nga bali mu kkomera nga kati tewlai nsonga lwaki bayimbulwa
Abavunaanibwa kuliko Ivan Mutungi Nkurumah Hall chairman, Marvin Atukwase ne…
Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obusubuzi Christopher Madrama agobye omusango ogwawaabwa omubaka Abdu Katuntu ng’ayagala bizinensi ya mobayilo mane eddukanyizibwe wansi w’etteeka elirambika ebyensimbi
Katuntu ne munne Kimberly Kasana baddukira mu kkooti nga bagamba nti kkampuni z’amasimu okuddukanya mobayilo mane kiyita ku lisinsi yaabwe ky’egamba eky’okusigala mu byempuliziganya
Ono yali yawaaba aba Mtn Uganda, Warid Uganda, Airtel…
Abalwadde n’ababalabirira ku waadi ya kazolite e Mulago basobeddwa mu nkuba etonnye emisana, amazzi bwegayingidde butereevu mu ddwaliro okukkakkana nga gabatuuseeko
Waadi yonna ekubyeeko amazzi ekiwalirizza abasawo okukyusa abalwadde bonna nebabafulumya
Waadi eno y’etuukirwamu abalwadde nga tebannaba kubawa bitanda
Amazzi gano era gazibikidde ne kabuyonjo kyokka ng’ab’eddwaliro bayise mangu ba yingiya okutereeza embeera
Ab’ekibiina kya Dialogue and democracy training Centre bagaala obuyigirize buveewo ku besimbawo okukiika mu palamenti n’abaataasoma bavuganye
Mu birowoozo byaabwe eri palementi, bano abakulembeddwaamu Henry Kasacca bagambye nti okusaba abantu ebbaluwa ya siniya y’omukaaga kulinyirira ddembe lyaabwe
Bano bagaala Uganda erabire ku Tanzania ejjewo eby’ebobuyigirize
Abakulira disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakkiriziganyizza okupangisa abapunta okupima ensalo ku kibangirizi ky’amakolero e Namanve ekikaayanirwa disitulikiti zonna.
Enjuyi zombi zaabadde n’olukungaana nebakkiriziganya okugira nga baggula ensalo eno okulekawo olwa sseruganda .
Akulira emirimu e Mukono Luke Lukorimo Lukuda baakukwatiza wamu ku bisale by’okuggulawo ensalo eno.
Enkaayana zatandika ku ntandikwa y’omwaka guno oluvanyuma lw’aba disitulikiti ye Wakiso…
Bakansala ku disitulikiti ye Luweero basimbidde ekkuuli omulanga gwa Nadduli ogw’okukubiriza abafumbo okuzaala enyo okwongera ku bungi bwabannayuganda.
Bakansala bagamba nti kawefube wa Nadduli talina mulamwa nga abantu olumala okuzaala batandika kusabiriza kuva eri bannabyabufuzi n’ebibiina byobwabakyewa.
Bakanasla bano bayisizza obukadde 5 okugenda eri enteekateeka y’okutumbula eby’obulamu naddala enkola yekizaala ggumba mukifo ky’okuwagira nadduli akubiriza abantu okuzaala…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bategezezza nga poliisi okukibateekako nga bwebapangisa bamalaaya bagyeyambulire bwekiswaza.
Wiiki ewedde aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi y’ategeeza nga abavuganya gavumenti bwebapangisa bamalaaya nebagyeyambulira buli lwevagenda okubakwata.
Kino kyaddirira poliisi okukwata Nalongo Hamida nga akasaaniko era n’ategeeza nga bwebaamwambula engoye.
Ssenkagale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa agamba ebigambo nga bino tebisaana kuva…